Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 20

Dawudi ne Yonasaani

20 (A)Awo Dawudi n’adduka okuva e Nayosi mu Laama n’agenda eri Yonasaani, n’amubuuza nti, “Nkoze ki? Nazza musango ki? Kibi ki kye nakola ekiyagazisa kitaawo okunzita?” Yonasaani n’addamu nti, “Kikafuuwe! Togenda kuttibwa. Laba kitange talina ky’akola, kakibe kinene oba kitono, nga tantegeezezza. Kiki ekyandimuleetedde okukinkisa ekyo? Tekiriiwo.”

(B)Naye Dawudi n’amulayirira ng’ayogera nti, “Kitaawo akimanyi bulungi nti onjagala, era alowooza mu mutima gwe nti, ‘Yonasaani tateekwa kumanya nsonga eyo, kubanga ajja kunakuwala.’ Mukama nga bw’ali omulamu, era naawe ng’oli mujulirwa, ndi wakati mu kufa.”

Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Buli ky’oyagala nkukolere, nnaakikukolera.”

(C)Dawudi n’agamba Yonasaani nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese era nsubirwa okuliira awamu ne kabaka, naye nzikiriza ŋŋende ne kweke mu nnimiro okutuusa ku lunaku olwokusatu akawungeezi nga wayiseewo ennaku bbiri. (D)Kitaawo bw’anambuuza, mugambe nti, ‘Dawudi yansabye, agende e Besirekemu, mu kibuga kye waabwe, kubanga waliwo ssaddaaka eya buli mwaka eneeweebwayo ku lw’ennyumba ye yonna.’ (E)Bw’anaakuddamu nti, ‘Kirungi,’ olwo nno omuweereza wo anaaba mirembe. Naye bw’anaanyiiga, kale onootegeera nti amaliridde okunkola akabi. (F)Noolwekyo beera wa kisa eri omuweereza wo, kubanga wakola endagaano n’omuweereza wo mu maaso ga Mukama. Naye oba nnina omusango, gw’oba onzita. Lwaki ompaayo eri kitaawo?”

Yonasaani n’ayogera nti, “Tekiribaawo! Singa nnali ntegedde nga kitange amaliridde okukukola akabi, sandikubuulidde?”

10 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Ani anantegeeza, kitaawo ng’akuzzeemu n’obusungu?”

11 Yonasaani n’amugamba nti, “Jjangu tulage mu nnimiro.” Awo bombi ne balaga mu nnimiro.

12 Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Mukama, Katonda wa Isirayiri, abeere mujulirwa waffe; nzija kugezaako okumatiza kitange enkya oba okwosa enkya ku ssaawa nga zino. Bw’anaaba nga takuliiko nsonga, kiki ekinandobera okukumanyisa? 13 (G)Naye kitange bw’anaaba ng’amaliridde okukukola akabi, kale Mukama ankole bw’atyo, n’okusingawo, bwe siikutegeeze ne nkusindika ogende weekweke. Mukama abeere naawe, nga bw’abadde ne kitange. 14 Bwe nnaaba omulamu, ondage ekisa kya Mukama ekitakoma, ennaku zonna ez’obulamu bwange, nneme okuttibwa, 15 (H)tokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, Mukama ne bw’alizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.”

16 (I)Awo Yonasaani n’akola endagaano n’ennyumba ya Dawudi ng’agamba nti, “Mukama abonereze abalabe ba Dawudi.” 17 (J)Yonasaani n’alayiza Dawudi nate okukakasa ekirayiro kye, olw’okwagala kwe yamwagala kubanga yamwagala nga bwe yali yeeyagala.

18 (K)Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese, naye tunaakusaalirwa, kijja kutegeerekeka nti toliiwo, kubanga ekifo kyo kinaaba kyereere. 19 (L)Okwosa enkya, obudde nga bunaatera okuziba, genda mu kifo mwe weekweka luli, ebizibu bino bwe byatandika, obeere awali ejjinja Ezeri. 20 Nnaalasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, ng’ateeba ssabbaawa. 21 N’oluvannyuma nzija kutuma omulenzi nga mugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale.’ Bwe naamugamba nti, ‘Laba, obusaale buli ku luuyi gy’oli, buleete,’ kale onojja, kubanga Mukama nga bw’ali omulamu, onoolama, era tewaabeewo kabi. 22 (M)Naye bwe nnaagamba omulenzi nti, ‘Laba, obusaale buli mu maaso,’ kale onoogenda, kubanga olwo Mukama ng’akugambye ogende. 23 (N)Era ne ku bigambo bye twayogerako, Mukama abeere naffe ennaku zonna.”

24 Awo Dawudi ne yeekweka mu nnimiro. Embaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese bwe yatuuka, kabaka n’atuula okulya. 25 (O)N’atuula mu kifo kye ekya bulijjo okumpi n’ekisenge okwolekera Yonasaani. Abuneeri n’atuula okuliraana Sawulo, naye ekifo kya Dawudi kyali kyereere. 26 (P)Sawulo n’atabaako kyayogera ku lunaku olwo, kubanga yalowooza nti, “Waliwo ekituuse ku Dawudi ne kimufuula atali mulongoofu; ddala si mulongoofu.” 27 Olunaku olwaddirira, omwezi nga gumaze okuboneka, ekifo kya Dawudi ne kisigala nga kyereere. Awo Sawulo n’abuuza mutabani we Yonasaani nti, “Kiki ekyalobedde mutabani wa Yese okujja ku kijjulo, olunaku lwa jjo newaakubadde leero?”

28 (Q)Yonasaani n’addamu nti, “Dawudi yanneegayiridde mukkirize agende e Besirekemu, 29 ng’ayogera nti, ‘Nzikiriza ŋŋende kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka ey’okuwaayo mu kibuga, ne muganda wange yandagidde mbeere yo. Kale nno obanga ndabye ekisa mu maaso go, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyeyavudde tabeerawo ku mmeeza ya kabaka.”

30 Awo Sawulo n’annyiigira nnyo Yonasaani, n’amugamba nti, “Ggwe omwana w’omukazi omukyamu era omujeemu! Olowooza sikimanyi nga weekobaana ne mutabani wa Yese okweleetako okuswala, n’okukwasa maama wo eyakuzaala ensonyi? 31 Mutabani wa Yese ng’akyali mulamu ku nsi, tolinywezebwa ggwe newaakubadde obwakabaka bwo. Kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.”

32 (R)Awo Yonasaani n’addamu kitaawe Sawulo nti, “Kiki ekimugwanyiza okuttibwa? Akoze ki?” 33 (S)Naye Sawulo n’amukasuukirira effumu amutte. Awo Yonasaani we yategeerera nga kitaawe amaliridde okutta Dawudi.

34 Yonasaani n’asituka ku mmeeza mu busungu obungi, era n’atalya mmere ku lunaku olwokubiri olw’omwezi, kubanga yanakuwalira ekikolwa kya kitaawe eky’obuswavu eri Dawudi.

35 Ku makya Yonasaani n’alaga mu nnimiro okusisinkana Dawudi, nga bwe baali balagaanye. Yalina akalenzi ke yagenda nako, 36 n’akagamba nti, “Dduka onoonye obusaale bwe nnaalasa.” Akalenzi bwe kaali nga kadduka, Yonasaani n’alasa akasaale mu maaso gaako ne kamusookayo. 37 (T)Awo akalenzi bwe kaatuuka mu kifo akasaale we kaali kagudde, Yonasaani n’akakoowoola ng’agamba nti, “Akasaale tekali mu maasoko?” 38 N’akangula ku ddoboozi, n’amugamba nti, “Yanguwa, genda mangu, tolwawo.” Akalenzi ne kakima akasaale, ne kakomawo eri mukama waako. 39 Naye akalenzi ne katabaako kye kategeera. Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya enteekateeka eyo. 40 Awo Yonasaani n’akwasa akalenzi ebyokulwanyisa bye, n’akagamba nti, “Genda, obizzeeyo mu kibuga.” 41 Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n’avaayo mu kifo eky’obukiikaddyo, n’agwa wansi mu maaso ga Yonasaani n’amuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.

42 (U)Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lyange emirembe gyonna.’ ” Dawudi n’agenda, ne Yonasaani n’addayo mu kibuga.

1 Abakkolinso 2

(A)Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. (B)Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. (C)Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. (D)Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, (E)okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Amagezi ga Katonda

(F)Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (G)tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (H)Naye nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Eriiso bye litalabangako,
    n’okutu bye kutawulirangako,
n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako
    Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

10 (I)Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda. 11 (J)Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda. 12 (K)Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa, 13 (L)era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’eby’Omwoyo. 14 (M)Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. 15 Naye omuntu ow’Omwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali n’omu amukebera.

16 (N)“Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama,
    era ani alimulagira?

Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”

Okukungubaga 5

(A)Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
    Tunula olabe ennaku yaffe.
(B)Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
    n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
(C)Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
    ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
(D)Tusasulira amazzi ge tunywa;
    n’enku tuteekwa okuzigula.
(E)Abatucocca batugobaganya;
    tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
(F)Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
    okutufuniranga ku mmere.
(G)Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
    naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
(H)Abaddu be batufuga,
    tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
    olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 (I)Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
    olw’enjala ennyingi.
11 (J)Abakyala ba Sayuuni,
    n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 (K)Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
    n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
    n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 (L)Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
    n’abavubuka tebakyayimba.
15 (M)Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
    n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 (N)Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
    Zitusanze kubanga twonoonye!
17 (O)Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
    era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 (P)Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
    ebibe kyebivudde bitambulirako.

19 (Q)Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
    entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 (R)Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
    Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 (S)Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
    otuzze buggya ng’edda;
22 (T)wabula ng’otusuulidde ddala,
    era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.

Zabbuli 36

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
    obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
    tatya Katonda.

Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
    oba okukyawa ekibi kye.
(B)Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
    takyalina magezi era takyakola birungi.
(C)Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
    amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
    era ebitali bituufu tabyewala.

Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
    obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(D)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
    n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
    (E)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
    baddukira mu biwaawaatiro byo.
(F)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
    obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
(G)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
    era gw’otwakiza omusana.

10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
    era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
    wadde ababi okunsindiikiriza.
12 (H)Laba, ababi nga bwe bagudde!
    Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.