Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 23

Yoswa Asiibula

23 (A)Bwe waayitawo ekiseera, Mukama Katonda ng’awadde Isirayiri emirembe mu njuyi zonna awaali abalabe, Yoswa ng’akaddiye ng’awangadde emyaka mingi, (B)n’ayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu n’abagamba nti, “Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi; (C)mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde. (D)Mulabe, ngabidde ebika byammwe amawanga ago agabadde gakyasigadde, amawanga gonna ge namala okuwangula, okuva ku Yoludaani okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba. (E)Mukama Katonda ajja kubagoba babaviire abasindiikirize okuva mu maaso gammwe mutwale ensi yaabwe nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.

(F)“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono. (G)Temwetabanga n’amawanga gano agasigadde mu mmwe, wadde okwogera ku mannya ga bakatonda baabwe, okulayira mu mannya gaabwe okubaweereza wadde okubavuunamira. (H)Naye munywerere ku Mukama Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero.

(I)“Kubanga Mukama Katonda wammwe agobye amawanga amanene ag’amaanyi era n’okutuusa kaakano teri n’omu asobodde kubaziyiza. 10 (J)Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza. 11 (K)Noolwekyo mwekuume, mwagale Mukama Katonda wammwe, 12 (L)kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo, 13 (M)mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, n’amaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.

14 (N)“Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye. 15 (O)Naye ng’ebintu byonna ebirungi Mukama Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bw’atyo Mukama bw’anaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ng’abazikirizza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde. 16 (P)Bwe munaamenyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yabalagira, ne mugenda ne muweerezanga bakatonda abalala ne mubavuunamiranga, obusungu bwa Mukama bunaaboolekeranga, ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gy’abawadde.”

Ebikolwa by’Abatume 3

Peetero Awonya Omulema

(A)Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda, (B)ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza. Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi. Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!” N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.

(C)Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!” Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi, (D)n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda. (E)Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda, 10 (F)ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.

Okwogera kwa Peetero mu Yeekaalu

11 (G)Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde. 12 Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono? 13 (H)Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula, 14 (I)naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu. 15 (J)Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa. 16 Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.

17 (K)“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo. 18 (L)Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo. 19 (M)Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, 20 mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, 21 (N)eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. 22 (O)Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. 23 (P)Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’

24 (Q)“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno. 25 (R)Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’ 26 (S)Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”

Yeremiya 12

Okwemulugunya kwa Yeremiya

12 (A)Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
    bwe nkuleetera ensonga yange.
Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.
    Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?
    Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?
(B)Wabasimba, emirandira ne ginywera,
    bakula ne baleeta ebibala.
Tova ku mimwa gyabwe bulijjo
    wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.
(C)Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda,
    ondaba era otegeera bye nkulowoozaako.
Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa.
    Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.
(D)Ensi erikoma ddi okwonooneka,
    n’omuddo mu buli nnimiro okukala?
Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi,
    ensolo n’ebinyonyi bizikiridde,
kubanga abantu bagamba nti,
    “Katonda taalabe binaatutuukako.”

Katonda Addamu

(E)“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro
    n’oggwaamu amaanyi
    oyinza otya okudduka n’embalaasi?
Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi,
    onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?
(F)Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
    nabo bennyini bakwefuukidde,
    beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.
Tobeesiga
    wadde nga bakwogerako bulungi.”

Ennaku ya Mukama olw’Abantu be

(G)“Njabulidde ennyumba yange,
    ne ndeka omugabo gwange;
mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala,
    mu mikono gy’abalabe baabwe.
(H)Abantu bange be nalonda
    banfuukidde ng’empologoma eri mu kibira;
empulugumira,
    noolwekyo mbakyaye.
(I)Abantu bange be nalonda
    tebanfuukidde ng’ennyonyi erya ginnaazo ey’amabala,
    ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba?
Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko
    muzireete zirye.
10 (J)Abasumba bangi
    boonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu,
balinnyiridde ennimiro yange,
    ensi yange ennungi bagirese njereere.
11 (K)Eyonooneddwa efuuse ddungu
    esigadde awo ng’enkaabirira.
Ensi yonna efuuse matongo
    kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
12 (L)Abanyazi bazze
    batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,
kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya
    okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,
    awataliiwo n’omu kuwona.
13 (M)Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa.
    Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu.
Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo,
    kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”

14 (N)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo. 15 (O)Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye. 16 (P)Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange. 17 (Q)Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.

Matayo 26

Olukwe olw’Okutta Yesu

26 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti, (B)“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”

(C)Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, (D)nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte. (E)Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.

(F)Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya, ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi,[a] n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.

Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo! Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”

10 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi. 11 (G)Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. 12 (H)Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika. 13 Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”

14 (I)Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu. 15 (J)N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16 Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

17 (K)Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”

18 (L)Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ” 19 Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako.

20 Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde 21 (M)ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”

22 Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”

23 (N)Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo. 24 (O)Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”

25 (P)Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”

26 (Q)Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”

27 Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna, 28 (R)kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi. 29 (S)Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”

30 (T)Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana

31 (U)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira.

“Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba
    n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’

32 (V)Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” 33 Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”

34 (W)Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.” 35 (X)Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.

Gesusemane

36 Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.” 37 (Y)N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo. 38 (Z)N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”

39 (AA)N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

40 (AB)N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu? 41 (AC)Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”

42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”

43 N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo. 44 N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.

45 (AD)Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 46 Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”

Yesu Akwatibwa

47 Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya. 48 Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata. 49 (AE)Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.

50 (AF)Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.”[b] Awo abalala ne bakwata Yesu.

51 (AG)Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.

52 (AH)Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala. 53 (AI)Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira? 54 (AJ)Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”

55 (AK)Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata. 56 (AL)Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.

Yesu mu maaso g’Olukiiko

57 (AM)Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 58 (AN)Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 59 (AO)Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 60 (AP)Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 61 (AQ)abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”

62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 63 (AR)Naye Yesu n’asirika busirisi.

Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”

64 (AS)Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.” 65 (AT)Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera! 66 (AU)Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”

67 (AV)Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 68 (AW)nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”

Peetero Yeegaana Yesu

69 Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”

70 Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”

71 Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”

72 Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”

73 Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”

74 Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.

75 (AX)Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.