Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 17

17 (A)Toleetanga kiweebwayo eri Mukama Katonda wo eky’ente oba eky’endiga ng’eriko akamogo oba ekikyamu kyonna, kubanga ebiri ng’ebyo Katonda wo abikyayira ddala.

(B)Omuntu yenna omusajja oba omukazi abeera mu mmwe, mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa, bw’anaakwatibwanga ng’akoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo, ng’amenye endagaano ya Mukama, (C)era ng’ajeemedde ekiragiro kyange n’asinza bakatonda abalala, ng’enjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ez’oku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga, (D)ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ng’ekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri, (E)onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki w’ekibuga n’omukuba amayinja, n’afa. (F)Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka. (G)Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, n’abalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe.

Embuga Ezinaasalirwangamu Emisango

(H)Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde. (I)Bw’onootuukanga eyo oneebuuzanga ku bakabona, be Baleevi, ne ku mulamuzi anaabanga akola omulimu ogwo mu kiseera ekyo. Banaakutegeezanga ensala yaabwe. 10 Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo n’okola ebyo bye banaabanga bakulagidde. 11 (J)Kinaakugwaniranga okukola ng’amateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, n’ensala yaabwe nga bw’eneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. 12 (K)Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza Mukama Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi mu Isirayiri. 13 (L)Abantu bonna banaabiwuliranga ne batya, ne bataddayo nate kukola bya kyejo.

Eby’Obwakabaka

14 (M)Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’ogirya, n’obeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ng’amawanga amalala gonna aganneebunguludde;” 15 (N)Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga. 16 (O)Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,” 17 (P)Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu n’effeeza ennyingi ennyo.

18 (Q)Bw’anaamalanga okutebenkera ku ntebe ey’obwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ng’agaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi. 19 (R)Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ng’agobereranga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro, 20 (S)nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bw’anaakolanga bw’atyo, ye, n’ezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.

Zabbuli 104

104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
    ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

(B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
    n’abamba eggulu ng’eweema,
    (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
(D)Afuula empewo ababaka be,
    n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

(E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

10 (I)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
    ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
    n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (J)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
    ne biyimbira mu matabi.
13 (K)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
    ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (L)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
    n’ebirime abantu bye balima,
    balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (M)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
    n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
    n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
    gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (N)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
    ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (O)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
    n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.

19 (P)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
    n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (Q)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
    olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (R)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
    nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (S)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
    ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (T)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
    ne bakola okutuusa akawungeezi.

24 (U)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (V)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (W)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (X)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (Y)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (Z)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (AA)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AB)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (AC)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AD)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AE)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

Isaaya 44

Isirayiri Eyalondebwa

44 (A)“Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,
    ggwe Isirayiri gwe nalonda.
(B)Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
    eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
    ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,[a] omuweereza wange,
    ggwe Yesuruni gwe nalonda.
(C)Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka
    eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.
Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,
    era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
(D)Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi,
    babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.
(E)Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’
    n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo,
n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’
    ne yeetuuma Isirayiri.

(F)“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,
    Mukama Katonda ow’Eggye:
Nze w’olubereberye era nze nkomererayo
    era tewali Katonda mulala we ndi.
(G)Ani afaanana nga nze,
    akirangirire,
eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo
    okuviira ddala ku ntandikwa?
    Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
(H)Temutya wadde okuggwaamu amaanyi.
    Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja?
Mmwe bajulirwa bange.
    Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda.
Tewali Lwazi lulala,
    sirina lwe mmanyi.”

(I)Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
    era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
    balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 (J)Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 (K)Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
    N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
    Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.

12 (L)Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma
    n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.
Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.
    Enjala emuluma,
n’aggwaamu amaanyi,
    tanywa mazzi era akoowa.
13 (M)Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo
    era n’alamba n’ekkalaamu.
Akinyiriza ne landa,
    n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,
n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,
    kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba
    oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,
oba n’asimba enkanaga,
    enkuba n’egikuza.
15 (N)Abantu bagukozesa ng’enku,
    ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.
    Akuma omuliro n’afumba emigaati.
Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,
    akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,
    ekitundu ekirala akyokesa ennyama
    n’agirya n’akutta.
Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,
    “Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 (O)Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
    ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
    “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 (P)Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,
    amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,
    n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 (Q)Tewali n’omu ayimirira n’alowooza,
    tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,
“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,
    era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,
    njokezzaako n’ennyama n’engirya.
Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?
    Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 (R)Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,
    tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,
    “Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”

Mukama, Omutonzi era Omulokozi

21 (S)“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;
    oli muweereza wange ggwe Isirayiri.
Nze nakubumba, oli muweereza wange,
    ggwe Isirayiri sirikwerabira.
22 (T)Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”

23 (U)Yimba n’essanyu ggwe eggulu
    kubanga ekyo Mukama yakikoze.
Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi.
    Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu.
Mukama anunudde Yakobo
    era yeegulumiriza mu Isirayiri.

Yerusaalemi kya kuzzibwawo

24 (V)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo,
    eyakutondera mu lubuto.

“Nze Mukama,
    eyatonda ebintu byonna,
    eyabamba eggulu nzekka,
    eyayanjuluza ensi obwomu,
25 (W)asazaamu abalaguzi bye balagudde
    era abalogo abafuula abasirusiru.
Asaabulula eby’abagezi
    n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.
26 (X)Anyweza ekigambo ky’omuweereza we
    n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange.

“Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’
    ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’
    ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
27 Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira,
    era ndikaliza emigga gyo.’
28 (Y)Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange
    era alituukiriza bye njagala byonna.’
Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’
    ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”

Okubikkulirwa 14

Oluyimba lwa Banunule

14 (A)Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000), ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo. (B)Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ng’ekiyiriro eky’amazzi amangi n’okubwatuka kw’eggulu kwali kw’amaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ng’okuyimba okw’abayimbi nga bakuba n’ennanga zaabwe. (C)Ne bayimba oluyimba olwali ng’oluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda ne mu maaso g’ebiramu ebina n’abakadde. Ne wataba muntu n’omu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi. (D)Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga. Baanunulibwa mu bantu ab’omu nsi ne beewaayo ng’ebibala ebibereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’Endiga. (E)Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Bamalayika Abasatu

(F)Awo ne ndaba malayika omulala ng’abuukira mu bbanga ng’alina Enjiri ey’emirembe n’emirembe ey’okubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi n’abantu. (G)N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo z’amazzi zonna.”

(H)Ate malayika omulala owookubiri n’amugoberera ng’agamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku nvinnyo y’obusungu obw’obwenzi bwakyo.”

(I)Ne malayika omulala owookusatu n’abagoberera ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, 10 (J)oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga. 11 (K)Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo. 12 (L)Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”

13 (M)Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe.”

“Balina omukisa ddala,” bw’ayogera Omwoyo. “Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.”

Okukungula kw’Ensi

14 (N)Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ng’Omwana w’Omuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ng’akutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe. 15 (O)Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu, n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era n’ebyokukungula ku nsi byengedde.” 16 Bw’atyo eyali atudde ku kire n’awuuba ekiwabyo kye era n’akungula ensi.

17 Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu era naye ng’alina ekiwabyo ekyogi. 18 Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba by’emizabbibu egy’oku nsi, kubanga gyengedde.” 19 (P)Bw’atyo malayika n’awuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, n’akuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero ly’obusungu bwa Katonda. 20 (Q)Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.