Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 10

Ebipande eby’Amayinja Ebyokubiri Okwawandiikwa Amateeka

10 (A)Mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tema mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja ebifaanana nga biri ebyasooka, era obajje n’Essanduuko ey’omuti, olyoke oyambuke gye ndi ku lusozi. (B)Nzija kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka, bye wayasa; olyoke obiteeke mu Ssanduuko.”

(C)Bwe ntyo ne mbajja Essanduuko mu muti ogw’akasiya, ne ntema ne mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja nga bifaanana nga biri ebyasooka, ne ndyoka nyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange. (D)Mukama Katonda n’awandiika ku bipande ebyo ebigambo bye yali awandiise ku bipande biri ebyasooka, ge Mateeka Ekkumi ge yali abalangiridde ku lusozi ng’ali wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama Katonda n’abinkwasa. (E)Bwe ntyo ne nkyusa obuwufu ne nzikirira okuva ku lusozi, ebipande ne mbiteeka mu Ssanduuko gye nabajja, nga Mukama Katonda bwe yandagira, ne kaakano mwe biri.

(F)Abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Beeru Beneyaakani ne batuuka e Mosera. Awo Alooni we yafiira era we yaziikibwa. Mutabani we Eriyazaali n’amusikira n’atandika okukola emirimu gya Alooni egy’Obwakabona. (G)Bwe baava awo ne batambula okutuuka e Gudugoda; bwe baava e Gudugoda ne batuuka e Yotubasa, nga mu nsi eyo mulimu emigga egyali gikulukuta amazzi. (H)Mu kiseera ekyo Mukama n’ayawula ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso ga Mukama Katonda, n’okwatulanga emikisa gye mu linnya lye, nga bwe bakyakola n’okutuusa leero. (I)Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.

10 (J)Nabeerayo ku lusozi ne mmalayo ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, ng’omulundi guli ogwasooka. Ne ku mulundi guno Mukama yampuliriza. Mukama Katonda yali tayagala kukuzikiriza. 11 Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda okulembere abantu, bakwate olugendo lwabwe, bayingire mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe okugibawa, bagyefunire.”

Ebikulu Katonda bye Yeetaaga

12 (K)Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, 13 n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?

14 (L)Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era n’eggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, n’ensi ne byonna ebigirimu. 15 (M)Kyokka era Mukama yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero. 16 (N)Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali. 17 (O)Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi. 18 (P)Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala. 19 (Q)Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri. 20 (R)Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mw’onoolayiriranga. 21 (S)Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako n’amaaso go. 22 (T)Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.

Zabbuli 94

94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
    ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
(B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
    osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
    Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?

(C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
    abakola ebibi bonna beepankapanka.
(D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
    babonyaabonya ezzadde lyo.
Batta nnamwandu n’omutambuze;
    ne batemula ataliiko kitaawe.
(E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
    Katonda wa Yakobo tafaayo.”

(F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
    Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
(G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
    Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
    Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
    amanyi nga mukka bukka.

12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
    gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
    okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
    talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
    n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.

16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
    Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
    omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
    Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
    okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.

20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
    obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
    atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
    ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
    n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
    Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.

Isaaya 38

Okusaba Kwa Keezeekiya ng’Alwadde

38 (A)Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”

Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama (B)ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.

Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya, (C)nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano. (D)Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.

(E)“ ‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde. (F)Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.

Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino;

10 (G)nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange
    mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe,
    nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.”
11 (H)Ne ndyoka njogera nti,
    “Sigenda kuddayo kulaba Mukama,
mu nsi y’abalamu.
    Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.
12 (I)Obulamu bwange buzingiddwako
    ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako.
Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira,
    bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange
    obumalirawo ddala.
13 (J)Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi
    nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba,
    ekiro n’emisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.
14 (K)Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi,
    n’empuubaala ng’enjiibwa,
amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu.
    Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”

15 (L)Naye ate nga naagamba ki?
    Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze.
N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno
    obw’obulamu bwange.
16 (M)Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu,
    era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu.
Omponye,
    mbeere mulamu.
17 (N)Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange,
    naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira.
Kubanga otadde ebibi byange byonna
    emabega wo.
18 (O)Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza,
    abafu tebayinza kukusuuta;
tebaba na ssuubi
    mu bwesigwa bwo.
19 (P)Akyali omulamu,
    y’akutendereza nga nze bwe nkola leero;
bakitaabwe b’abaana babategeeza
    nga bw’oli omwesigwa ennyo.

20 (Q)Mukama alindokola,
    kyetunaavanga tuyimba
ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe,
    mu nnyumba ya Mukama.

21 Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.”

22 Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”

Okubikkulirwa 8

Akabonero k’Envumbo ak’Omusanvu n’Ekyoterezo ekya Zaabu

(A)Awo Omwana gw’Endiga bwe yabembulula akabonero k’envumbo ak’omusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ng’ekitundu ky’essaawa.

(B)Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu.

(C)Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. (D)Akaloosa akalungi n’omukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu n’okusaba kw’abatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka. (E)Malayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.

Abafuuyi b’Amakondeere

(F)Awo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.

(G)Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.

(H)Malayika owookubiri n’afuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ng’olusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi, (I)n’ekimu ekyokusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja ne kifa, n’ekitundu ekimu ekyokusatu eky’amaato ne kizikirira.

10 (J)Malayika owookusatu n’afuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana n’egwa okuva mu ggulu, n’egwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’emigga n’ensulo z’amazzi. 11 (K)Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” n’etteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’amazzi gonna, abantu bangi ne bafa.

12 (L)Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.

13 (M)Ne ndaba empungu emu ng’ebuuka mu bbanga ng’ereekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu ab’oku nsi olw’ebintu eby’entiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.