M’Cheyne Bible Reading Plan
Etteeka ery’Ekiweebwayo nga Kabona y’Ayonoonye
4 Awo Mukama n’ayogera ne Musa n’amugamba nti, 2 (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.
3 (B)“ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olw’ekibi. 4 (C)Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo n’agittira awo mu maaso ga Mukama. 5 (D)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatoolangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 6 Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansirako emirundi musanvu awo eggigi ery’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. 7 (E)Awo kabona anaddiranga ku musaayi, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto okwoterezebwa obubaane obw’akawoowo, ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 8 (F)Amasavu gonna aganaabanga mu sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, 9 (G)n’ensigo zombi n’amasavu agazirimu okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba ng’abiggyirako wamu n’ensigo, 10 (nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 11 (H)Naye eddiba lya sseddume eyo n’ennyama yaayo yonna, n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’eby’omu nda byayo nga n’ebyenda kwebiri, awamu n’obusa bwayo, 12 (I)ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru w’olusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu ly’ekyoto, anaatindiranga enku n’akuma omuliro n’agyokeranga okwo.
Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Abantu Bonna Boonoonye
13 (J)“ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango. 14 (K)Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. 15 (L)Abakulembeze b’ekibiina banassanga emikono gyabwe ku mutwe gwa sseddume eyo mu maaso ga Mukama, sseddume eyo n’ettirwa mu maaso ga Mukama. 16 (M)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatwalangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 17 (N)Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansira emirundi musanvu awo eggigi ly’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. 18 (O)Anaddiranga ku musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi ogunaasigalangawo gwonna anaagufukanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 19 (P)Anaggyangamu amasavu gaayo gonna n’agookera ku kyoto, 20 (Q)n’akola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa. 21 (R)Anaafulumyanga sseddume eno ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina ky’abantu bonna.
Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Omufuzi Ayonoonye
22 (S)“ ‘Omufuzi bw’anaayonoonanga nga tagenderedde n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango. 23 Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi ensajja etaliiko kamogo. 24 Anagikwatanga ku mutwe gwayo, n’agittira awo mu maaso ga Mukama we battira ebiweebwayo ebyokebwa. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 25 (T)Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 26 (U)Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ng’amasavu olw’ekiweebwayo olw’emirembe bwe ganaayokebwanga. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olw’ekibi kye, n’asonyiyibwa.
Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Abantu Abaabulijjo
27 (V)“ ‘Omuntu yenna owabulijjo bw’anaayonoonanga nga tagenderedde, n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango. 28 (W)Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi enkazi etaliiko kamogo, olw’ekibi ekyo ky’akoze. 29 (X)Anaakwatanga ku mutwe gw’ekiweebwayo ekyo olw’ekibi, n’akittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa. 30 (Y)Awo kabona anaddiranga ku musaayi gwakyo n’olugalo lwe n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 31 (Z)Amasavu gaakyo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu; kabona anaagookeranga ku kyoto ne gavaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
32 (AA)“ ‘Bw’anaabanga aleese endiga ento ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, anaaleetanga nkazi etaliiko kamogo. 33 (AB)Anaagikwatanga ku mutwe, n’agittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa, nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 34 (AC)Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 35 (AD)Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
EKITABO I
Zabbuli 1–41
1 (A)Alina omukisa omuntu
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
2 (B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
3 (C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
4 (D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
5 (E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.
6 (F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
2 (G)Lwaki amawanga geegugunga
n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
2 (H)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
3 (I)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”
4 (J)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
5 (K)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
6 N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”
7 (L)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:
kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
olwa leero nfuuse kitaawo.
8 (M)Nsaba,
nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
9 (N)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”
10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (O)Muweereze Mukama nga mumutya,
era musanyuke n’okukankana.
12 (P)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.
19 (A)Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.
2 (B)Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya,
n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.
3 Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe,
kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.
4 (C)Obugagga buleeta emikwano mingi,
naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.
5 (D)Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.
6 (E)Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.
7 (F)Baganda b’omwavu bonna bamwewala,
mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala?
Wadde abagoberera ng’abeegayirira,
naye tabalaba.
8 (G)Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,
n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.
9 (H)Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.
10 (I)Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya,
kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?
11 (J)Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,
era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.
12 (K)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.
13 (L)Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira,
n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.
14 (M)Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,
naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
15 (N)Obugayaavu buleeta otulo tungi,
n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.
16 (O)Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe,
naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.
17 (P)Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,
era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.
18 (Q)Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi,
oleme kumuwaayo mu kuzikirira.
19 Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe,
kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.
20 (R)Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,
oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.
21 (S)Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;
byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
22 Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,
okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
23 (T)Okutya Mukama kutuusa mu bulamu;
olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.
24 (U)Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya,
n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.
25 (V)Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye,
buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.
26 (W)Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,
aleeta obuswavu n’obuyinike.
27 Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa,
onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.
28 (X)Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima,
n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.
29 (Y)Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi,
n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.
2 (A)Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri. 2 (B)Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. 3 (C)Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya. 4 (D)Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza. 5 (E)Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
Obulamu obujjuvu mu Kristo
6 (F)Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, 7 (G)nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.
8 (H)Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo. 9 Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, 10 (I)era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna. 11 (J)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. 12 (K)Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.
13 (L)Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. 14 (M)Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba, 15 (N)n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.
16 (O)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. 17 (P)Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo. 18 (Q)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe. 19 (R)Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.
20 (S)Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 (T)Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. 23 Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.