Add parallel Print Page Options

(A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.

Read full chapter

(A)“ ‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango. (B)Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango. (C)Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu.

Read full chapter

17 (A)“Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango.

Read full chapter

24 (A)ne mugasobya mu butagenderera n’ekibiina kyonna mu butamanya, kale nno ekibiina kyonna kinaaleetanga ekiweebwayo eky’ente ya sseddume ento emu nga kye kiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi eri Mukama Katonda, nga kuliko n’ekiweebwayo ky’emmere y’empeke n’ekyokunywa ng’etteeka bwe liragira, n’ekiweebwayo eky’embuzi ennume emu olw’ekibi. 25 (B)Kabona anaatangiririranga ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa ku muliro, era n’ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’ekibi olw’ekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere. 26 (C)Ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, bwe batyo banaasonyiyibwanga, n’abagwira abanaabeeranga mu bo nabo banaasonyiyibwanga, kubanga abantu bonna banaabanga basoberezza wamu nga tebagenderedde.

Read full chapter