Historical
Okubalibwa kw’Abayisirayiri
21 (A)Awo Setaani n’atandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi n’asendebwasendebwa okubala Abayisirayiri. 2 (B)Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”
3 (C)Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”
4 Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi. 5 (D)Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.
6 Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu. 7 Ekikolwa ekyo ky’okubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era n’abonereza Isirayiri.
8 Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.”
9 (E)Mukama Katonda n’ayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti, 10 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: nkuteekeddewo eby’okulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’ ”
11 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu: 12 (F)emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”
13 (G)Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.”
14 (H)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa. 15 (I)Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
16 (J)Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.
17 (K)Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
18 (L)Awo malayika wa Mukama Katonda n’alagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 19 Awo Dawudi n’agondera ekigambo Gaadi kye yayogera mu linnya lya Mukama Katonda, n’ayambuka.
20 (M)Laba Olunaani bwe yali ng’awuula eŋŋaano, n’akyuka n’alaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka. 21 Awo Dawudi bwe yasembera okumpi ne Olunaani we yali, Olunaani n’amulaba, n’ava mu gguuliro, n’amuvuunamira.
22 Dawudi n’amugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange n’asasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.”
23 Olunaani n’addamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bw’asiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume z’onoowaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebintu ebiwuula ng’enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’obutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.” 24 Naye Dawudi n’agamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.”
25 Awo Dawudi n’agula ekifo kya Olunaani kilo musanvu eza zaabu. 26 (N)Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, ng’akoowoola Mukama, era Mukama n’amuddamu n’omuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
27 Awo Mukama Katonda n’alagira malayika okuzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo. 28 Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi n’aweerangayo ssaddaaka eyo. 29 (O)Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni. 30 Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.
22 (P)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Wano we wanaabeeranga ennyumba ya Mukama Katonda, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku lwa Isirayiri.”
Enteekateeka ey’okuzimba Yeekaalu
2 (Q)Dawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo n’alondamu abatemi b’amayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama. 3 (R)Yateekawo ebyuma bingi olw’okukola emisumaali egy’enzigi egya wankaaki, n’olwebigatta, n’ebikomo bingi ebyayinga obungi n’obuzito. 4 (S)Yawaayo n’emivule egitabalika, Abazidoni n’Abatuulo gye baamuleetera.
5 (T)Dawudi n’ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto n’obumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, ng’eyatiikirira era ng’etenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa.
6 (U)Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba. 7 (V)Dawudi n’agamba Sulemaani nti, “Mwana wange, kyali mu mutima gwange okuzimba ennyumba ku lwa Mukama Katonda wange. 8 (W)Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange. 9 (X)Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe. 10 (Y)Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’
11 (Z)“Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera. 12 (AA)Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo. 13 (AB)Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka.
14 (AC)“Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; n’ebikomo n’ebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, n’embaawo n’amayinja. Ate okyayinza n’okwongerako. 15 Olina abakozi bangi; abatemi b’amayinja, n’abazimbi, n’ababazzi, n’abantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa 16 (AD)zaabu ne ffeeza, n’ebikomo, n’ekyuma. Kaakano tandikirawo okukola era Mukama akuluŋŋamye.”
17 (AE)Awo Dawudi n’alagira abakulembeze bonna aba Isirayiri okuyamba mutabani we Sulemaani ng’agamba nti, 18 (AF)“Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula n’emirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama n’eri abantu be. 19 (AG)Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, n’oluvannyuma muleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lw’erinnya lya Mukama.”
Abaleevi
23 (AH)Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.
2 Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi. 3 (AI)Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana. 4 (AJ)Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi. 5 (AK)Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.”
6 (AL)Awo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
7 Abaana ba Gerusoni baali
Ladani ne Simeeyi.
8 Batabani ba Ladani baali
Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu.
9 Batabani ba Simeeyi baali
Seromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu,
era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani.
10 Batabani ba Simeeyi omulala
Yakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya,
be bana bonna awamu.
11 Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu.
12 (AM)Batabani ba Kokasi baali
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana.
13 (AN)Batabani ba Amulaamu baali
Alooni ne Musa.
Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna. 14 (AO)Batabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi.
15 (AP)Batabani ba Musa baali
Gerusomu ne Eryeza.
16 (AQ)Mu bazzukulu ba Gerusomu,
Sebweri ye yali omukulu.
17 Mu bazzukulu ba Eryeza,
Lekabiya ye yali omukulu.
Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala.
18 Mu batabani ba Izukali,
Seromisi ye yali omukulu.
19 (AR)Mu batabani ba Kebbulooni,
Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
20 Mu batabani ba Wuziyeeri,
Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri.
21 (AS)Batabani ba Merali baali
Makuli ne Musi.
Batabani ba Makuli baali
Eriyazaali ne Kiisi.
22 Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa.
23 Batabani ba Musi baali
Makuli, Ederi ne Yeremosi be basatu.
24 (AT)Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama. 25 (AU)Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna, 26 (AV)Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.” 27 Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo.
28 (AW)Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda. 29 (AX)Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo. 30 (AY)Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi, 31 (AZ)ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.
32 (BA)Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.