The Daily Audio Bible
Today's audio is from the NLT. Switch to the NLT to read along with the audio.
Mukama ayita Abantu be okudda gy’ali
1 (A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:
2 (B)“Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe. 3 (C)Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 4 (D)Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama. 5 Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna? 6 (E)Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?
“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”
Nnabbi Ayolesebwa Embalaasi
7 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti.
8 (F)Nalaba ekiro ng’omusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, n’eza kikuusikuusi, n’emyufu.
9 (G)Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”
10 (H)Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti n’addamu nti, “Ezo embalaasi Mukama z’asindise okulawuna ensi.” 11 (I)Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”
12 (J)Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?” 13 (K)Mukama n’alyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi.
14 (L)Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi, 15 (M)naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’
16 (N)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
17 (O)“Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”
18 Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana. 19 (P)Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”
N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”
20 Awo Mukama n’andaga abaweesi bana. 21 (Q)Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?”
N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”
Omukazi n’Ogusota
12 Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ng’ayambadde enjuba n’omwezi nga guli wansi wa bigere bye, ng’alina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. 2 (A)Yali lubuto era ng’akaaba ng’alumwa okuzaala. 3 (B)Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. 4 (C)Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. 5 (D)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka. 6 (E)Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.
7 (F)Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika ab’omu kibinja kye ne balwanyisa ogusota n’eggye lya bamalayika baagwo. 8 Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. 9 (G)Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.
10 (H)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,
“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge
n’obwakabaka bwa Katonda waffe
awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.
Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,
eri Katonda waffe emisana n’ekiro,
agobeddwa mu ggulu.
11 (I)Ne bamuwangula
olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,
n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,
ne bawaayo obulamu bwabwe
nga tebatya na kufa.
12 (J)Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu,
nammwe abalituulamu musanyuke.
Naye mmwe ensi n’ennyanja zibasanze,
kubanga Setaani asse gye muli
ng’alina obusungu bungi,
ng’amanyi nti asigazza akaseera katono.”
13 (K)Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi. 14 (L)Naye omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng’eby’empungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gy’alabiririrwa era gy’akuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera n’ekitundu ky’ekiseera. 15 Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza. 16 Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala. 17 (M)Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana b’omukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. 18 Ne guyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2 (B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3 (C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4 (D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5 (E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.
6 (F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 (G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8 (H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
17 (A)Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe,
era n’atagondera nnyina,
liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,
ne liriibwa ensega.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.