Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the EHV. Switch to the EHV to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 28-30

28 “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
    n’ekifo gye balongooseza effeeza.
(A)Ekyuma kisimibwa mu ttaka,
    n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
(B)Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
    asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
    mu bifo eteyita bantu,
    ewala okuva abantu gye bayita.
(C)Ensi evaamu emmere,
    naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
Safira eva mu mayinja gaayo,
    era enfuufu yaayo erimu zaabu.
Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
    wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
    tewali mpologoma yali eyiseeyo.
Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
    n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10 Asima ensalosalo ku njazi;
    n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
11 Anoonya wansi mu migga,
    n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.

12 (D)“Naye amagezi gasangibwa wa?
    Okutegeera kuva wa?
13 (E)Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
    tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
    ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
15 (F)Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
    wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
    mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
17 (G)Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
    so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
18 (H)Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
    omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 (I)Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
    tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.

20 (J)“Kale amagezi gava ludda wa?
    N’okutegeera kubeera ludda wa?
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
    era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
22 (K)Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
    ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
23 (L)Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
    era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
24 (M)kubanga alaba enkomerero y’ensi
    era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
25 (N)Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
    n’apima n’amazzi,
26 (O)bwe yateekera enkuba etteeka
    era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
    n’agateekawo, n’agagezesa.
28 (P)N’agamba omuntu nti,
    ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
    n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”

29 (Q)Yobu n’ayongera okwogera nti,

(R)“Nga nneegomba emyezi egyayita,
    ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
(S)ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,
    n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
(T)Mu biro we nabeerera ow’amaanyi,
    omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange
    n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
(U)n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo
    n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.

(V)“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga
    ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali,
    abakadde ne basituka ne bayimirira;
(W)abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera,
    ne bakwata ne ku mimwa;
10 (X)ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera,
    ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11 Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima,
    era n’abo abandabanga nga basiima
12 (Y)kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi,
    n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 (Z)Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa,
    ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 (AA)Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange,
    obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 (AB)Nnali maaso g’abamuzibe
    era ebigere by’abalema.
16 (AC)Nnali kitaawe w’abanaku,
    ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 (AD)Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,
    ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.

18 (AE)“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange
    nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.
19 (AF)Omulandira gwange gulituuka mu mazzi,
    era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20 (AG)Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze,
    n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’ 

21 “Abantu beesunganga okumpuliriza,
    nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22 (AH)Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera,
    ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.
23 Bannindiriranga ng’enkuba
    ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.
24 Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza;
    ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25 (AI)Nabasalirangawo eky’okukola,
    ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge;
    nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”
30 (AJ)“Naye kaakano bansekerera;
    abantu abansinga obuto,
bakitaabwe be nnandibadde nteeka
    wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
    Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,
    bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,
    enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,
    ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,
    mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
Baakaabira mu bisaka ng’ensolo
    ne beekweka mu bikoola by’emiti.
Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,
    baagobebwa mu nsi.
(AK)Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;
    nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10 (AL)abatanjagala abanneesalako,
    banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11 (AM)Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;
    beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12 (AN)Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;
    bategera ebigere byange emitego,
    ne baziba amakubo banzikirize.
13 (AO)Banzingiza
    ne banzikiriza,
    nga tewali n’omu abayambye.
14 Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,
    bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15 (AP)Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;
    ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,
    era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”

Okubonaabona kwa Yobu

16 (AQ)“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
    ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange
    era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
    n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 (AR)Ansuula mu bitosi,
    ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.

20 (AS)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
    nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 (AT)Onkyukira n’obusungu;
    onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 (AU)Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
    n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 (AV)Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
    mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.

24 (AW)“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
    ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 (AX)Saakaabira abo abaali mu buzibu?
    Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 (AY)Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
    bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 (AZ)Olubuto lwange lutokota, terusirika;
    ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 (BA)Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
    nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 (BB)Nfuuse muganda w’ebibe,
    munne w’ebiwuugulu.
30 (BC)Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
    n’omubiri gwange gwokerera.
31 (BD)Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
    n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”

2 Abakkolinso 2:12-17

Pawulo mu Tulowa

12 (A)Bwe natuuka mu Tulowa olw’enjiri ya Kristo, Mukama n’anzigulirawo oluggi, 13 (B)saawumula mu mutima gwange, bwe ssaalaba owooluganda Tito. Bwe namala okubasiibula ne ndaga e Makedoniya.

Obuwanguzi mu Kristo

14 (C)Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna. 15 (D)Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. 16 (E)Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola? 17 (F)Tetuli ng’abangi abakozesa ekigambo kya Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.

Zabbuli 42

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.

Engero 22:7

Omugagga afuga abaavu,
    naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.