Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the GW. Switch to the GW to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 2:31-4:18

31 (A)Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.

Mbadde nga ddungu gye muli
    ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?
Kale lwaki abantu bange bagamba nti,
    “Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
32 Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,
    oba omugole okwerabira ekyambalo kye?
Naye ng’ate abantu bange
    Bannerabidde!
33 Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!
    N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
34 (B)Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu
    n’abatalina musango,
awatali kugamba nti
    bakwatibwa nga babba.
Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
35     (C)ogamba nti, “Sirina musango,
    ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
    olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
36 (D)Lwaki ogenda ng’okyusakyusa
    amakubo go!
Misiri ejja kukuswaza
    nga Bwasuli bwe yakuswaza.
37 (E)Era n’eyo olivaayo
    ng’emikono ogyetisse ku mutwe,
kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;
    tagenda kukuyamba.

Yuda Omukazi Atali Mwesigwa

(F)“Omusajja bw’agoba mukazi we,
    omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala,
omusajja we alimukomyawo nate?
    Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo?
Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi;
    naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?”
    bw’ayogera Mukama.
(G)Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.
    Waliwo ekifo we bateebakira naawe?
Ku mabbali g’ekkubo we watulanga
    n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu;
n’olyoka oyonoona ensi
    n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
(H)Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,
    n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.
Naye era otemya nga malaaya
    tokwatibwa nsonyi.
(I)Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange
    okuva mu buto bwange,
(J)onoonyiigira ddala emirembe gyonna,
    olisunguwala emirembe gyonna?
Bw’otyo bw’oyogera,
    naye okoze ebibi byonna ebisoboka.

Isirayiri, Atali Mwesigwa

(K)Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi. (L)Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba. (M)Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi. (N)Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge. 10 (O)Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.

11 (P)Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 12 (Q)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,

“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
    eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
    ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 (R)Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
    mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
    wansi wa buli muti oguyimiridde,
    era ne mutaŋŋondera,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

14 (S)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 15 (T)Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. 16 (U)Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. 17 (V)Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. 18 (W)Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.

19 (X)“Nze kennyini nalowooza

“nga nayagala okubayisanga nga batabani bange,
    era mbawe ensi eyeegombebwa,
    nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna.
Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’
    ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
20 Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera,
    bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,”
    bw’ayogera Mukama.

Okuyitibwa Okwenenya

21 (Y)Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri
    kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu,
nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi,
    ne beerabira Mukama Katonda waabwe.

22 (Z)“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,
    nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.”
Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli,
    kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
23 (AA)Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala
    temuli kantu.
Ddala mu Mukama Katonda waffe
    mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.
24 (AB)Naye okuva mu buto bwaffe
    bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala
bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe,
    batabani baabwe ne bawala baabwe.
25 (AC)Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde
    kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe,
okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno;
    kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
(AD)“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama,
    “eri nze gy’olina okudda.
Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna
    n’otosagaasagana,
(AE)era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya
    era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’
olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa
    era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”

(AF)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti,

“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,
    temusiga mu maggwa.
(AG)Mukoowoole Mukama,
    mweweeyo mutukuze emitima gyammwe
    mwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,
obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi,
    ne wataba ayinza kubuzikiza.”

Yuda Erumbibwa

(AH)“Kirangirire mu Yuda
    era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,
‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!
    Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,
    tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
(AI)Weereza obubaka eri Sayuuni nti,
    Mudduke temulwa,
kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,
    okuzikiriza okw’amaanyi.”

(AJ)Empologoma evudde mu kisaka kyayo,
    omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo.
Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa
    bibuleko abibeeramu.
(AK)Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,
    mukube ebiwoobe
kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.

(AL)Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo,
    kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo,
bakabona basamaalirire
    ne bannabbi beewuunye.”

10 (AM)Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”

11 (AN)Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa 12 (AO)embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.”

13 (AP)Laba ajja ng’ebire,
    amagaali ge ng’empewo y’akazimu,
embalaasi ze zidduka okusinga empungu;
    zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!
14 (AQ)Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe.
    Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
15 (AR)Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,
    nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
16 (AS)“Labula amawanga nti ajja:
    kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,
‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo
    nga balumba ebibuga bya Yuda.
17 (AT)Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro
    kubanga Yuda yanjeemera,’ ”
    bw’ayogera Mukama.
18 (AU)“Empisa zammwe,
    n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.
Kino kye kibonerezo kyammwe.
    Nga kya bulumi!
    Nga kifumita omutima.”

Abakkolosaayi 1:1-17

Okwebaza n’okusaba

(A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda, (B)tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.

(C)Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. (D)Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu, (E)olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri. (F)Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe. (G)Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo, (H)ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.

(I)Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 10 (J)Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 11 (K)Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 (L)nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 (M)Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Obulamu bwa Kristo

15 (N)Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. 16 (O)Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. 17 (P)Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.

Zabbuli 76

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(A)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(B)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(C)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(D)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(E)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(F)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(G)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (H)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (I)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.

Engero 24:21-22

21 (A)Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,
    era teweetabanga na bajeemu.
22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu
    era ani amaanyi akabi akalibatuukako?

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.