Chronological
1 (A)Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
2 Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,
era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
3 Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,
okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
4 (B)okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,
n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
5 (C)N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
6 (D)Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,
enjogera n’ebikokyo.
7 (E)Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
Amagezi eri Abavubuka
8 (F)Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
9 (G)bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
n’emikuufu mu bulago bwo.
10 (H)Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,
tokkirizanga.
11 (I)Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,
tunyage, tubbe n’okutta;
tokkirizanga;
12 (J)ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,
era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;
13 nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,
ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14 ng’ababi batuyita tubeegatteko,
tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
15 (K)Mwana wange totambuliranga wamu nabo,
era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16 (L)Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,
era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17 Nga kuba kumala biseera okutega omutego,
ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
18 naye abantu ng’abo baba beetega bokka,
baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19 (M)Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.
Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.
Okulabula Eri Abanyooma Amagezi
20 (N)Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;
gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,
era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
22 (O)Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,
nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
laba, ndifuka omutima gwange
n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 (P)Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 (Q)kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,
era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27 Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,
ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 (R)kale balinkoowoola, naye siriyitaba;
balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 (S)Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,
era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 (T)Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;
ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 (U)Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,
era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 (V)Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 (W)naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,
ng’agumye nga talina kutya kwonna.
Empeera y’Okunoonya Amagezi
2 Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
2 (X)era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3 ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4 (Y)bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5 (Z)awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
6 (AA)Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
7 (AB)Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
8 (AC)Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
9 Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
10 (AD)Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11 (AE)Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
n’okutegeera kunaakukuumanga:
12 Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13 (AF)abaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14 (AG)abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
abanyumirwa eby’obusirusiru,
15 (AH)abantu abo be b’amakubo amakyamu,
era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
16 (AI)Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 (AJ)eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 (AK)Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 (AL)Tewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
20 Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda
era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
21 (AM)Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,
era abo abagolokofu baligisigalamu.
22 (AN)Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,
n’abatali beesigwa balizikirizibwa.
Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi
3 (AO)Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,
era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 (AP)kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,
era bikukulaakulanye.
3 (AQ)Amazima n’ekisa tobyerabiranga;
byesibe mu bulago bwo,
obiwandiike ku mutima gwo.
4 (AR)Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa
eri Katonda n’eri abantu.
5 (AS)Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
so teweesigamanga ku magezi go gokka.
6 (AT)Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
7 (AU)Amagezi go tegakusigulanga,
naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
8 (AV)Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo
n’amagumba go ne gadda buggya.
Amagezi n’Obugagga
9 (AW)Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
10 (AX)olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu,
era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.
11 (AY)Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,
n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 (AZ)kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,
nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.
13 Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
omuntu oyo afuna okutegeera,
14 (BA)kubanga amagezi gasinga ffeeza
era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 (BB)Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:
era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 (BC)Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 (BD)Mu magezi mulimu essanyu,
era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 (BE)Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;
abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.
19 (BF)Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi;
n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20 n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja,
era n’ebire ne bivaamu omusulo.
Ab’amagezi Baweebwa Ekitiibwa
21 (BG)Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana,
ebyo biremenga okukuvaako,
22 (BH)binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo,
era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 (BI)Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo,
era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 (BJ)Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya,
weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.
25 Totyanga kabenje kootomanyiridde,
wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 (BK)Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo,
era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
27 Tommanga birungi abo be bisaanira
bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
28 (BL)Togambanga muliraanwa wo nti,
“Genda, onodda enkya ne nkuwa,”
ate nga kye yeetaaga okirina.
29 Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo,
atudde emirembe ng’akwesiga.
30 Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga
nga talina kabi k’akukoze.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.