Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 23-25

Abaleevi

23 (A)Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.

Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi. (B)Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana. (C)Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi. (D)Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.”

(E)Awo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

Abaana ba Gerusoni baali

Ladani ne Simeeyi.

Batabani ba Ladani baali

Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu.

Batabani ba Simeeyi baali

Seromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu,

era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani.

10 Batabani ba Simeeyi omulala

Yakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya,

be bana bonna awamu.

11 Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu.

12 (F)Batabani ba Kokasi baali

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana.

13 (G)Batabani ba Amulaamu baali

Alooni ne Musa.

Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna. 14 (H)Batabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi.

15 (I)Batabani ba Musa baali

Gerusomu ne Eryeza.

16 (J)Mu bazzukulu ba Gerusomu,

Sebweri ye yali omukulu.

17 Mu bazzukulu ba Eryeza,

Lekabiya ye yali omukulu.

Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala.

18 Mu batabani ba Izukali,

Seromisi ye yali omukulu.

19 (K)Mu batabani ba Kebbulooni,

Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.

20 Mu batabani ba Wuziyeeri,

Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri.

21 (L)Batabani ba Merali baali

Makuli ne Musi.

Batabani ba Makuli baali

Eriyazaali ne Kiisi.

22 Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa.

23 Batabani ba Musi baali

Makuli, Ederi ne Yeremosi be basatu.

24 (M)Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama. 25 (N)Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna, 26 (O)Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.” 27 Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo.

28 (P)Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda. 29 (Q)Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo. 30 (R)Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi, 31 (S)ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.

32 (T)Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.

24 (U)Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti:

Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. (V)Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona. (W)Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe. Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba. (X)Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.

(Y)Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.

(Z)Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu,

n’akokubiri ku Yedaya,

(AA)n’akokusatu ku Kalimu,

n’akokuna ku Seyolimu,

n’akookutaano ku Malukiya,

n’ak’omukaaga ku Miyamini,

10 (AB)n’ak’omusanvu ku Kakkozi,

n’ak’omunaana ku Abiya,

11 n’ak’omwenda ku Yesuwa,

n’ak’ekkumi ku Sekaniya,

12 n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu,

n’ak’ekkumi noobubiri ku Yakimu,

13 n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa,

n’ak’ekkumi noobuna ku Yesebeyabu,

14 (AC)ak’ekkumi noobutaano ku Biruga,

n’ak’ekkumi n’omukaaga ku Immeri,

15 (AD)n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri,

n’ak’ekkumi n’omunaana ku Kapizzezi,

16 n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya,

n’ak’amakumi abiri ku Yekezukeri,

17 ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini,

n’ak’amakumi abiri mu bubiri ku Gamuli,

18 n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya,

n’ak’amakumi abiri mu buna ku Maaziya.

19 Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.

Abaleevi Abalala

20 (AE)Bazzukulu ba Leevi abalala baali:

okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri;

okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya.

21 (AF)Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda.

22 Ku Bayizukaali Seromosi,

ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi.

23 (AG)Ku batabani ba Kebbulooni,

Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.

24 Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka;

ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri.

25 Muganda wa Mikka ye yali Issiya,

ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya.

26 (AH)Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi.

Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno.

27 Batabani ba Merali,

mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.

28 Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.

29 Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.

30 Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi.

Abo be baali Abaleevi, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

31 (AI)Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.

Abayimbi

25 (AJ)Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:

Ku batabani ba Asafu:

Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogw’obunnabbi, ate ye ng’akulirwa kabaka.

(AK)Ku batabani ba Yedusuni:

Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama.

Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka:

Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi. Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu.

(AL)Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka. Omuwendo gw’abo n’eŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu by’okuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana. (AM)Bonna baakubira obululu emirimu gye baaweebwa, abato n’abakulu, omutendesi ne gwe batendeka.

(AN)Akalulu akaasooka akaali aka Asafu kagwa ku Yusufu, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

akookubiri kagwa ku Gedaliya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

10 akookusatu kagwa ku Zakkuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

11 akookuna kagwa ku Izuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

12 akookutaano kagwa ku Nesaniya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

13 ak’omukaaga kagwa ku Bukkiya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

14 ak’omusanvu kagwa ku Yesalera, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

15 ak’omunaana kagwa ku Yesaya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

16 ak’omwenda kagwa ku Mattaniya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

17 ak’ekkumi kagwa ku Simeeyi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

18 ak’ekkumi n’akamu kagwa ku Azaleri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

19 ak’ekkumi noobubiri kagwa ku Kasabiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

20 ak’ekkumi noobusatu kagwa ku Subayeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

21 ak’ekkumi noobuna kagwa ku Mattisiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

22 ak’ekkumi noobutaano kagwa ku Yeremosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

23 ak’ekkumi n’omukaaga kagwa ku Kananiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

24 ak’ekkumi n’omusanvu kagwa ku Yosubekasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

25 ak’ekkumi n’omunaana kagwa ku Kanani, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

26 ak’ekkumi n’omwenda kagwa ku Mallosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

27 ak’amakumi abiri kagwa ku Eriyaasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

28 ak’amakumi abiri mu akamu kagwa ku Kosiri, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

29 ak’amakumi abiri mu bubiri kagwa ku Giddaluti, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

30 ak’amakumi abiri mu busatu, kagwa ku Makaziyoosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

31 (AO)ak’amakumi abiri mu buna kagwa ku Lomamutyezeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.