Add parallel Print Page Options

39 (A)Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:

Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,

Read full chapter

33 (A)Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:

Okuva mu Abakokasi;

Kemani, omuyimbi,

mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,

Read full chapter

41 (A)Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.

Read full chapter

42 (A)Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

Read full chapter

17 (A)Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zabudi muzzukulu wa Asafu, eyakulemberanga okwebaza mu kiseera eky’okusaba;

Bakubukiya omumyuka we mu baganda be;

ne Abuda mutabani wa Sammuwa, muzzukulu wa Galali, ate muzzukulu wa Yedusuni.

Read full chapter

(A)“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi.

Read full chapter

15 (A)Naye kaakano, mundeetere omukubi w’ennanga.” Omukubi w’ennanga bwe yali ng’akyakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gakka ku Erisa,

Read full chapter

16 (A)Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa.

Read full chapter

31 (A)Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu.

Read full chapter

12 (A)Abaleevi bonna abaali abayimbi, ng’omwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, ne bayimirira ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’ekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere.

Read full chapter

14 (A)N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.

Read full chapter

12 (A)Abasajja ne bakola omulimu n’obwesigwa. Abaabalabiriranga baali: Yakasi ne Obadiya Abaleevi ab’omu kika kya Merali, ne Zekkaliya ne Mesullamu ab’omu kika ky’Abakokasi. Abaleevi bonna abaakubanga ebivuga

Read full chapter

15 (A)N’abayimbi bazzukulu ba Asafu baali mu bifo byabwe nga Dawudi, ne Asafu, ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka, bwe baalagira. N’abaggazi baali ku buli luggi, nga tebava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.

Read full chapter

10 (A)Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, n’abaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka.

Read full chapter