Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 11-12

Dawudi ne Basuseba

11 (A)Awo mu biro ebyo, ekiseera bakabaka mwe bagendera okutabaala, Dawudi n’asindika Yowaabu n’abasajja be n’eggye lyonna erya Isirayiri. Ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza n’ekibuga kya Labba. Naye Dawudi n’asigala mu Yerusaalemi. (B)Olunaku olumu, mu ssaawa ez’olweggulo, Dawudi n’agolokoka, n’atambulatambula ku kasolya ak’olubiri lwe. N’asinziira waggulu eyo n’alengera omukazi ng’anaaba, era omukyala yali mulungi omubalagavu. (C)Dawudi n’atuma omuntu okugenda okumunoonyerezaako. Ne bakomawo ne bamutegeeza nti, “Oyo ye Basuseba muwala wa Eriyaamu mukyala wa Uliya Omukiiti.” (D)Awo Dawudi n’amutumya, n’ajja gy’ali, ne yeebaka naye. Yali mu kiseera eky’okwelongoosa obutali bulongoofu bwe. Oluvannyuma n’addayo ewuwe. Omukyala n’aba olubuto, n’atumira Dawudi nti, “Ndi lubuto.”

(E)Awo Dawudi n’atumira Yowaabu nti, “Mpeereza Uliya Omukiiti.” Yowaabu n’aweereza Uliya eri Dawudi. Uliya bwe yagenda gy’ali, Dawudi n’abuuza Yowaabu n’abaserikale bwe baali, n’olutalo bwe lwali. (F)Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo, onaabe ku bigere.” Uliya n’afuluma olubiri, kabaka n’amuweereza ekirabo. Naye Uliya n’ataserengeta wuwe, n’asula ku mulyango gw’olubiri n’abaddu ba mukama we, Dawudi. 10 Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Uliya teyazeeyo waka we,” n’abuuza Uliya nti, “Waakava olugendo, kiki ekikulobedde okuddayo eka ewuwo?” 11 (G)Uliya n’addamu Dawudi nti, “Essanduuko ne Isirayiri ne Yuda baasigadde mu weema, ne mukama wange Yowaabu n’abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale. Kale nnyinza ntya okugenda mu nnyumba yange okulya n’okunywa, n’okwebaka ne mukyala wange? Mazima nga bw’oli omulamu, sijja kukola kigambo bwe kityo.”

12 Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Sigalawo olunaku olulala olabe obanga enkya siikusindike kuddayo.” Bwatyo Uliya n’asigalawo olunaku olwo n’olw’enkya. 13 Dawudi n’ayita Uliya alye naye ekyekiro, n’amutamiiza akawungeezi ak’olunaku olwo, Uliya n’agenda n’agalamira ku mukeeka gwe n’abaddu ba mukama we, n’ataddayo wuwe. 14 (H)Enkeera Dawudi n’awandiikira Yowaabu ebbaluwa n’agiwa Uliya agitwale. 15 (I)Yawandiika mu bbaluwa nti, “Uliya muteeke mu maaso ddala olutalo we luli olw’amaanyi, mumwabulire, afumitibwe afe.”

16 Awo Yowaabu bwe yali ng’ataayizza ekibuga, n’addira Uliya n’amuteeka mu kifo kye yamanya nga waaliyo abalabe ab’amaanyi. 17 Abasajja ab’ekibuga bwe baafuluma okulwana ne Yowaabu, abamu ku basajja ba Dawudi ne battibwa, ne Uliya Omukiiti yali omu ku abo abattibwa.

18 Awo Yowaabu n’aweereza Dawudi amawulire gonna agafudde mu lutalo, 19 n’alagira gwe yatuma nti, “Bw’onoomala okutegeeza kabaka amawulire gonna agafudde mu lutalo, 20 n’alabika nga munyiivu, n’abuuza nti, ‘Lwaki mwasemberedde nnyo ekibuga nga mulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku Bbugwe? 21 (J)Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere ey’empeke, ng’asinziira ku bbugwe, n’afiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”

22 Awo omubaka n’agenda n’ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma okwogera. 23 Omubaka n’agamba Dawudi nti, “Abasajja batusinzizza amaanyi ne batulumba ku ttale, naye ne tubagoba okutuusa ku wankaaki ow’ekibuga. 24 Naye abalasi basinzidde ku bbugwe ne balasa abaddu, era abamu ku baddu ba kabaka baafudde, n’omuddu wo Uliya Omukiiti naye mwe yafiiridde.”

25 Dawudi n’agamba omubaka nti, “Ggamba Yowaabu nti, ‘Ekigambo ekyo kireme okukubuza emirembe, kubanga ekitala olumu kitta omu n’olulala ne kitta omulala. Munyiikirire okulumba ekibuga mukiwambe.’ Era Yowaabu mugambe agume omwoyo.”

26 Awo mukyala wa Uliya bwe yawulira nti bba afudde, n’amukungubagira. 27 (K)Okukungubaga bwe kwaggwa, Dawudi n’amutumya, n’amuleeta mu nnyumba ye, n’afuuka mukyala we, n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Naye ekigambo ekyo Dawudi kye yakola ne kitasanyusa Mukama.

Nasani Anenya Dawudi

12 (L)Awo Mukama n’atuma Nasani eri Dawudi amugambe nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga, omulala nga mwavu. Omugagga yalina ebisibo by’endiga bingi n’ente nnyingi; naye omwavu nga taliiko bw’ali wabula yalina omwana gw’endiga gumu nga muluusi gwe yagula. N’alabirira omwana gw’endiga ogwo, ne gukula n’abaana be, ne gugabananga ku mmere ye, ne gunyweranga wamu naye, era n’aguleranga. Gwali ng’omwana we owoobuwala gy’ali.

“Lwali lumu ne wajja omutambuze eri nnaggagga, naye nnaggagga oyo n’atayagala kuddira emu ku ndiga ze oba nte ze okuteekerateekera omutambuze oyo ekyokulya. Kyeyava addira omwana gw’endiga guli ogw’omwavu n’aguteekerateekera omugenyi we.”

(M)Awo Dawudi n’asunguwalira nnyo omusajja nnaggagga, n’ayogera nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, omusajja akoze ekintu bwe kityo ateekwa (N)okusasula emirundi ena olw’ekikolwa ekyo, kubanga talina kusaasira, era asaanira attibwe.”

(O)Nasani n’agamba Dawudi nti, “Omusajja oyo ye ggwe. Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, ne nkulokola mu mukono gwa Sawulo, (P)ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne nkukwasa ne bakyala ba mukama wo, ne nkuwa ennyumba ya Isirayiri ne Yuda; ebyo singa byali tebimala nandikwongedde bingi n’okusingawo. (Q)Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama, n’okukola n’okola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala, n’otwala mukyala we n’omufuula owuwo.’ 10 (R)Wamutta n’ekitala eky’Abaana ba Amoni. Noolwekyo ekitala tekiriva mu nnyumba yo, kubanga onnyoomye n’otwala mukyala wa Uliya Omukiiti n’omufuula owuwo.

11 (S)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ng’olaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana. 12 (T)Wakikola mu kyama, naye nze ndikikola mu maaso ga Isirayiri yenna, emisana.’ ”

13 (U)Awo Dawudi n’agamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani n’addamu nti, “Kale, Mukama aggyeewo ekyonoono kyo era toofe. 14 (V)Naye olw’ekikolwa ekyo, oleetedde abalabe ba Mukama okumunyooma, omwana anaakuzaalirwa kyanaava afa.” 15 (W)Nasani bwe yaddayo eka, Mukama n’alwaza nnyo omwana muka wa Uliya gwe yazaala. 16 (X)Dawudi ne yeegayirira Katonda ku lw’omwana, n’asiiba, n’agenda mu nnyumba ye n’amala ekiro kyonna nga yeebase wansi. 17 (Y)Abakadde ab’ennyumba ye ne bagendanga gy’ali, okumuwaliriza asituke, alye ne ku mmere, naye n’agaana.

18 Ku lunaku olw’omusanvu omwana n’afa. Naye abaddu ba Dawudi ne batya okumutegeeza nti omwana afudde, nga bagamba, nti, “Omwana bwe yali omulamu twagezaako okwogera naye, n’atatuwuliriza, olwo binaabeera bitya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde? Ayinza okutabukira ddala.”

19 Naye Dawudi n’alaba abaddu be nga boogera obwama, n’ategeera nti omwana afudde. N’ababuuza nti, “Omwana afudde?” Ne baddamu nti, “Afudde.”

20 (Z)Awo Dawudi n’ava wansi, n’anaabako, ne yeerongoosa, n’akyusa ebyambalo bye, n’alaga mu nnyumba ya Mukama n’asinza. Oluvannyuma n’addayo mu nnyumba ye, n’asaba emmere, n’alya. 21 (AA)Abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki ekyo ky’okola? Omwana bwe yali omulamu, wasiiba n’okaaba, naye kati afudde, ogolokose, olya!” 22 (AB)N’addamu nti, “Omwana we yabeerera omulamu, n’asiiba ne nkaaba, nga ndowooza nti, ‘Ani amanyi, Mukama ayinza okunsaasira, omwana n’aba mulamu?’ 23 (AC)Naye kaakano afudde, kiki ekinsiibya? Nkyayinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy’ali, naye ye talikomawo gye ndi.”

24 (AD)Awo Dawudi n’akubagiza mukyala we Basuseba, ne yeetaba naye, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi, ne bamutuuma Sulemaani, Mukama n’amwagala, 25 (AE)era olw’okwagala okwo, Mukama kyeyava atuma Nasani nnabbi n’amutuuma Yedidiya, amakulu nti ayagalibwa Mukama.

26 (AF)Mu biro ebyo Yowaabu n’alwana n’abaana ba Amoni, n’awamba Labba ekibuga kyabwe ekikulu. 27 Yowaabu n’atumira Dawudi nti, “Nnumbye Labba, era n’amazzi gaabwe ngasazeeko. 28 Kaakano kuŋŋaanya eggye lyonna, otabaale ekibuga ekikulu, okiwambe, nga sinnaba kukitwala, ne kituumibwa erinnya lyange.”

29 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya eggye lyonna n’ayolekera Labba, n’akirumba era n’akiwamba. 30 (AG)N’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agyetikkira ku mutwe gwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga. 31 (AH)N’aggya abantu abaali mu kibuga, n’abatwala okuba abapakasi; ne bakozesanga emisomeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi, n’abalala ne babumbanga amatoffaali. Mu ngeri y’emu n’akozesanga abantu ab’ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni. Oluvannyuma Dawudi n’eggye lye lyonna, ne baddayo e Yerusaalemi.

1 Ebyomumirembe 20

Labba Kiwambibwa

20 (A)Awo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza. Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo. (B)Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.

(C)Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo ne wabalukawo entalo n’Abafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi n’atta Sippayi omu ku bazzukulu b’agasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti.

(D)Mu lutalo olulala n’Abafirisuuti, Erukanani mutabani wa Yayiri n’atta Lakani muganda wa Goliyaasi Omugitti, eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.

Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu b’agasajja aganene, ng’alina engalo mukaaga ku buli mukono, n’obugere mukaaga ku buli kigere. Yasoomooza nnyo Isirayiri, era Yonasaani mutabani wa Simeeyi, muganda wa Dawudi n’amutta.

Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa ow’e Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi n’abasajja be.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.