Add parallel Print Page Options

(A)N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.”

Read full chapter

Nnabbi Anenya Akabu

35 (A)Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana.

36 (B)Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya Mukama, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta.

37 Mutabani wa nnabbi n’asanga omusajja omulala, n’amugamba nti, “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n’amufumita n’amuleetako ekiwundu. 38 Awo n’agenda n’alindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ng’abisse ekiremba kye ku maaso ge. 39 (C)Kabaka bwe yali ng’ayitawo, mutabani wa nnabbi n’amukoowoola ng’agamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaabula ggw’onottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’ 40 Omuddu wo bwe yali ng’atawaana erudda n’erudda, laba omusajja n’abula.”

Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Ogwo musango gwo, era ogwesalidde.”

41 Awo mutabani wa nnabbi n’ayanguwa, okuggya ekiremba ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri n’amutegeera nga y’omu ku bannabbi.

Read full chapter

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
    ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
    nziggyaako ebyonoono byange byonna.
(B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
    ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

(C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
    era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
(D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
    ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
    era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
(E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
    kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
(F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
    Ompe amagezi munda ddala mu nze.

(G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
    onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
(H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
    amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
(I)Totunuulira bibi byange,
    era osangule ebyonoono byange byonna.

10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
    era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
    era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
    era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
    n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
    ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
    olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
    n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
    n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
    Omutima ogumenyese era oguboneredde,
    Ayi Katonda, toogugayenga.

18 (R)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
    Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (S)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
    ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
    n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.

Footnotes

  1. 51:7 Ezobu kimera ekisangibwa mu Asiya, era kikozesebwa okutuukiriza obulombolombo obw’enjawulo okutukuzibwa, mu Baebbulaniya

Awo omukazi ow’e Tekowa n’agenda eri kabaka, n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, n’ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.”

Read full chapter