Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 9-11

Ab’e Gibyoni Basala Olukwe

(A)Bakabaka baamawanga gonna agaali emitala w’omugga Yoludaani ku nsozi ne mu bikko ne ku lubalama lw’ennyanja ennene okwolekera Lebanooni; omwo nga mwe muli Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi bonna bwe baawulira ebibaddewo ne beekobaana okulwana ne Yoswa n’Abayisirayiri.

(B)Naye abatuuze b’omu Gibyoni[a] bwe baawulira Yoswa ky’akoze Yeriko ne Ayi ne basala amagezi ne bateekateeka emmere n’ebyokunywa ne babissa mu bisawosawo ebikadde ebitungiriretungirire ne babiteeka ku ndogoyi zaabwe, ne bambala ebigoye ebiyulifuyulifu n’engatto entungirire, emmere yaabwe yonna yali nkalu ate nga yakukula. (C)Ne bagenda eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba wamu n’Abayisirayiri nti, “Ffe tuva mu nsi yeewala, twagala tukole nammwe endagaano.”

(D)Naye Abayisirayiri ne bagamba Abakiivi[b] nti, “Mmwe abatabeera mu ffe tukola tutya nammwe endagaano?”

(E)Ne baddamu nti, “Ffe tuli baddu bo.” Yoswa n’abagamba nti, “Mmwe baani era muva wa?”

(F)Ne baddamu nti, “Tuzze lwa Mukama Katonda wammwe; twawulira byonna bye yakola e Misiri, 10 (G)era n’ebyo bye yakola bakabaka ababiri Abamoli abaabeeranga emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka w’e Kesuboni ne Ogi kabaka we Basani abaabeeranga mu Asitaloosi. 11 Abakulembeze n’abantu b’ewaffe bonna beebaatugamba nti, ‘Mwesibire entanda mugende musisinkane Abayisirayiri mubagambe nti, “Ffe tuli baddu bammwe kale tukole nammwe endagaano.” ’ 12 Kale laba emmere yaffe eno we twaviira eka ng’ekyayokya naye olw’olugendo oluwanvu kaakano yiino yonna nkalu era ekukudde n’okukula. 13 Ensawo z’omwenge zino ez’amaliba zaali mpya era nga zijjudde omwenge, naye kaakano laba n’okwabika zaabise; ebyambalo n’engatto zaffe byonna byabise olw’olugendo oluwanvu lwe tutambudde.”

14 (H)Abayisirayiri, awatali kumala kubuuza eri Mukama, ne bakkiriza okulya ku mmere y’abatambuze bano. 15 (I)Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bakola nabo endagaano y’emirembe era ne beerayirira obutabakolako kabi konna.

Ab’e Gibyoni Babonerezebwa

16 Nga wayiseewo ennaku ssatu ng’endagaano ewedde okukola, Abayisirayiri ne bakivumbula ng’abantu abo baliraanwa baabwe. 17 (J)Abayisirayiri ne bagenda okunoonyereza, ku lunaku olwokusatu ne batuuka mu bibuga by’abantu bano: Gibyoni, ne Kefira, ne Beroosi ne Kiriyasuyalimu. 18 (K)Naye Abayisirayiri tebatta bantu bano kubanga abakulembeze baabwe baali baamala dda okwerayirira mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri obutabatta. Abayisirayiri bonna ne beemulugunyiza abakulembeze baabwe. 19 Naye bo abakulembeze ne bakakata nti, “Twamala dda okwerayirira mu maaso ga Mukama Katonda wa Isirayiri, tetuyinza kubatta. 20 Tetuteekwa kubatta kubanga twalayira obutakikola, singa tukikola obusungu bwa Mukama bujja kutubuubuukirako.” 21 (L)Abakulembeze b’Abayisirayiri ne bagamba nti, “Temubatta.” Bwe batyo ne bafuuka baakwasanga nku era n’okukimanga amazzi g’Abayisirayiri ng’abakulembeze bwe babalagira.

22 (M)Yoswa n’ayita abantu abo n’ababuuza nti, “Naye lwaki mwatulimba nti muli b’ewala, so nga ate muli baliraanwa baffe? 23 (N)Kale nno kaakano mukolimiddwa, munaabeeranga baddu, baakwasanga nku era n’okukimanga amazzi mu nnyumba ya Katonda wange.”

24 (O)Yoswa ne bamuddamu nti, “Abaddu bo kino twakikola lwa kubanga twawulira nti, Mukama Katonda wo yalagira omuddu we Musa okubawa ensi eno era n’okuzikiriza bonna abagibeeramu, bwe tutyo ne tutya nnyo ne twagala okuwonya obulamu bwaffe kye kyatukozeseza ekintu kino. 25 (P)Naye tuutuno kaakano tuli mu mukono gwo gw’omanyi eky’okutukolera.”

26 Bw’atyo Yoswa n’awonya abantu bano mu mukono gw’Abayisirayiri, ne batabatta. 27 (Q)Naye okuva olwo n’abafuula baakwasanga nku n’okukimiranga Abayisirayiri amazzi, era n’okuweerezanga ku kyoto kya Mukama mu kifo Mukama ky’anaalondanga okukiteekamu. Era bwe batyo bwe bakola ne leero.

Abamoli Bawangulwa

10 (R)Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi bwe yawulira nga Yoswa awambye Ayi era ng’akizikiririzza ddala nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waayo, era bwe yawulira nti abantu b’omu Gibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abayisirayiri era nga kaakano babeera nabo, Adonizedeki n’atya nnyo kubanga Gibyoni kyali kibuga gagadde ng’ebibuga bya bakabaka bwe byali, nga kisingira ddala Ayi ate nga n’abasajja baamu bakirimaanyi. (S)Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti, (T)“Mujje munziruukirire tuzikirize ekibuga Gibyoni kubanga abantu baamu bakoze endagaano y’emirembe ne Yoswa n’Abayisirayiri.”

(U)Bwe batyo bakabaka abataano Abamoli, n’ow’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’owe Eguloni ne beekobaana ne bayungula amaggye gaabwe ne bagakuluumulula ne balumba Gibyoni.

Abasajja b’omu Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekulira basajja bo, yanguwako otudduukirire kubanga bakabaka bonna Abamoli ababeera eyo mu gasozi beekobaanye okututabaala.”[c] (V)Bw’atyo Yoswa n’ava e Girugaali n’abasajja be abalwanyi ba nnamige. (W)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga bonna mbagabudde mu mukono gwo, teri n’omu ku bo anaalama.”

Yoswa n’abasajja be ne bakeesa obudde nga batambula okuva e Girugaali ne balyoka bagwa ku b’Amoli ekiyiifuyiifu. 10 (X)Mukama n’abaleetera okutya mu maaso g’Abayisirayiri ne babatta olutta lunene nnyo e Gibyoni ne babafubutula okubambusa e Besukolooni, ne bagenda nga babatta okuyitira ddala e Azeka okutuuka e Makkeda. 11 (Y)Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, Mukama n’abasuulako amayinja amanene ag’omuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga n’abattibwa Abayisirayiri.

Enjuba Esikattira

12 (Z)Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti,

“Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni,
    naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”
13 (AA)Enjuba n’omwezi ne bikola nga bwe babiragidde
    okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe.

Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.

Enjuba n’eyimirira butengerera ku ggulu n’eteva mu kifo okumala olunaku lulamba. 14 (AB)Tewali lunaku lwali lubadde nga luno, Mukama okuwulira omuntu obwenkaniddaawo; Mukama yalwanirira nnyo Isirayiri.

15 (AC)Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa n’Abayisirayiri ne bakomawo ne basiisira e Girugaali.

16 Bakabaka bali abataano ne badduka ne beekukuma mu mpuku e Makkeda. 17 Ne bagamba Yoswa nti, “Bakabaka abataano bazuuliddwa, beekwese mu mpuku.” 18 Yoswa n’alagira nti, “Muyiringise agayinja aganene mugateeke ku mumwa gw’empuku era mufuneeyo n’abasajja bagikuume; 19 naye mmwe abalwanyi temubeerawo wabula mugobe abalabe bammwe, temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga ebyo Mukama Katonda wammwe abibawadde.”

20 (AD)Awo Yoswa n’Abayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe olutta ssinziggu olubamalirawo ddala, abo abaali basigaddewo baddukira mu bibuga ebiriko ebigo, 21 olwo abantu bonna ne bakomawo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali. Teri muntu yaddayo kwogerera Bayisirayiri mafuukuule.

22 Oluvannyuma Yoswa n’abagamba nti, “Mugguleewo omumwa gw’empuku mundeetere bakabaka abo abataano.” 23 Ne bakola nga bwalagidde ne bamuleetera kabaka w’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’ow’e Eguloni. 24 (AE)Bwe baabamuleetera, Yoswa n’akoowoola Abayisirayiri bonna, n’alagira abaduumizi b’eggye abaali naye nti, “Musembere wano kumpi, mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Nabo ne basembera kumpi ne bakola nga bw’abalagidde.

25 (AF)Yoswa n’abagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube n’amaanyi era n’obuvumu kubanga eno y’engeri Mukama gy’anaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.” 26 Yoswa bwe yamala okwogera ebyo n’addira bakabaka bali n’abatta, emirambo gyabwe n’agiwanika buli gumu ku muti okutuusiza ddala akawungeezi.

27 (AG)Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa n’alagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gw’empuku n’okutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko.

Abamoli Bazikiririzibwa Ddala

28 (AH)Ku lunaku olwo Yoswa n’alumba Makkeda n’akizikiriza ne kabaka waayo n’amuttisa obwogi bw’ekitala, abaayo bonna n’abazikiriza, kye yakola kabaka w’e Yeriko era kye yakola n’ow’e Makkeda.

29 Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava e Makkeda, ne bagenda e Libuna ne bakizinda, 30 era nakyo Mukama n’akibawanguza, n’atta abaakirimu bonna n’obwogi bw’ekitala, tewali n’omu gwe yalekawo. Kye yakola kabaka we Yeriko era kye yakola n’ow’e Libuna.

31 Yoswa n’Abayisirayiri ne bava e Libuna ne bazinda Lakisi, ne bakyetooloola ne bakikuba. 32 Ku lunaku olwokubiri Mukama n’akibawanguza, ne bazikiriza n’ekitala buli muntu yenna eyakirimu era nga bwe baakola e Libuna. 33 (AI)Kolamu kabaka w’e Gezeri n’agezaako okudduukirira Lakisi oyo naye Yoswa n’amutta era n’atalekaawo yadde n’omu ku bantu be.

34 Yoswa n’Abayisirayiri bonna bwe baava e Lakisi ne bagenda e Eguloni, ne bakyetooloola kyonna ne bakikuba. 35 Ku lunaku olwo lwennyini ne bazikiriza n’obwogi bw’ekitala buli eyakirimu nga bwe baakola Lakisi.

36 (AJ)Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava mu Eguloni ne bazinda Kebbulooni, 37 ne bakikuba; ne bazikiriza n’ekitala abantu baayo bonna era ne kabaka waabwe n’obubuga bwamu bwonna nga bwe baakola mu Eguloni.

38 (AK)Yoswa n’Abayisirayiri bonna ate ne bawetamu ne baddayo e Debiri ne bakikuba. 39 Ne bakiwamba ne bazikiriza n’ekitala kabaka waakyo n’abantu baakyo bonna n’obubuga bwakyo bwonna, era nga bwe baakola e Kebbulooni ne Libuna bwe baakola ne Debiri.

40 (AL)Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi eyo yonna ey’agasozi, n’ebiwonvu, n’ensenyi ne bakabaka baayo bonna, tewali kiramu na kimu kye yaleka nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira. 41 (AM)Yoswa n’awangulira ddala okuva e Kadesubanea okutuuka e Gaaza mu nsi yonna ey’e Goseni[d] okutuukira ddala e Gibyoni. 42 (AN)N’awamba bakabaka bano bonna n’ensi zaabwe mu lulumba lumu lwokka kubanga Mukama Katonda wa Isirayiri yalwanirira Isirayiri.

43 (AO)Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali.

11 (AP)Awo Yabini kabaka w’e Kazoli bwe yakimanya, n’atumya Yobabu kabaka w’e Madoni n’eri kabaka w’e Simuloni n’eri kabaka w’e Akusafu, (AQ)ne bakabaka abaali mu bukiikakkono mu nsi ey’ensozi, ne mu Alaba mu bukiikaddyo e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez’e Doli ku luuyi olw’ebugwanjuba. (AR)N’atumya Abakanani ebuvanjuba n’ebugwanjuba, n’Abamoli, n’Abakiiti n’Abaperezi, n’Abayebusi mu nsi ey’ensozi, n’Abakiivi wansi wa Kerumooni mu nsi ey’e Mizupa. (AS)Ne bajja, n’amaggye gaabwe gonna, nga bangi nnyo nga bali ng’omusenyu gw’ennyanja, era ne bajja n’embalaasi nnyingi nnyo n’amagaali mangi nnyo. (AT)Awo bakabaka bano bonna ne beegatta ne bakuba olusiisira olwa awamu ku nzizi ez’e Meromu, balwanyise Isirayiri.

Olutalo lwe Meromu

(AU)Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga obudde nga bwe buti enkya nzija kubawaayo bonna eri Isirayiri, bafumitibwe, battibwe, embalaasi muziteme enteega n’amagaali gookebwe.”

Awo Yoswa n’abalwanyi be bonna ne balumba abalabe ku nzizi ez’e Meromu. (AV)Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Isirayiri ne babawangula ne babagobera ddala, okubatuusa mu Sidoni ekinene ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu kye Mizupa ebuvanjuba, ne babazikiririza ddala obutalekaawo n’omu. Yoswa n’abakolako nga Mukama bwe yamulagira, embalaasi zaabwe nazitema enteega, n’amagaali gaabwe n’agookya omuliro.

10 Mu kiseera ekyo Yoswa n’addako emabega n’awamba Kazoli, kabaka waakyo n’amutta n’ekitala kubanga emabegako Kazoli kye kyali ekitebe ky’obwakabaka obwo bwonna. 11 (AW)Era ne batta buli muntu yenna eyakirimu ne watasigalawo n’omu ne Kazoli n’akyokya omuliro.

12 (AX)Yoswa n’awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baabyo, n’abatta n’ebitala n’abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira. 13 Okuggyako Kazoli, ebibuga ebirala byonna ebyali bizimbiddwa ku bifunvu, Yoswa teyabyokya. 14 (AY)Abaana ba Isirayiri ne beetwalira omunyago gwonna ogw’ebibuga bino n’ente, era ne batta buli muntu yenna ne babazikiriza awatali kusigala n’omu assa omukka. 15 (AZ)Nga Mukama bwe yalagira omuddu we Musa, bw’atyo Musa bwe yalagira Yoswa era ne Yoswa bwe yakola; talina kye yaleka takoze ku byonna Mukama bye yalagira Musa.

16 (BA)Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi yonna, n’ensi ey’ensozi n’ey’obugwanjuba yonna, n’ekitundu kya Goseni kyonna, ensi ey’ensenyi ne Alaba, n’ensi yaayo yonna ey’ensenyi. 17 (BB)Okuva ku lusozi Kalaki, okulinnya okutuuka e Seyiri, n’okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w’olusozi Kerumooni ne bakabaka baayo bonna n’abawamba, n’abafumita, n’abatta. 18 Yoswa n’alumba n’alwana ne bakabaka abo bonna okumala ebbanga. 19 (BC)Tewali kibuga kyakola ndagaano ya mirembe n’abaana ba Isirayiri okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni; byonna baabilwanyisa ne babiwangula, 20 (BD)kubanga Katonda yennyini ye yakakanyaza emitima gyabwe balwane ne Isirayiri, alyoke abazikiririze ddala, abamalirewo ddala awatali kubakwatirwa kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.

21 (BE)Mu kiseera ekyo Yoswa n’agenda n’azikiriza n’amalawo Abanaki mu nsi ey’ensozi, mu Kebbulooni, ne mu Debiri, ne mu Anabu, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Isirayiri. Yoswa n’abazikiririza ddala, bonna n’ebibuga byabwe. 22 (BF)Tewali Banaki baasigalawo mu nsi y’abaana ba Isirayiri, okuggyako mu Gaza, ne mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigalako abamu. 23 (BG)Yoswa bw’atyo bwe yatwala ensi yonna nga Mukama bwe yalagira Musa, n’agiwa abaana ba Isirayiri okuba omugabo nga bwe yayawulibwa mu bika byabwe. Olwo ensi n’ewummula entalo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.