Chronological
Ekiragiro ky’Okwagalanga Mukama Katonda
11 (A)Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye by’akukuutira, n’ebiragiro bye, n’amateeka ge ennaku zonna. 2 (B)Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, n’ekitiibwa kye n’omukono gwe ogw’amaanyi, era ogw’obukuumi; 3 era abataalaba ku byamagero bye yakola n’ebintu byonna bye yakolera wakati mu Misiri, ku Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’eri ensi ye yonna; 4 (C)ne bye yakola eggye lya Misiri n’embalaasi zaalyo n’amagaali gaalyo; era nga amaggye ago bwe yagazikiririza mu mazzi ag’omu Nnyanja Emyufu bwe gaali nga gabagoberera, n’agamalirawo ddala n’okutuusa leero. 5 Abaana bammwe si be baalaba ebyo byonna Mukama bye yabakolera okuva nga muli mu ddungu n’okutuuka wano mu kifo kino, 6 (D)era ne kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, mutabani wa Lewubeeni, ettaka bwe lyayasamya akamwa kaalyo, wakati mu baana ba Isirayiri bonna, ne libamira n’ab’omu maka gaabwe bonna, n’eweema ez’ensiisira zaabwe zonna, ne buli kiramu kyabwe kyonna kye baalinako obwannannyini. 7 Naye mmwe bennyini mwe mwabiraba n’amaaso gammwe, ebintu ebyo ebikulu Mukama by’azze akola.
Ekiragiro ky’Okukwatanga Amateeka
8 (E)Noolwekyo mukwatenga amateeka gonna ge mbalagira leero, mulyoke mubeere n’amaanyi okuyingira mu nsi gye mujja okwefunira, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani, 9 (F)bwe mutyo mulyoke muwangaalenga nga muli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa awamu ne bazzukulu baabwe, ng’eyo ye nsi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10 Kubanga ensi gy’ogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ng’ensi y’e Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo n’ozifukiriranga n’ebbomba gye wasambyanga ekigere, ng’afukirira ennimiro y’enva. 11 (G)Naye ensi gye mugenda okwefunira nga musomose omugga Yoludaani, ye nsi ey’ensozi n’ebiwonvu, enywa amazzi g’enkuba agava mu ggulu. 12 (H)Ye nsi Mukama Katonda wo gy’alabirira. Amaaso ga Mukama Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.
13 (I)Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna, 14 (J)kale, anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo: enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, olyoke okungulenga emmere yo ey’empeke, weefunire ne wayini omusu n’amafuta. 15 (K)Era anaakuzanga omuddo mu malundiro go ente zo gwe zinaalyanga; naawe onoolyanga emmere n’okkuta.
16 (L)Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga. 17 (M)Kale obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirangako, n’aggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, n’ettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi Mukama gy’abawa.
Abaana Abato Okuyigirizibwanga Amateeka
18 (N)Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. 19 (O)Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga. 20 (P)Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi, 21 (Q)mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu w’ensi, nga muli mu nsi Mukama gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa.
22 (R)Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako; 23 (S)kale, Mukama anaagobangamu amawanga ago gonna aganaabanga mu maaso gammwe, ne mwefunira ensi z’amawanga ago agabasinga mmwe obunene era n’amaanyi. 24 (T)Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba. 25 (U)Tewaabengawo muntu n’omu anaasobolanga okubaziyiza. Mukama Katonda wammwe aliteeka entiisa n’ekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza.
Omukisa n’Ekikolimo
26 (V)Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’ekikolimo. 27 (W)Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero; 28 (X)ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi. 29 (Y)Mukama Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogyetwalire ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira, omukisa oguteekanga ku lusozi Gerizimu, n’ekikolimo ku lusozi Ebali. 30 (Z)Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olw’ebugwanjuba obw’oluguudo ng’oyolekedde enjuba gy’egwa, okumpi n’emiti eminene egy’e Mole, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali. 31 (AA)Muli kumpi okusomoka omugga Yoludaani mwefunire ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa. Bwe mulimala okugyetwalira, nga mwe mubeera, 32 mwegenderezenga nnyo mugonderenga amateeka gonna, n’ebiragiro bye nteeka mu maaso gammwe leero.
Ekyoto Kimu Kyokka eky’Ebiweebwayo
12 (AB)Gano ge mateeka n’ebiragiro bye musaana okukwatanga n’obwegendereza, nga muli mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjaabo gy’akuwadde okubeera obutaka bwo ebbanga lyonna lye mulimala ku nsi. 2 (AC)Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene, 3 (AD)bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala.
4 Mukama Katonda wammwe, ye temumusinzanga mu ngeri eyo nga bali bwe bakola. 5 (AE)Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza; 6 (AF)awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe. 7 (AG)Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.
8 Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bw’alaba ekisaanidde, 9 kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw’abawa. 10 (AH)Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi Mukama Katonda wammwe gy’abawa nga bwe busika bwammwe, ng’abawadde n’okuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde n’okutuula ne mutuulanga mu mirembe; 11 (AI)kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama. 12 (AJ)Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe. 13 Weekuumanga n’otaweerayo biweebwayo by’omu buli kifo kyonna ky’onoolabanga. 14 (AK)Obiweerengayo mu kifo ekyo ekimu kyokka Mukama ky’anaakulonderanga okuva mu kimu ku bika byo; era omwo mw’onookoleranga ebyo byonna bye nkulagira.
Ebiragiro ku Biweebwayo ebitali bya bulijjo
15 (AL)Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, n’olya ennyama nnyingi nga bw’onooyagalanga, ng’omukisa bwe guli Mukama Katonda wo gw’anaakuwanga. Abalongoofu mu by’emikolo n’abatali balongoofu, bonna banaalyanga. 16 (AM)Wabula omusaayi temugulyanga; munaaguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. 17 Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo ey’empeke, oba ekya wayini wo, oba eky’amafuta go; oba ebibereberye eby’omu bisibo byo n’eby’omu biraalo byo, oba n’obweyamo bwo oba n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde n’ebirabo ebitali bya bulijjo. 18 (AN)Onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ekyo Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu buli kintu kyonna ky’onoobanga okoze n’emikono gyo. 19 (AO)Weekuumanga nnyo obutalagajjaliranga Muleevi ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu ku nsi.
20 (AP)Mukama Katonda wo bw’aligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, n’oyoyanga okulya ku nnyama ng’ogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. 21 Ekifo, Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde okuteekamu Erinnya lye, bwe kinaabanga kiri wala n’ewuwo kale onooyinzanga okutta ku zimu ku nsolo ez’omu bisibo byo ne mu biraalo byo Mukama by’anaabanga akuwadde, nga bwe nkulagidde; era mu bibuga byo onooyinzanga okulya ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. 22 (AQ)Onoogiryanga nga bw’onoolyanga empeewo n’enjaza. Abalongoofu n’abatali balongoofu bonna banaalyanga. 23 (AR)Naye weekuumenga obutalyanga musaayi; kubanga omusaayi bwe bulamu, ate nga tekikugwaniranga kulyanga bulamu ng’olya ennyama. 24 Togulyanga; oguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. 25 (AS)Togulyanga, olyoke obeerenga mu ddembe, ggwe, n’abaana bo, ng’okoze ebituufu mu maaso ga Mukama.
26 (AT)Naye ebintu byo ebitukuvu ne byonna by’oneeyamanga okuwaayo, onoobiddiranga n’obitwalanga mu kifo Mukama ky’anaabanga akulondedde. 27 (AU)Onooleetanga ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama n’omusaayi, ku Kyoto kya Mukama Katonda wo. Omusaayi gw’ebiweebwayo byo ebirala gunaafukibwanga ku Kyoto kya Mukama Katonda wo, naye ennyama onooyinzanga okugirya. 28 (AV)Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Okulabula ku Kusinza bakatonda abalala
29 (AW)Amawanga ago g’ogenda okulumba ogatwaleko ensi yaabwe, Mukama agenda kugazikiriza nga naawe olaba. Naye bw’obanga omaze okubagoba mu nsi yaabwe, n’okugibeeramu n’ogibeeramu, 30 era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?” 31 (AX)Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
32 (AY)Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.
13 (AZ)Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, 2 (BA)era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako), 3 (BB)towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. 4 (BC)Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga. 5 (BD)Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.
6 (BE)Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, 7 bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma, 8 (BF)tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga. 9 (BG)Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo. 10 Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 11 (BH)Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.
12 Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa okubeerangamu, 13 (BI)nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu b’omu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako, 14 kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo, 15 kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga n’ekitala, awamu n’ebisolo byabwe bye balunda byonna. 16 (BJ)Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa. 17 (BK)Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, 18 (BL)kubanga onoogonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, n’okolanga ebisaanidde mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.