Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 9-11

(A)Nnabbi Erisa n’ayita omu ku bannabbi abato n’amugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno ey’amafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi. Bw’otuuka eyo, onoonye Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi, omuggye mu banne, omutwale mu kisenge eky’omunda. (B)Oddire eccupa ey’amafuta, ogafuke ku mutwe gwe, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ Oluvannyuma oggulewo oluggi odduke, so tolwawo n’akatono.”

Awo omuvubuka nnabbi n’agenda e Lamosugireyaadi. Bwe yatuuka, n’asanga ng’abaserikale abakulu ab’omu ggye bakuŋŋaanye n’ayogera nti, “Nnina obubaka bwo, ssebo omuduumizi.” Yeeku n’amubuuza nti, “Bw’ani ku ffe ffenna?” N’amuddamu nti, “Bubwo, ggwe omuduumizi.”

(C)Yeeku n’asituka n’ayingira mu nnyumba, nnabbi n’amufukako amafuta, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka w’abantu ba Mukama, Abayisirayiri. (D)Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa. (E)Ennyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri. (F)Ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng’ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, era n’okufaanana ng’ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya. 10 (G)N’embwa ziririira Yezeberi mu kibanja eky’e Yezuleeri era tewaliba muntu n’omu amuziika.’ ” Oluvannyuma olw’okwogera ebyo n’aggulawo oluggi n’adduka. 11 (H)Yeeku bwe yafuluma okugenda eri bakungu banne, omu ku bo n’amubuuza nti, “Kiri bulungi? Omulalu oyo abadde akunoonyeza ki?”

Yeeku n’addamu nti, “Omusajja mumumanyi n’enjogera ye mugimanyi.”

12 Ne bamugamba nti, “Ekyo si kituufu! Tutegeeze amazima.” Yeeku n’ayogera nti, “Bw’ati bw’aŋŋambye nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ ”

13 (I)Ne banguwa okuggyako eminagiro gyabwe, ne bagyaliira wansi ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere, nga bwe baleekaana nti, “Yeeku ye kabaka.”

Yeeku atta Yolaamu ne Akaziya

14 (J)Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi n’asalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka w’e Busuuli aleme okubalumba. 15 (K)Naye Yolaamu yali azeeyo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu Abasuuli bye baali bamutaddeko, mu kulwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Yeeku n’ayogera nti, “Bwe muba nga bwe mutyo bwe muwulira, kale waleme okubaawo omuntu yenna atoloka okuva mu kibuga anaabunyisa amawulire mu Yezuleeri.” 16 (L)N’alinnya mu ggaali lye, n’agenda e Yezuleeri, kubanga Yolaamu yali awummulidde eyo, nga ne Akaziya aserengese okugenda okumulabako.

17 (M)Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.”

Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’ ”

18 Awo eyeebagala embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku, n’amugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’ ”

Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” Omukuumi eyali mu kigo n’ayogera nti, “Atuuse gye bali, naye tadda.”

19 Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”

20 (N)Omukuumi n’addamu n’ayogera nti, “Oli naye atuuse, gye bali, naye tadda. N’enneebagala y’embalaasi efaanana ng’enneebala ya Yeeku muzzukulu wa Nimusi, kubanga enneebagala ye yakiralu.”

21 (O)Yolaamu n’ayogera nti, “Muteeketeeke eggaali lyange.” Bwe baamala okuliteekateeka, Yolaamu kabaka wa Isirayiri ne Akaziya kabaka wa Yuda, ne bafuluma ekibuga, buli omu ng’ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeeku, era baamusisinkanira mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. 22 (P)Awo Yolaamu bwe yalaba Yeeku, n’amubuuza nti, “Ojja mirembe Yeeku?” Yeeku n’amuddamu nti, “Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi n’obulogo bwa nnyoko Yezeberi?” 23 (Q)Amangwago Yolaamu n’akyusa n’adduka, ng’akoowoola Akaziya ng’agamba nti, “Akaziya waliwo olukwe!”

24 (R)Awo Yeeku n’aggyayo omutego gwe n’obusaale bwe, n’amaanyi ge gonna n’anaanuula omutego n’alasa Yolaamu mu kibegabega, akasaale ne kafumita omutima gwe, n’agwa mu ggaali lye. 25 (S)Yeeku n’agamba Bidukali, omugoba we ggaali lye nti, “Mumuggyeemu, mumusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. Ojjukira bwe twali tuvugira amagaali gaffe emabega wa Akabu kitaawe, Mukama n’ayogera nti ekintu kino kirimutuukako. 26 (T)‘Mazima ddala, nga jjo bwe nnalabye omusaayi gwa Nabosi n’omusaayi gw’abaana be, siireme kukusasulira mu kibanja kino kyennyini,’ bw’ayogera Mukama. Kaakano mumusitule mumusuule mu kibanja ekyo ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri.”

27 (U)Awo Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebyabaawo, n’addukira mu kkubo ery’omu nnyumba ey’ennimiro. Yeeku n’amugoba, nga bw’ayogerera waggulu nti, “Naye mumutte!” Ne bamulasa, ne bamuleetako ekiwundu ng’addukira e Guli ekiriraanye Ibuleamu, ng’ali mu ggaali lye, naye n’asobola okutuuka e Megiddo, era eyo gye yafiira. 28 (V)Abaddu be ne bateeka omulambo gwe mu ggaali ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. 29 (W)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Yolaamu mutabani wa Akabu, Akaziya n’atandika okufuga Yuda.

Okufa kwa Yezeberi

30 (X)Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa. 31 (Y)Awo Yeeku bwe yali ng’ayingirira mu wankaaki, Yezeberi n’amubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?”

32 Yeeku n’ayimusa amaaso ge waggulu, n’akoowoola ng’abuuza nti, “Ani ali ku ludda lwange? Ani?” Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza mu ddirisa. 33 (Z)N’ayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, n’omusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, n’okumulinyirira ne zimulinnyirira.

34 (AA)Awo Yeeku n’ayingira, n’alya era n’anywa. N’ayogera nti, “Mulabirire omulambo gw’omukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.” 35 Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, n’ebigere bye, n’ebibatu by’emikono gye. 36 (AB)Ne baddayo eri Yeeku ne bamutegeeza. N’abagamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama, kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng’agamba nti, ‘Mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, embwa mwe ziririira omulambo gwa Yezeberi. 37 (AC)Era omulambo gwa Yezeberi guliba ng’obusa ku ttale mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”

Ezadde lya Akabu Littibwa

10 (AD)Mu Samaliya waaliyo batabani ba Akabu nsanvu. Awo Yeeku n’awandiika amabaluwa n’agaweereza e Samaliya[a] eri abakungu b’e Yezuleeri, n’eri abakadde ab’ekibuga, n’eri abakuza b’abaana ba Akabu. N’awandiika nti, “Amangwago ng’ebbaluwa eno ebatuuseeko, ng’abaana ba mukama wammwe bwe bali nammwe, ate nga mulina amagaali n’embalaasi, era n’ekibuga kiriko enkomera n’ebyokulwanyisa, mulonde ku batabani ba mukama wammwe asinga obulungi, ng’asaanira, mumuteeke ku ntebe ey’obwakabaka eya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.” Naye ekyo ne bakitya nnyo, ne boogera nti, “Obanga bakabaka ababiri[b] tebaayinza kumwesimbamu, ffe tunaayinza tutya?”

(AE)Awo eyavunaanyizibwanga ebyolubiri, n’omukulembeze ow’ekibuga, n’abakuza ab’abaana ne baweereza obubaka eri Yeeku nti, “Ffe tuli baddu bo era tunaakola byonna by’onootulagira. Tetujja kufuula muntu n’omu kabaka; gw’oba okola ky’olowooza nga kye kisinga obulungi.”

Awo Yeeku n’abawandiikira ebbaluwa eyookubiri ng’agamba nti, “Obanga muli ku lwange era nga muŋŋondera, mutemeeko emitwe gy’abatabani ba mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri, mugintuseeko enkya mu kiseera nga kino.”

Abalangira ensanvu baabeeranga n’abakuza baabwe abaali abaami abakulu mu kibuga ekyo. (AF)Ebbaluwa bwe yabatuukako, ne bakwata abalangira ensanvu bonna ne babatta, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, mwe baagiweerereza eri Yeeku e Yezuleeri. Omubaka n’agenda n’agamba Yeeku nti, “Emitwe gy’abalangira bagireese.” Yeeku n’alagira nti, “Mugituume entuumo bbiri ku mulyango gwa wankaaki okutuusa enkya.” Yeeku n’afuluma, n’ayimirira mu maaso g’abantu bonna n’ayogera nti, “Mmwe temuliiko musango, era nze nasalira mukama wange olukwe ne mutta, naye ani asse bano bonna? 10 (AG)Kale mukitegeere nga tewali kigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Akabu ekitalituukirira, kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.” 11 (AH)Bw’atyo Yeeku n’atta ab’enju ya Akabu bonna abaali basigaddewo mu Yezuleeri; n’atta n’abakungu be, ne mikwano gye enfirabulago, ne bakabona be, obutalekaawo n’omu.

12 Awo Yeeku n’asitula n’ayolekera Samaliya. N’asisinkana baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda mu kkubo okumpi n’ennyumba eyasalirwangamu endiga ebyoya, 13 (AI)n’ababuuza nti, “Mmwe b’ani?” Ne bamuddamu nti, “Tuli baganda ba Akaziya, era tuzze okulamusa abaana ba kabaka n’abaana ba nnamasole.” 14 N’alagira nti, “Mubakwate.” Ne babakwata, abasajja amakumi ana mu babiri bonna ne babattira kumpi n’obunnya obw’ennyumba gye baasalirangamu endiga ebyoya. N’atalekaawo n’omu.

15 (AJ)Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu[c] ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?”

Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali. 16 (AK)Yeeku n’amugamba nti, “Jjangu tugende ffembi olabe obunyiikivu bwange eri Mukama.” Awo n’atambulira wamu naye mu ggaali lye.

17 (AL)Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya, n’atta bonna abaali basigaddewo ab’omu nnyumba ya Akabu, n’abazikiriza ng’ekigambo kya Mukama kye yayogera eri Eriya bwe kyali.

Okuttibwa kw’Abaweereza ba Baali

18 (AM)Awo Yeeku n’akuŋŋaanya abantu bonna, n’abagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo. 19 (AN)Kale nno muyite bannabbi bonna aba Baali, bakabona be bonna, n’abaweereza be bonna, waleme okubulawo n’omu kubanga ŋŋenda okuwaayo ssaddaaka enkulu ennyo eri Baali, ne buli ataabeerewo alittibwa.” Naye okukola ekyo, Yeeku yasala lukwe alyoke azikirize abaasinzanga Baali.

20 (AO)Yeeku n’alagira nti, “Mukole olukuŋŋaana olutukuvu eri Baali.” Ne balulangirira. 21 Awo n’aweereza obubaka okubuna Isirayiri yonna, abaweereza ba Baali bonna ne bajja, n’okusigala n’etasigala muntu n’omu. Ne bakuŋŋaanira mu ssabo lya Baali[d], ne lijjulira ddala okuva ku luuyi olumu okutuukira ddala ku luuyi olulala. 22 Yeeku n’agamba eyavunaanyizibwanga ebyambalo byabwe nti, “Leetera abaweereza ba Baali bonna ebyambalo.” Bonna n’abaleetera ebyambalo. 23 Awo Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bagenda mu ssabo lya Baali. Yeeku n’agamba abaweereza ba Baali nti, “Mwetegereze nnyo mulabe nga mu mmwe temuliimu muweereza wa Mukama, wabula abasinza Baali bokka.” 24 (AP)Ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa. Naye Yeeku yali atadde abasajja kinaana ebweru w’essabo, ng’abalabudde nti, “Omuntu yenna anaataako n’omu ku basajja abo be ntadde mu mikono gyammwe, anaaliwa n’obulamu bwe ye.”

25 (AQ)Amangwago bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, n’alagira abaserikale n’abaami nti, “Muyingire mubatte; waleme okuwonawo n’omu.” Bwe baamala okubatta n’ekitala, ne basuula emirambo gyabwe ebweru, ne bayingira munda mu ssabo ekkulu erya Baali. 26 (AR)Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya. 27 (AS)Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.

28 (AT)Awo Yeeku n’amalirawo ddala okusinza kwa Baali mu Isirayiri. 29 (AU)Naye teyaleka kukola ebibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, ng’okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri ne mu Ddaani.

30 (AV)Mukama n’agamba Yeeku nti, “Olw’okukola obulungi n’otuukiriza byonna mu maaso gange, n’okola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.” 31 (AW)Naye Yeeku n’atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isirayiri. Era teyakyuka okuva mu kkubo ery’ebibi erya Yerobowaamu, lye yayonoonyesa Isirayiri.

32 (AX)Mu biro ebyo Mukama n’atandika okukendeeza ensalo za Isirayiri. Kazayeeri n’abawangula ng’atandikira 33 (AY)ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi ey’e Gireyaadi mu bitundu eby’Abagaadi, n’Abalewubeeni, n’Abamanase okuva ku Aloweri okuliraana ekiwonvu kya Alunoni n’okuyita e Gireyaadi okutuuka e Basani.

34 (AZ)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yeeku, n’ebintu byonna ebikulu bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe egya bassekabaka ba Isirayiri?

35 Yeeku n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yekoyakaazi mutabani we n’amusikira. 36 Ebbanga Yeeku lye yafuga Isirayiri mu Samaliya lyali emyaka amakumi abiri mu munaana.

Asaliya ne Yekoyaasi

11 (BA)Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba mutabani we ng’afudde, n’atandika okusaanyaawo olulyo olulangira lwonna. (BB)Naye omumbejja Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n’abba Yekoyaasi[e] n’amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’abateeka ye n’omukuza we mu kisenge ekimu ng’abakweka Asaliya, era Yekoyaasi n’atattibwa. N’abeera mu yeekaalu ya Mukama n’omukuza we okumala emyaka mukaaga, Asaliya nga y’afuga ensi.

(BC)Mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’atumya abaduumizi ab’ebibinja by’ekikumi, ab’oku Bakali n’abakuumi, ne babaleeta gy’ali mu yeekaalu ya Mukama. N’alagaana nabo endagaano, n’abalayiriza mu yeekaalu ya Mukama, n’oluvannyuma n’abalaga mutabani wa kabaka. (BD)N’abawa ebiragiro bino nti, “Kino kye muteekwa okukola: kimu kya kusatu ku kibinja ekikuuma ku ssabbiiti, kye kinaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma Omulyango Suuli, n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma emanju w’omulyango ewabeera abakuumi abakuuma yeekaalu mu mpalo; n’ebibiina byammwe ebibiri ebitatera kukuuma ku ssabbiiti, mwenna mugenda kuvunaanyizibwa okukuuma yeekaalu ya Mukama ku lwa kabaka. Era muneetooloola kabaka enjuuyi zonna, buli muntu ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, ne buli anaŋŋaanga okubasemberera attibwe. Mukuumenga kabaka butiribiri, bw’anaafulumanga ne bw’anaayingiranga.”

Abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi ne bakola byonna nga Yekoyaada kabona bwe yalagira, buli omu n’afuna abasajja be, abaali ab’okukola ku ssabbiiti, n’abaali bamaze oluwalo lwabwe, ne bajja eri Yekoyaada kabona. 10 (BE)Kabona n’awa abaduumizi amafumu n’engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, 11 buli mukuumi n’ayimirira n’ebyokulwanyisa bye nga beetoolodde kabaka enjuuyi zonna, okuliraana ekyoto ne yeekaalu okuva ku luuyi olw’obukiikaddyo okutuuka ku luuyi olw’obukiikakkono.

12 (BF)Awo Yekoyaada n’afulumya mutabani wa kabaka, n’amutikkira engule, n’amuwa n’endagaano gye baali bakoze, ne bamufuula kabaka. N’afukibwako amafuta, abantu ne bakuba mu ngalo nga bwe bayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!” 13 Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abakuumi n’olw’abantu, n’alaga eri abantu ku yeekaalu ya Mukama. 14 (BG)Bwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ng’empisa bwe yabanga, n’abaami n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, n’abantu bonna ab’omu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”

15 (BH)Amangwago Yekoyaada kabona n’alagira abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, abaali bakulira eggye nti, “Mumufulumye wakati w’ennyiriri, na buli amugoberera mumutte n’ekitala.” Kabona yali agambye nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” 16 (BI)Ne bakwata Asaliya, ng’anaatera okuyita mu mulyango gw’embalaasi w’eziyingira mu luggya lw’olubiri, ne bamuttira awo.

17 (BJ)Awo Yekoyaada n’akola endagaano ne Mukama, ne kabaka n’abantu, nti banaabeera abantu ba Mukama, era n’akola n’endagaano ne kabaka n’abantu. 18 (BK)Abantu bonna ab’omu nsi ne bagenda ku ssabo lya Baali ne balimenyaamenya; ne bamenyaamenya ebyoto n’ebifaananyi, era ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto ebyo.

Yekoyaada kabona n’ateekawo abakuumi ku yeekaalu ya Mukama. 19 (BL)Awo n’alaga n’abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, n’Abakali, n’abakuumi, n’abantu bonna ab’omu nsi ku yeekaalu, n’aggyayo kabaka mu yeekaalu ya Mukama n’amutwala mu lubiri ng’ayita mu mulyango ogw’abakuumi. Kabaka n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka, 20 (BM)abantu bonna ab’omu nsi ne bajaguza, n’ekibuga n’ekitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala okumpi n’olubiri.

21 Yekoyaasi yali aweza emyaka musanvu bwe yatandika okufuga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.