Chronological
Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo
28 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti,
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,
‘Ndi katonda,
era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’
songa oli muntu buntu, so si katonda,
newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
3 (B)Oli mugezi okusinga Danyeri?
Tewali kyama kikukwekeddwa?
4 (C)Mu magezi go ne mu kutegeera kwo
weefunidde eby’obugagga,
n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza
n’obitereka mu mawanika go.
5 (D)Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi
oyongedde okugaggawala,
era n’omutima gwo
gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”
6 Mukama Katonda kyava ayogera nti,
“Kubanga olowooza ng’oli mugezi,
ng’oli mugezi nga katonda,
7 (E)kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba,
ab’omu mawanga agasinga obukambwe,
ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go,
ne boonoona okumasamasa kwo.
8 (F)Balikusuula mu bunnya
n’ofiira eyo okufa okubi
wakati mu gayanja.
9 Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’
mu maaso gaabo abakutta?
Oliba muntu buntu so si katonda
mu mikono gy’abo abakutta.
10 (G)Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga,
nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”
11 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 12 (H)“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi
era nga watuukirira mu bulungi.
13 (I)Wali mu Adeni,
ennimiro ya Katonda;
buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,
sadio, topazi, alimasi, berulo,
onuku, yasipero, safiro,
ejjinja erya nnawandagala.
Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.
Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14 (J)Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,
nakwawula lwa nsonga eyo.
Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,
n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
15 Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna
okuva ku lunaku lwe watondebwa,
okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16 (K)Mu bikolwa byo ebingi,
wajjula empisa embi,
era n’okola ebibi.
Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,
mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga
okuva mu mayinja ag’omuliro.
17 (L)Omutima gwo gwalina amalala
olw’obulungi bwo,
ne weelimbalimba
olw’ekitiibwa kyo.
Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula
eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18 (M)Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo
oyonoonye ebifo byo ebitukuvu.
Kyenava nziggya omuliro mu ggwe
ne gukusaanyaawo,
ne nkufuula evvu ku nsi
wakati mu abo bonna abaakulabanga.
19 (N)Amawanga gonna agaakumanya
gaatya nnyo;
otuuse ku nkomerero embi,
so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
Obunnabbi eri Sidoni
20 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 21 (O)“Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi, 22 (P)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni,
era ndyegulumiza mu ggwe.
Balimanya nga nze Mukama
bwe ndimubonereza,
ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
23 (Q)Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa
omusaayi mu nguudo ze.
Abafu baligwa wakati mu ye,
ekitala kimulumbe enjuuyi zonna.
Olwo balimanya nga nze Mukama.
24 (R)“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.
25 (S)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo. 26 (T)Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”
Obunnabbi eri Misiri
29 (U)Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (V)“Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna. 3 (W)Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri,
ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo,
ogwogera nti, “Kiyira wange,
era nze nnamwekolera.”
4 (X)Nditeeka amalobo mu mba zo,
era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go.
Ndikusikayo mu migga gyo
ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.
5 (Y)Ndikutwala mu ddungu,
ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo.
Oligwa ku ttale,
so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa.
Ndikuwaayo okuba emmere
eri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga.
6 (Z)Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda.
“ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri. 7 (AA)Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe.
8 (AB)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe. 9 (AC)Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.
“ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,” 10 (AD)kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya. 11 (AE)Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. 12 (AF)Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.
13 “ ‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, 14 (AG)era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. 15 (AH)Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. 16 (AI)Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”
17 (AJ)Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (AK)“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. 19 (AL)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 20 (AM)Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.
21 (AN)“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe[a] ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”
Okukungubagira Misiri
30 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (AO)“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Mwekaabireko mwogere nti,
“Zibasanze ku lunaku olwo”
3 (AP)kubanga olunaku luli kumpi,
olunaku lwa Mukama luli kumpi,
olunaku olw’ebire
eri bannaggwanga.
4 (AQ)Ekitala kirirumba Misiri,
n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.
Bwe balifiira mu Misiri,
obugagga bwe bulitwalibwa
n’emisingi gyayo girimenyebwa.’
5 (AR)Obuwesiyopya, ne Puuti[b], ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
6 (AS)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Abawagira Misiri baligwa,
n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa.
Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene
baligwa n’ekitala,
bw’ayogera Mukama Katonda.
7 (AT)Balirekebwawo
wakati mu nsi endala ezalekebwawo,
n’ebibuga byabwe
biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
8 Olwo balimanya nga nze Mukama
bwe ndikuma ku Misiri omuliro,
n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.
9 (AU)“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.
10 (AV)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri
nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
11 (AW)Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,
balireetebwa okuzikiriza ensi.
Baligyayo ebitala byabwe
ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
12 (AX)Ndikaza emigga gya Kiyira,
ne ntunda ensi eri abantu ababi;
nga nkozesa bannaggwanga,
ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.
Nze Mukama nkyogedde.
13 (AY)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe
ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.
Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,
era ensi yonna ndigireetako entiisa.
14 (AZ)Ndifuula Pasulo okuba amatongo,
ne Zowani ndikikumako omuliro
ne mbonereza n’ab’omu No.
15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,
ekigo kya Misiri eky’amaanyi,
era ndimalawo n’ebibinja bya No.
16 Ndikuma omuliro ku Misiri,
ne Sini baliba mu bubalagaze bungi,
ne No balitwalibwa omuyaga,
ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.
17 (BA)Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi
baligwa n’ekitala,
n’ebibuga biriwambibwa.
18 (BB)Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,
bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri,
era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu.
Alibikkibwa n’ebire
era n’ebyalo bye biriwambibwa.
19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,
bategeere nga nze Mukama.’ ”
20 (BC)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 21 (BD)“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. 22 (BE)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. 23 (BF)Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. 24 (BG)Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. 25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. 26 (BH)Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”
Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni
31 (BI)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti,
“ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
3 (BJ)Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,
nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;
ogwali omuwanvu ennyo,
nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
4 Amazzi gaaguliisanga,
n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,
n’emigga gyagyo
ne gigwetooloola wonna,
ne giweerezanga n’amatabi gaagyo
eri emiti gyonna egy’omu ttale.
5 (BK)Kyegwava gukula ne guwanvuwa
okusinga emiti gyonna egy’omu kibira,
n’amatabi gaagwo amanene
ne geeyongera obunene,
n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa
ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
6 (BL)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga
ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,
n’ensolo enkambwe ez’oku ttale
ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,
n’amawanga gonna amakulu
ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
7 Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo,
n’amatabi gaagwo amanene,
kubanga emirandira gyagwo
gyasima awali amazzi amangi.
8 (BM)Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda
tegyayinza kuguvuganya,
newaakubadde emiberoosi okwenkana
n’amatabi gaagwo amanene;
n’emyalamooni nga tegifaanana
matabi gaagwo amatono,
so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda
ogugwenkana mu bulungi.
9 (BN)Nagulungiya n’amatabi amangi,
emiti gyonna egy’omu Adeni
egyali mu nnimiro ya Katonda
ne gigukwatirwa obuggya.
10 (BO)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 (BP)kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. 12 (BQ)Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. 13 (BR)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. 14 (BS)Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.
15 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. 16 (BT)Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. 17 (BU)Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.
18 (BV)“ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.
“ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.