Bible in 90 Days
Ebyafaayo by’Okuzaalibwa kwa Adamu Okutuuka ku Ibulayimu
1 (A)Adamu yazaala Seezi, Seezi n’azaala Enosi;
2 (B)Enosi n’azaala Kenani, Kenani n’azaala Makalaleri, Makalaleri n’azaala Yaledi;
3 (C)Yaledi n’azaala Enoka, Enoka n’azaala Mesuseera, Mesuseera n’azaala Lameka,
Lameka n’azaala Nuuwa.
4 (D)Nuuwa n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
5 Batabani ba Yafeesi baali:
Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
6 Batabani ba Gomeri baali:
Asukenaazi, ne Difasi[a] ne Togaluma.
7 Batabani ba Yavani baali:
Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu, ne Lodanimu.
8 Batabani ba Kaamu baali:
Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti[b], ne Kanani.
9 Batabani ba Kuusi baali:
Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka.
Ne batabani ba Laama baali:
Seeba ne Dedani.
10 Kuusi n’azaala
Nimuloodi, Nimuloodi n’akula n’afuuka omusajja omuzira ow’amaanyi mu nsi.
11 Mizulayimu n’azaala
Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu; 12 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (Abafirisuuti mwe basibuka), ne Kafutolimu.
13 Kanani n’azaala
Sidoni, ye mutabani we omukulu, ne Keesi; 14 n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi; 15 n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini; 16 n’Aballuvadi, n’Abazemali n’Abakamasi.
17 Batabani ba Seemu baali:
Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
Ate batabani ba Alamu baali:
Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.[c]
18 Alupakusaadi n’azaala Seera,
Seera n’azaala Eberi.
19 Eberi yazaala abaana babiri aboobulenzi,
erinnya ly’omu nga ye Peregi, amakulu nti ensi yali egabiddwamu, n’erinnya ly’omulala nga ye Yokutaani.
20 Yokutaani n’azaala
Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera; 21 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; 22 ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba; 23 ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu. Era abo bonna be baali batabani ba Yokutaani.
24 (E)Enda ya Seemu okutuuka ku Ibulaamu ye yali eno; Seemu n’azaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n’azaala Seera,
25 Seera n’azaala Eberi, Eberi n’azaala Peregi, ne Peregi n’azaala Lewu.
26 Lewu n’azaala Serugi, Serugi n’azaala Nakoli, ne Nakoli n’azaala Teera,
27 Teera n’azaala wa Ibulaamu, oyo ye Ibulayimu.
28 Batabani ba Ibulayimu baali
Isaaka ne Isimayiri.
29 Luno lwe lulyo lwabwe:
Nebayoosi ye yali mutabani wa Isimayiri omukulu, ne kulyoka kuddako Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 30 ne Misuma, ne Duma, ne Massa, ne Kadadi, ne Teema, 31 ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. Eyo y’enda ya Isimayiri.
Ezadde lya Ketula
32 (F)Batabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali
Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa.
Ate batabani ba Yokusaani baali
Seeba ne Dedani.
33 Batabani ba Midiyaani baali
Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda.
Abo bonna be baali bazzukulu ba Ketula.
Ezadde lya Sala
34 (G)Ibulayimu n’azaala Isaaka;
batabani ba Isaaka baali
Esawu ne Isirayiri.
35 (H)Batabani ba Esawu baali
Erifaazi, ne Leweri, ne Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
36 (I)Batabani ba Erifaazi baali
Temani, ne Omali, ne Zeefi, ne Gatamu, ne Kenozi,
ne Timuna ne Amaleki.
37 (J)Batabani ba Leweri baali
Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza.
38 Batabani ba Seyiri baali
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
39 Batabani ba Lotani baali
Kooli, ne Komamu; Timuna yali mwannyina Lotani.
40 (K)Batabani ba Sobali baali
Aliyani, ne Manakasi, ne Ebali, ne Seefi ne Onamu.
Ne batabani ba Zibyoni baali
Aya ne Ana.
41 Mutabani wa Ana yali
Disoni,
batabani ba Disoni nga be ba
Kamulani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
42 Batabani ba Ezeri baali
Birukani, ne Zaavani ne Yaakani;
batabani ba Disani baali
Uzi ne Alani.
Bakabaka ba Edomu
43 Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu nga tewannabaawo kabaka mu Isirayiri abafuga:
Bera mutabani wa Byoli n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Dinukaba.
44 Bera bwe yafa, Yokabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira okuba kabaka.
45 (L)Yokabu bwe yafa, Kusamu eyava mu nsi y’Abatemani, n’amusikira okuba kabaka.
46 Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi.
47 Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
48 Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’omugga Fulaati, n’afuga mu kifo kye.
49 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
50 Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu. 51 Kadadi naye n’afa.
Abakungu ba Edomu baali
Timuna, ne Aliya, Yesesi, 52 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni, 53 ne Kenozi, ne Temani, ne Mibuzali, 54 ne Magudyeri, ne Iramu.
Abo be baali abakungu ba Edomu.
Abaana ba Isirayiri
2 Bano be baali batabani ba Isirayiri:
Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni, 2 ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.
3 (M)Batabani ba Yuda baali
Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani.
Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta.
4 (N)Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera.
Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.
5 (O)Batabani ba Perezi baali
Kezulooni ne Kamuli.
6 Batabani ba Zeera baali
Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano.
7 (P)Mutabani wa Kalumi ye yali
Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.
8 Mutabani wa Esani ye yali
Azaliya.
9 (Q)Batabani ba Kezulooni baali
Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi.
10 (R)Laamu n’azaala Amminadaabu,
Amminadaabu n’aba kitaawe n’azaala Nakusoni, eyali omukulu w’ekika kya Yuda.
11 Nakusoni n’azaala Saluma,
ne Saluma n’azaala Bowaazi,
12 (S)Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.
13 (T)Yese n’azaala
Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri,
Simeeyi nga ye wookusatu, 14 Nesaneeri nga ye wookuna,
Laddayi nga ye wookutaano, 15 Ozemu n’aba ow’omukaaga,
Dawudi nga ye wa musanvu.
16 (U)Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri.
Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.
17 (V)Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.
18 Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi.
Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.
19 (W)Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 (X)Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.
21 (Y)Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.
22 Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
23 (Z)Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga.
Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.
24 (AA)Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.
25 Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba
Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya. 26 Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.
27 Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali
Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.
28 Batabani ba Onamu be baali
Sammayi ne Yada,
ate batabani ba Sammayi nga be ba
Nadabu ne Abisuli.
29 Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.
30 Batabani ba Nadabu be baali
Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana.
31 Mutabani wa Appayimu yali
Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi.
32 Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali
Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana.
33 Batabani ba Yonasaani be baali
Peresi ne Zaza.
Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.
34 Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,
ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala. 35 Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.
36 (AB)Attayi n’azaala Nasani,
ne Nasani n’azaala Zabadi.
37 Zabadi n’azaala Efulali,
ne Efulali n’azaala Obedi.
38 Obedi n’azaala Yeeku,
ne Yeeku n’azaala Azaliya.
39 Azaliya n’azaala Kerezi,
ne Kerezi n’azaala Ereyaasa.
40 Ereyaasa n’azaala Sisumaayi,
ne Sisumaayi n’azaala Sallumu.
41 Sallumu n’azaala Yekamiya,
ne Yekamiya n’azaala Erisaama.
42 (AC)Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,
ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu.
Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.
43 Batabani ba Kebbulooni baali
Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.
44 Sema n’azaala Lakamu,
ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu.
Lekemu n’azaala Sammayi.
45 (AD)Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni,
ne Mawoni n’azaala Besuzuli.
46 Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira
Kalani, ne Moza ne Gazezi.
Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.
47 Batabani ba Yadayi baali
Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.
48 Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira
Seberi ne Tirukaana.
49 (AE)Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna.
Seva n’azaala Makubena ne Gibea.
Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.
50 (AF)Abo be baali bazzukulu ba Kalebu.
Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda,
Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu, 51 Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.
52 Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba
Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi, 53 (AG)n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.
54 (AH)Batabani ba Saluma baali
Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli, 55 (AI)n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.
Ennyumba ya Dawudi
3 (AJ)Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni:
Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri;
owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;
2 (AK)owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli;
n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.
3 Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali
n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.
4 (AL)Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu, 5 (AM)era bano be baana be yazaalira eyo:
Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.
6 N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti, 7 ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, 8 ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.
9 (AN)Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.
Olulyo lwa Sulemaani
10 (AO)Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu,
ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu,
ne Asa nga ye mutabani wa Abiya,
ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa,
11 (AP)ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati,
ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu,
ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya,
12 (AQ)Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi,
ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya,
ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.
13 (AR)Akazi yali mutabani wa Yosamu,
ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi,
ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.
14 (AS)Amoni yali mutabani wa Manase,
ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni.
15 (AT)Batabani ba Yosiya baali
Yokanaani omuggulanda,
ne Yekoyakimu ye yali owookubiri,
ne Zeddekiya nga wa wakusatu,
ne Sallumu nga wakuna.
16 (AU)Batabani ba Yekoyakimu baali
Yekoniya
ne Zeddekiya.
Olulyo Olulangira Oluvannyuma lw’Okuva mu Buwaŋŋanguse
17 (AV)Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba:
Seyalutyeri mutabani we, 18 (AW)ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya.
19 (AX)Batabani ba Pedaya baali
Zerubbaberi ne Simeeyi.
Batabani ba Zerubbaberi baali
Mesullamu ne Kananiya,
ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe. 20 N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi.
21 Batabani ba Kananiya baali
Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya.
22 (AY)Ab’olulyo lwa Sekaniya baali
Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga.
23 Batabani ba Neyaliya baali
Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.
24 Batabani ba Eriwenayi baali
Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu.
Ebika Ebirala ebya Yuda
4 (AZ)Bazzukulu ba Yuda abalala baali
Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.
2 Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.
3 Ne bano, be baali baganda ba Etamu,
ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi. 4 (BA)Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.
Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.
5 (BB)Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.
6 Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.
7 Keera n’amuzaalira
Zeresi, ne Izukali, ne Esumani 8 ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9 Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.” 10 Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.
11 Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni. 12 Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.
13 (BC)Batabani ba Kenazi baali
Osuniyeri ne Seraya.
Batabani ba Osuniyeri baali
Kasasi ne Myonosaayi. 14 Myonosaayi n’azaala Ofula.
Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.
15 Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali
Iru, ne Era ne Naamu.
Ne Era n’azaala
Kenazi.
16 Batabani ba Yekalereri baali
Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.
17 (BD)Batabani ba Ezula baali
Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni.
Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa. 18 (BE)Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.
Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.
19 (BF)Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu
era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.
20 Batabani ba Simoni baali
Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi.
N’ab’ennyumba ya Isi baali
Zokesi ne Benizokesi.
21 (BG)Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali
Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,
22 Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). 23 Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.
Ekika kya Simyoni
24 (BH)Batabani ba Simyoni baali
Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.
25 Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.
26 Mutabani wa Misuma yali
Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.
27 Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda. 28 (BI)Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali, 29 (BJ)ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi, 30 (BK)ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi, 31 (BL)ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. 32 (BM)Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano, 33 n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.
Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.
34 Mesobabu, ne Yamulaki,
ne Yosa mutabani wa Amonya; 35 ne Yoweeri,
ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.
36 Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,
ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,
37 ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.
38 Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.
Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo. 39 (BN)Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe. 40 (BO)Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.
41 (BP)Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe. 42 (BQ)Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi. 43 (BR)Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.
Ekika kya Lewubeeni
5 (BS)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye. 2 (BT)Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu. 3 (BU)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali:
Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
4 Ab’enda ya Yoweeri baali
Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we,
ne Simeeyi muzzukulu we. 5 Mikka yali mutabani wa Simeeyi,
ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we.
6 (BV)Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.
7 (BW)Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano:
Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya, 8 (BX)Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri.
Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni. 9 (BY)Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.
10 (BZ)Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.
Ekika kya Gaadi
11 (CA)Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.
12 Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani.
13 Baganda baabwe mu nda z’abajjajjaabwe bwe baali
Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu.
14 Bano be baali ab’omu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi.
15 Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu w’ennyumba yaabwe.
16 Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.
17 (CB)Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri.
18 (CC)Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana. 19 (CD)Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu. 20 (CE)Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo. 21 Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi. 22 (CF)Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.
Ekitundu ky’Ekika kya Manase
23 (CG)Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.
24 Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe. 25 (CH)Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. 26 (CI)Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.
Ekika kya Leevi
6 (CJ)Batabani ba Leevi baali
Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
2 Batabani ba Kokasi ne baba
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
3 (CK)Ate abaana ba Amulaamu baali
Alooni, ne Musa ne Miryamu.
Batabani ba Alooni baali
Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
4 Eriyazaali n’azaala Finekaasi,
ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;
5 Abisuwa n’azaala Bukki,
ate Bukki n’azaala Uzzi;
6 Uzzi n’azaala Zerakiya,
ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;
7 Merayoosi n’azaala Amaliya,
ne Amaliya n’azaala Akitubu;
8 (CL)Akitubu n’azaala Zadooki,
ate Zadooki n’azaala Akimaazi;
9 Akimaazi n’azaala Azaliya,
ne Azaliya n’azaala Yokanaani;
10 (CM)Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);
11 Azaliya n’azaala Amaliya,
ne Amaliya n’azaala Akitubu;
12 Akitubu n’azaala Zadooki,
ne Zadooki n’azaala Sallumu;
13 (CN)Sallumu n’azaala Kirukiya,
ne Kirukiya n’azaala Azaliya;
14 (CO)Azaliya n’azaala Seraya,
ne Seraya n’azaala Yekozadaki;
15 (CP)Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.
16 (CQ)Batabani ba Leevi baali
Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.
17 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,
ne Libuni ne Simeeyi.
18 Batabani ba Kokasi baali
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
19 (CR)Batabani ba Merali baali
Makuli ne Musi.
Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:
20 Abaava mu Gerusomu baali
Libuni mutabani we, ne Yakasi,
ne Zimura, 21 ne Yowa,
ne Iddo, ne Zeera,
ne Yeyaserayi.
22 (CS)Bazzukulu ba Kokasi baali
Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we,
Assiri muzzukulu we; 23 Erukaana muzzukulu we,
Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;
24 (CT)Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.
25 Batabani ba Erukaana baali
Amasayi ne Akimosi,
26 ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,
ne Nakasi, 27 (CU)ne Eriyaabu,
ne Yerokamu, ne Erukaana
ne Samwiri.
28 (CV)Batabani ba Samwiri baali
Yoweeri omuggulanda we,
n’owokubiri nga ye Abiya.
29 Bazzukulu ba Merali baali
Makuli, ne Libuni,
ne Simeeyi, ne Uzza,
30 ne Simeeyi, ne Kaggiya
ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.
31 (CW)Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. 32 Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
33 (CX)Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:
Okuva mu Abakokasi;
Kemani, omuyimbi,
mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,
34 (CY)muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,
muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,
35 muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,
muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;
36 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,
muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,
37 (CZ)muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,
muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,
38 (DA)muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,
muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.
39 (DB)Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:
Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,
40 muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,
muzzukulu wa Malukiya, 41 muzzukulu wa Esuni,
muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,
42 muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,
muzzukulu wa Simeeyi, 43 muzzukulu wa Yakasi,
muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.
44 Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,
Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,
muzzukulu wa Malluki, 45 muzzukulu wa Kasukabiya,
muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,
46 muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,
muzzukulu wa Semeri, 47 muzzukulu wa Makuli,
muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,
mutabani wa Leevi.
48 (DC)Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.
Ennyumba ya Alooni
49 (DD)Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
50 Bano be baava mu nda ya Alooni:
mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi,
muzzukulu we Abisuwa, 51 muzzukulu we Bukki,
muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,
52 muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,
muzzukulu we Akitubu, 53 (DE)muzzukulu we Zadooki,
ne muzzukulu we Akimaazi.
54 (DF)Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
55 Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, 56 (DG)naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. 57 (DH)Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, 58 (DI)Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, 59 (DJ)Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.
60 (DK)Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni[d] ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.
61 Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
62 Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
63 Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
64 (DL)Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.
65 N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
66 Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.
67 (DM)Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, 68 (DN)ne Yokumyamu, ne Besukolooni, 69 (DO)ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.
70 N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
71 (DP)Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:
okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.
72 (DQ)Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi 73 Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);
74 (DR)okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, 75 (DS)Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;
76 (DT)n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.
77 Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:
okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;
78 (DU)okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, 79 (DV)Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;
80 (DW)n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, 81 (DX)Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.
Ekika kya Isakaali
7 (DY)Abaana ba Isakaali baali bana:
Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni.
2 Batabani ba Tola baali
Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.
3 Uzzi n’azaala
Izulakiya.
Izulakiya n’azaala
Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu. 4 Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga.
5 Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu.
Ekika kya Benyamini
6 (DZ)Benyamini yalina abatabani basatu,
Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri.
7 Batabani ba Bera baali
Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.
8 Batabani ba Bekeri baali
Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. 9 Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri.
10 Mutabani wa Yediyayeri,
yali Birukani,
ate batabani ba Birukani nga be ba
Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali. 11 Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu b’enda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri.
12 Abasuppimu n’Abakupimu baali bazzukulu ba Iri, ate ng’Abakusimu bazzukulu ba Akeri.
Ekika kya Nafutaali
13 (EA)Batabani ba Nafutaali baali
Yaziyeri, ne Guni, ne Yezeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka.
Ekika kya Manase
14 (EB)Bano be baali bazzukulu ba Manase:
Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri n’azaala Gireyaadi. 15 (EC)Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka.
Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka.
16 Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu.
17 (ED)Mutabani wa Ulamu yali
Bedani,
era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase. 18 (EE)Mwannyina Kammolekisi n’azaala Isukondi, ne Abiyezeeri ne Makula.
19 Batabani ba Semida baali
Akyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu.
Ekika kya Efulayimu
20 (EF)Mutabani wa Efulayimu yali
Susera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi,
mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda,
mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi, 21 mutabani wa Takasi nga ye Zabadi,
ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera.
Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente. 22 Efulayimu n’abakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako. 23 Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana. 24 (EG)Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera.
25 Efulayimu yalinayo n’omutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu,
Lesefu n’azaala Teera, Teera n’azaala Takani,
26 Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi,
Ladani n’azaala Erisaama, 27 Erisaama n’azaala Nuuni,
Nuuni n’azaala Yoswa.
28 (EH)Ettaka lyabwe n’ebifo we baasenga byali Beseri n’obubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba w’e Naalani, ebugwanjuba w’e Gezeri, n’obubuga bwakyo, n’e Sekemu n’obubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza n’obubuga obukyetoolodde. 29 (EI)Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye.
Ekika kya Aseri
30 (EJ)Abaana ba Aseri baali
Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe.
31 Batabani ba Beriya baali
Keberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi.
32 Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa.
33 Batabani ba Yafuleti baali
Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi.
34 Batabani ba Semeri baali
Aki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu.
35 Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali.
36 Batabani ba Zofa baali
Suwa, ne Kaluneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Imula, 37 ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera.
38 Batabani ba Yeseri baali
Yefune, ne Pisupa ne Ala.
39 Batabani ba Ulla baali
Ala, ne Kanieri ne Liziya.
40 Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.
Ekika kya Benyamini
8 (EK)Benyamini n’azaala Bera, era oyo ye yali omubereberye,
Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu;
2 Noka nga wakuna, ne Lafa nga ye wookutaano.
3 (EL)Batabani ba Bera baali
Addali, ne Gera, ne Abikudi, 4 (EM)ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa 5 ne Gera, ne Sefufani ne Kulamu.
6 (EN)Bazzukulu ba Ekudi mutabani wa Gera baali bakulu b’enda z’abo abaabeeranga mu Geba nga baabatwala e Manakasi nga basibe era be bano:
7 Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi.
8 Sakalayimu n’azaala abaana abalala mu nsi y’e Mowaabu, ng’amaze okugoba abakyala be ababiri, Kusimu ne Baala. 9 Kodesi yamuzaalira Yokabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu, 10 ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma, era bano be baali abakulu b’enda za bajjajjaabwe. 11 Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali.
12 (EO)Batabani ba Erupaali baali
Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi n’ebibuga ebibyetoolodde, 13 (EP)Beriya, ne Sema abakulu b’enda z’abo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi.
14 Abaana abalala baali Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi, 15 ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi 16 ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka,
17 ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi, 18 ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu.
19 Batabani ba Simeeyi baali Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi, 20 ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri, 21 ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi.
22 Batabani ba Sasaki baali Isupani, ne Eberi, ne Eryeri, 23 ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani, 24 ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya, 25 Sasaki ne Ifudeya ne Penueri.
26 Batabani ba Yerokamu baali Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya, 27 ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli.
28 Bano wammanga be baali abakulu b’enda, abaami, nga bwe bayogerwako mu nnyiriri zaabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
29 (EQ)Yeyeri omukulembeze we Gibyoni yabeeranga Gibyoni,
ne mukyala we ye yali Maaka. 30 Mutabani we omuggulanda yali Abudoni, ne Zuuli n’amuddirira, ne Kiisi n’amuddako, ne Baali, ne Nadabu, 31 ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri 32 ne Mikuloosi n’azaala Simeeyi. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
33 (ER)Neeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
34 (ES)Mutabani wa Yonasaani yali
Meribubaali, ye Mefibosesi, eyazaala Mikka.
35 Batabani ba Mikka baali
Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
36 Akazi n’azaala Yekoyaada, Yekoyaada n’azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli, ne Zimuli n’azaala Moza. 37 Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lafa, ne Ereyaasa ne Azeri.
38 Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba
Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani.
39 Batabani ba muganda we Eseki baali
Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu. 40 (ET)Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala.
Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini.
Ebika Ebyava mu buwaŋŋanguse mu Babulooni
9 (EU)Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. 2 (EV)Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu.
3 Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali:
4 (EW)Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda.
5 Ku Basiiro,
Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be.
6 Ku bazzukulu ba Zeera,
Yeweri n’ab’omu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda.
7 Ku bazzukulu ba Benyamini,
Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa,
8 ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu,
ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli,
ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya.
9 Abantu b’omu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe.
10 Ku bakabona abaakomawo kwaliko
Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,
11 ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;
12 (EX)ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.
13 Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.
14 Ku baleevi kwaliko:
Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali,
15 (EY)ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu,
16 (EZ)ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni;
ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby’Abanetofa.
17 (FA)Abaggazi ba wankaaki baali,
Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimaani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu; 18 (FB)be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi.
19 (FC)Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera.
20 (FD)Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye.
21 (FE)Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
22 (FF)Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali.
Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali. 23 Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema. 24 Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olw’ebuvanjuba, olw’ebugwanjuba, olw’obukiikakkono, n’olwobukiikaddyo, 25 (FG)era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu. 26 (FH)Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda. 27 (FI)Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.
28 Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo. 29 (FJ)Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu n’ebintu byonna eby’omu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, n’omwenge, n’amafuta, n’omugavu, n’ebyakaloosa. 30 (FK)Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa. 31 Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga y’omu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gy’ebiweebwayo, 32 (FL)era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.
33 (FM)Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.
34 Abo bonna baali bakulu b’enda ez’Abaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
Enda ya Sawulo
35 (FN)Yeyeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni,
n’erinnya lya mukyala we nga ye Maaka, 36 ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli n’amuddirira, Kiisi n’addako, Baali n’addako, Neeri n’addako, Nadabu n’addako, 37 ne Gedoli n’addako, Akiyo n’addako, Zekkaliya n’addako, Mikuloosi n’asembayo. 38 Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
39 (FO)Neeri n’azaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo. Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
40 (FP)Mutabani wa Yonasaani ye yali
Meribubaali, ne Meribubaali n’azaala Mikka.
41 Batabani ba Mikka baali
Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
42 Akazi n’azaala Yala, Yala n’azaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli n’azaala Moza. 43 Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lefaya, Lefaya n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri.
44 Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe:
Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.