Add parallel Print Page Options

Amoni Kabaka wa Yuda

19 Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20 (A)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola. 21 N’atambulira mu ngeri za kitaawe, n’asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga. 22 (B)Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n’atatambulira mu kkubo lya Mukama.

23 (C)Awo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. 24 (D)Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.

25 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 26 (E)Kabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka.

Read full chapter

Amoni kabaka wa Yuda

21 (A)Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka.

Read full chapter

(A)Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.

Read full chapter

Enkyukakyuka Yosiya ze yaleeta

34 (A)Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi.

Read full chapter

Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu,

Read full chapter

Isirayiri, Atali Mwesigwa

(A)Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi.

Read full chapter

(A)Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.

Read full chapter