Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 21:8-32:19

(A)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” (B)Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.

Olugendo Olwabatuusa mu Mowaabu

10 (C)Awo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Yebosi, ne basiisira omwo. 11 (D)Ne basitula okuva mu Yebosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 12 (E)Bwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo. 13 (F)Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli. 14 Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za Mukama Katonda, nti,

“Vakebu ne Sufa,
n’ebiwonvu bya Alunoni, 15     (G)n’obuserengeto bw’ebiwonvu
ebituuka ku kibuga kya Ali,
    ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.”

16 (H)Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.”

17 (I)Isirayiri n’alyoka ayimba oluyimba luno, nti,

“Weetale, ggwe Oluzzi!
    Muluyimbirire!
18 Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima,
    abakungu n’abantu lwe baayiikuula,
    abakungu, emiggo gyabwe.”

19 Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi. 20 Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu.

Sikoni Awangulwa

21 (J)Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

22 (K)“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

23 (L)Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 24 (M)Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. 25 (N)Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde. 26 (O)Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

27 Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti,

“Mujje e Kesuboni kizimbibwe;
    ekibuga kya Sikoni kizzibwewo.

28 (P)“Omuliro gwafuluma mu Kesuboni,
    ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni.
Gwayokya Ali ekya Mowaabu,
    n’abatuula mu nsozi za Alunoni.
29 (Q)Zikusanze, gwe Mowaabu!
    Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi!
Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni ow’Abamoli
    ne bafuuka ng’abanoonyi b’obubudamu
    ne bawala be, ng’abawambe.

30 (R)“Naye tubawangudde
    Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni.
Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa,
    kwe kutuukira ddala ku Medeba.”

Ogi Awangulwa

31 Bw’atyo Isirayiri n’atuula mu nsi y’Abamoli.

32 (S)Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu. 33 (T)Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei.

34 (U)Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”

35 Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu[a]. Ensi ye ne bagirya.

Katonda Agaana Balamu Okugenda eri Balaki

22 (V)Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

(W)Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli. (X)Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.

Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo, (Y)n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,

“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. (Z)Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”

(AA)Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.

(AB)Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.

(AC)Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10 Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11 ‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”

12 (AD)Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”

13 Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”

14 Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”

Katonda Akkiriza Balamu Okugenda

15 Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. 16 Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; 17 (AE)kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”

18 (AF)Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange. 19 (AG)Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.”

20 (AH)Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”

Endogoyi ya Balamu Eyogera

21 Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu. 22 (AI)Naye Katonda n’asunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye. 23 (AJ)Endogoyi n’eraba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo.

24 Malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi. 25 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba.

26 Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. 27 (AK)Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe. 28 (AL)Awo Mukama Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?”

29 (AM)Balamu n’agamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde n’ekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.”

30 Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.”

Malayika Alabula Balamu

31 (AN)Awo Mukama Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama.

32 Malayika wa Mukama Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa. 33 (AO)Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.”

34 (AP)Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”

35 Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki.

Balamu Akyalira Balaki

36 (AQ)Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge. 37 Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”

38 (AR)Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.” 39 Bw’atyo Balamu n’agenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi. 40 (AS)Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye. 41 (AT)Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali[b], n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.

Okulagula kwa Balamu Okusooka

23 (AU)Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.” (AV)Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

(AW)Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.

(AX)Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”

(AY)Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”

(AZ)N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu. (BA)Balamu n’alagula nti,

“Balaki ye yanzigya mu Alamu,
    kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba.
N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo;
    jjangu oboole Isirayiri.’
(BB)Nnyinza okukolimira
    abo Mukama Katonda batakolimidde?
Nnyinza okuboola
    abo Mukama Katonda baatabodde?
(BC)Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi
    mbalengera nga nsinziira ku nsozi.
Ndaba abantu abeeyawuddeko
    abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
10 (BD)Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo,
    oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri?
Leka nfe okufa okw’omutuukirivu,
    n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”

11 (BE)Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”

12 (BF)N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”

Okulagula kwa Balamu Okwokubiri

13 Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.” 14 (BG)N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

15 Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”

16 (BH)Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”

17 N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”

18 Bw’atyo n’alagula nti,

“Golokoka, Balaki, owulirize;
    mpulira, mutabani wa Zipoli.
19 (BI)Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
    oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
    Asuubiza n’atatuukiriza?
20 (BJ)Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa;
    agabye omukisa, era siyinza kukikyusa.

21 (BK)“Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo,
    tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri.
Mukama Katonda waabwe ali nabo;
    eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.
22 (BL)Katonda ye yabaggya mu Misiri,
    balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.
23 (BM)Tewali bulogo ku Yakobo,
    tewali bulaguzi ku Isirayiri.
Kiryogerwako ku Yakobo
    ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’
24 (BN)Abantu basituka ng’empologoma enkazi,
    beezuukusa ng’empologoma ensajja
etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo
    n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”

25 Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!”

26 Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?”

Okulagula kwa Balamu Okwokusatu

27 (BO)Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.” 28 (BP)Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu.

29 Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.” 30 Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

24 (BQ)Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu. (BR)Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda, n’alagula nti,

“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
    okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
(BS)okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda
    alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna,
    eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:

“Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo,
    ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!

(BT)“Byeyaliiridde ng’ebiwonvu,
    ng’ennimiro ku mabbali g’omugga,
ng’emigavu egisimbiddwa Mukama
    ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
(BU)Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga
    ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.

“Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi
    obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.

(BV)“Katonda ye yabaggya mu Misiri
    balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko.
Basaanyaawo amawanga g’abalabe
    ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu,
    ne babalasa n’obusaale bwabwe.
(BW)Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,
    ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa?

“Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa
    n’oyo akukolimira akolimirwenga!”

10 (BX)Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. 11 (BY)Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”

12 (BZ)Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti, 13 (CA)‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’ 14 (CB)Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”

Okulagula kwa Balamu Okwokuna

15 N’alagula bw’ati nti,

“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
    okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
16 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda,
    aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo
alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna
    eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.

17 (CC)“Mmulaba, naye si kaakano;
    mmutunuulira, naye tali kumpi.
Emmunyeenye eriva ewa Yakobo;
    omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri.
Alibetenta Mowaabu,
    obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
18 (CD)Edomu[c] aliwangulwa;
    Seyiri, omulabe we, aliwangulwa,
    naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
19 (CE)Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo
    n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”

Okulagula kwa Balamu Okusembayo

20 (CF)Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti,

“Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga,
    naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”

21 (CG)N’alaba Abakeeni, n’alagula nti:

“Ekifo kyo w’obeera wagumu,
    ekisu kyo kiri mu lwazi
22 (CH)naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa
    Asuli bw’alibatwala mu busibe.”

23 Ate n’alagula nti,

“Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
24     (CI)Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu;
birifufuggaza Asuli ne Eberi[d],
    naye nabyo birizikirira.”

25 (CJ)Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.

Isirayiri Asinza Bakatonda Abalala mu Sitimu

25 (CK)Isirayiri bwe yali mu Sitimu, abasajja ne batandika okwenda n’abakazi ba Mowaabu, (CL)abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo. (CM)Bw’atyo Isirayiri n’ayingirira eby’okusinzanga Baali ow’e Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.

(CN)Mukama n’agamba Musa nti, “Kwata abakulembeze b’abantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.”

(CO)Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.”

Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri n’aleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Naye Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, bwe yakiraba, n’asituka mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe (CP)n’agoberera Omuyisirayiri n’amutuusa mu weema. Bombi n’abafumita effumu ne liyita mu Muyisirayiri ne liggukira ne mu mubiri gw’omukazi, ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli eyali alumbye abaana ba Isirayiri n’akoma. (CQ)N’abo abaafa kawumpuli baawera emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

10 Mukama n’agamba Musa nti, 11 (CR)“Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo. 12 (CS)Noolwekyo mutegeeze nti, ‘Laba nkola naye endagaano ey’emirembe. 13 (CT)Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ”

14 Omusajja Omuyisirayiri eyattirwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali Zimuli mutabani wa Salu eyali omukulembeze mu kika kya Simyoni. 15 (CU)N’erinnya ly’omukazi Omumidiyaani eyattibwa nga ye Kozebi muwala wa Zuuli, eyali omukulembeze mu kimu ku bika bya Midiyaani.

16 Mukama n’agamba Musa nti, 17 (CV)“Abamidiyaani obayigganyanga n’obatta, 18 (CW)kubanga baayagala okubazikiriza n’enkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, n’olwa Kozebi muwala w’omukulembeze w’e Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olw’ebyo ebyali e Peoli.”

Okubala Abantu Okwokubiri

26 Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti, (CX)“Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.” (CY)Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti, “Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.”

Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:

(CZ)Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:

abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki;

abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;

abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni;

abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.

Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).

Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, (DA)ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. 10 (DB)Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu. 11 (DC)Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.

12 (DD)Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri;

abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini;

abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini;

13 (DE)abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera;

abaava mu Sawuli, lwe lunyiriri lw’Abasawuli.

14 (DF)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200).

15 (DG)Ab’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Zefoni, lwe lunyiriri lw’Abazefoni;

abaava mu Kagi, lwe lunyiriri lw’Abakagi;

abaava mu Suni, lwe lunyiriri lw’Abasuni;

16 abaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni;

abaava mu Eri, lwe lunyiriri lw’Abaeri;

17 abaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi;

abaava mu Aleri, lwe lunyiriri lw’Abaaleri.

18 (DH)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

19 (DI)Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.

20 (DJ)Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera;

abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi;

abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera.

21 (DK)Bazzukulu ba Pereezi be bano:

abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni

abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli.

22 (DL)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).

23 (DM)Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola;

abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva;

24 (DN)abaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu;

abaava mu Simuloni, lwe lunyiriri lw’Abasimuloni

25 (DO)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).

26 Ab’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Seredi, lwe lunyiriri lw’Abaseredi;

abaava mu Eroni, lwe lunyiriri lw’Abaeroni;

abaava mu Yaleeri, lwe lunyiriri lw’Abayaleeri.

27 (DP)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).

28 Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.

29 (DQ)Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi.

Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.

30 (DR)Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri,

abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;

31 abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri,

abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:

32 abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida;

abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.

33 (DS)Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.

34 (DT)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).

35 Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera;

abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri;

abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani.

36 Bano be bazzukulu ba Susera:

abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani.

37 (DU)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500).

Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.

38 (DV)Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera;

abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi

abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu

39 abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu;

abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.

40 (DW)Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda;

abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.

41 (DX)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).

42 (DY)Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu.

Abo be baava mu Ddaani. 43 Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400).

44 Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna;

abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi;

abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.

45 Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino:

abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi;

abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.

46 Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.

47 (DZ)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

48 (EA)Ab’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Yazeeri, lwe lunyiriri lw’Abayazeeri,

abaava mu Guni, lwe lunyiriri lw’Abaguni

49 abaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri;

abaava mu Siremu, lwe lunyiriri lw’Abasiremu.

50 (EB)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).

51 (EC)Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).

Okugabanya Ensi

52 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 53 (ED)“Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli. 54 (EE)Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi. 55 (EF)Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo. 56 Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”

Okubala Abaleevi

57 (EG)Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali:

abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni;

abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi;

abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.

58 (EH)Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi:

olunyiriri lw’Ababalibuni,

olunyiriri lw’Abakebbulooni,

olunyiriri lw’Abamakuli,

olunyiriri lw’Abamusi,

n’olunyiriri lw’Abakoola.

Kokasi yazaala Amulaamu. 59 (EI)Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu. 60 (EJ)Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 61 (EK)Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.

62 (EL)Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.

63 (EM)Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. 64 (EN)Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi. 65 (EO)Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.

Abawala ba Zerofekadi

27 (EP)Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya g’abawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti, (EQ)“Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi. Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olw’obutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.”

(ER)Musa n’aleeta ensonga zaabwe awali Mukama Katonda. Mukama n’agamba Musa nti, (ES)“Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogw’obutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era n’omugabo gwa kitaabwe gubaweebwe.

“Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bw’anaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogw’obusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala. Bw’ataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be. 10 Bw’anaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe. 11 (ET)Kitaawe bw’aba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba ow’okumpi mu kika kye, oyo y’anaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ”

Yoswa Alondebwa Okusikira Musa

12 (EU)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri. 13 (EV)Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni, 14 (EW)kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini.

15 Awo Musa n’agamba Mukama Katonda nti, 16 (EX)Mukama Katonda w’emyoyo gy’abantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino, 17 (EY)afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.”

18 (EZ)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo[e], omusseeko omukono gwo. 19 (FA)Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe. 20 (FB)Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera. 21 (FC)Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”

22 Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 23 Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Ekiweebwayo Ekya buli Lunaku

28 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (FD)“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Mutegekenga ekiweebwayo kyange mu biseera bye nnyini, ye mmere ey’ebiweebwayo byange ebyokye, nga bivaamu akawoowo akalungi akansanyusa.’ (FE)Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku. Endiga emu munaagiwangayo mu makya, n’endiga eyookubiri munaagiwangayo akawungeezi; (FF)nga muteekeddeko ne kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni. (FG)Ekyo ky’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokye eri Mukama. (FH)Ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ng’emu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu. (FI)Endiga eyookubiri mugiteekateekanga kawungeezi, mu ngeri y’emu n’eyo ey’omu makya. Ekyo kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda.’ 

Ebiweebwayo eby’oku Ssabbiiti

(FJ)“Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo eky’endiga ennume ez’omwaka ogumu ogw’obukulu, ezitaliiko kamogo, wamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, n’ekiweebwayo eky’obuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. 10 (FK)Kino kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli Ssabbiiti, nga kyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

Ekiweebwayo ng’Omwezi Gwakaboneka

11 (FL)“Ku buli lunaku olw’olubereberye olwa buli mwezi onooleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ennume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu; byonna nga tebiriiko kamogo. 12 (FM)Ku buli nte nnume ento munaaleeterangako kilo ttaano ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke epima kilo ssatu n’obutundutundu bubiri n’ekitundu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; 13 (FN)ku buli mwana gw’endiga ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obupima kilo emu n’ekitundu obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Ebyo byonna bye by’ekiweebwayo ekyokebwa, ekivaamu akawoowo akalungi ak’ekiweebwayo ekiri ku muliro, ekiweereddwayo eri Mukama Katonda. 14 (FO)Ku buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu n’obutundu bubiri, ne ku buli mwana gw’endiga ennume ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka. 15 (FP)Ng’oggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi eri Mukama Katonda.

Embaga ey’Okuyitako

16 (FQ)“Olunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogw’olubereberye kwe kunaabanga Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda. 17 (FR)Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo kwe kunaabeeranga embaga; munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. 18 (FS)Ku lunaku olw’olubereberye munaabeeranga n’okukuŋŋaana okutukuvu; era temulukolerangako mirimu gyonna egy’okukakaalukana. 19 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente eza sseddume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 20 (FT)Ku buli nte ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ng’eweza kilo ssatu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ennume ento munaaleeterangako kilo bbiri; 21 ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, kilo emu. 22 (FU)Munaaleeterangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza. 23 Ebyo byonna munaabiteekateekanga nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo ekya buli makya. 24 Munaategekanga mu ngeri eyo, buli lunaku, emmere ey’ekiweebwayo ekyokebwa, okumala ennaku musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda; ekyo kinaateekebwateekebwanga okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako. 25 Ku lunaku olw’omusanvu munaakubangawo olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana.

Embaga ey’Ebibala Ebibereberye

26 (FV)“Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye, kwe munaaleeteranga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga, eri Mukama Katonda, ku Mbaga ya Wiiki, munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu; era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana. 27 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 28 Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima kilo ttaano; ne ku ndiga ennume ento, obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu; 29 (FW)ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. 30 Munaagattangako n’embuzi ennume emu ento olw’okwetangiririza. 31 (FX)Ebyo byonna munaabiwangayo awamu n’ekiweebwayo kyabyo ekyokunywa; okwo kwe munaagattanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke. Mwegenderezenga okulaba ng’ensolo ezo zonna teziriiko kamogo.”

Ebiweebwayo eby’Embaga ey’Amakondeere

29 (FY)“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere. (FZ)Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. (GA)Mugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza. (GB)Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.

Olunaku olw’Ebiweebwayo olw’Okwetangiririra

(GC)“Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna. Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. (GD)Ku nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, 10 (GE)ne ku buli emu ku baana b’endiga abalume omusanvu obupima kilo emu n’ekitundu. 11 (GF)Mugattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza, n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako.

Ebiweebwayo olw’Embaga ey’Ensiisira

12 (GG)“Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu. 13 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo. 14 (GH)Era munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume; 15 ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu. 16 (GI)Era munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

17 (GJ)“Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo. 18 (GK)Ku nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 19 (GL)Munaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa.

20 (GM)“Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 21 (GN)Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 22 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

23 “Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 24 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 25 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

26 “Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo. 27 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 28 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

29 “Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 30 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 31 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

32 “Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 33 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 34 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

35 (GO)“Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana. 36 (GP)Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 37 Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 38 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

39 (GQ)“Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.”

40 Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa.

Amateeka ku Bweyamo

30 (GR)Musa n’agamba abakulembeze b’ebika by’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama Katonda ky’alagidde: (GS)Omusajja bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, ekigambo kye ekyo taakimenyengawo, naye anaakolanga nga bw’anaabanga asuubizza.

“Omukazi omuvubuka anaabeeranga akyasula mu maka ga kitaawe, bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, kale, obweyamo bwe bwonna n’ebyo by’anaabanga asuubizza binaasigalanga nga bwe biri. (GT)Naye kitaawe bw’anaakiteegerangako, n’amuziyiza, kale, tewaabengawo n’ekimu ku ebyo by’anaabanga asuubizza ebinaasigalanga nga bwe biri. Naye kitaawe bw’anaamugaananga ku lunaku lw’anaakiwulira, tewaabengawo ku bweyamo bwe newaakubadde bye yalayira bye yasuubiza ebinaatuukirizibwanga, Mukama Katonda anaabimusonyiwanga, kubanga kitaawe abimuziyizza.

(GU)“Bw’anaafumbirwanga ng’amaze okweyama ng’awaddeyo n’ebisuubizo nga tamaze kwerowooza, bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’ayogera; kale, obweyamo bw’omukazi oyo n’ebisuubizo bye, bye yalagira okubituukiriza, binaasigalanga nga bwe biri. (GV)Naye singa bba bw’amala okubiwulirako n’amuziyiza, olwo obweyamo bw’omukazi oyo n’ebyo byonna bye yasuubiza nga teyeerowozezza, biba bifudde, era Mukama Katonda anaasonyiwanga omukazi oyo.

“Obweyamo n’ebisuubizo bwe binaakolebwanga nnamwandu oba omukazi eyayawukanira ddala ne bba mu bufumbo, binaasigalanga nga bwe biri.

10 “Omukazi ali mu bufumbo ng’abeera wamu ne bba mu maka gaabwe, bw’aneeyamanga oba n’asuubiriza ku kirayiro ng’alibaako by’atuukiriza, 11 bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’agamba mukazi we, n’atamuziyiza; kale, obweyamo bw’omukazi oyo bwonna bunaasigalangawo, ne buli kimu kyonna kye yasuubiza ne yeerayirira, binaasigalangawo. 12 (GW)Naye bba bw’anaabanga abiwuliddeko, kyokka n’abidibya n’abisazaamu, olwo tewaabengawo bweyamo oba ebisuubizo ebyava mu kamwa k’omukazi, ebinaasigalangawo, era Mukama Katonda anaabimusonyiwanga. 13 Bba anaayinzanga okukakasa oba okudibya obweyamo bwonna mukazi we bw’anaabanga akoze n’ebisuubizo byonna by’anaabanga yeerayiridde ebirimu n’okwerumya n’okwefiiriza. 14 Naye bba bw’ataabengako ne kyabyogerako nga ky’ajje abiwulire, olwo omukazi anaabanga akakasizza obweyamo bwe bwonna n’ebisuubizo bye yeerayirira. Bba anaabikakasanga bw’ataabengako ky’ategeeza mukazi we bw’anaabanga yaakamala okubiwulirako. 15 Naye bwe wanaayitangawo ennaku ng’amaze okubiwulirako, oluvannyuma n’alyoka abidibya, y’anaavunaanyizibwanga ku bitatuukiridde mu bweyamo bw’omukazi oyo.”

16 Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yalagira Musa aganaakwatanga ku musajja ne mukazi we, era ne kitaawe w’omuwala ne muwala we anaabanga akyali omuvubuka ng’akyasula mu nju ya kitaawe.

Okutta Abamidiyaani

31 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (GX)“Woolera eggwanga ly’abaana ba Isirayiri ku Bamidiyaani, oluvannyuma olyoke ogende abantu bo bonna gye balaga.”

(GY)Awo Musa n’agamba abantu nti, “Muyungule okuva mu mmwe abasajja abalwanyi mubawe ebyokulwanyisa, beetegekere olutalo, batabaale Midiyaani bawoolere eggwanga lya Mukama Katonda ku Midiyaani. Mu buli kika kya Isirayiri mujja kuggyamu abasajja lukumi abanaagenda okutabaala.” Awo ne baleeta okuva ku nkumi za Isirayiri abasajja lukumi okuva mu buli kika be balwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeetegekera olutabaalo. (GZ)Musa n’abasindika mu lutalo, abalwanyi lukumi nga bava mu buli kika; ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’ebintu by’omu watukuvu n’amakondeere ag’okulwana ng’ali nago.

(HA)Ne batabaala Midiyaani nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa, ne batta buli musajja. (HB)Mu battibwa mwe mwagendera ne bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba. Balamu mutabani wa Byoli naye baamuttiramu n’ekitala. Abaana ba Isirayiri ne bawamba abakazi ba Midiyaani n’abaana baabwe, ne banyaga ente n’ebisibo byabwe n’ebintu ebirala bingi. 10 (HC)Baayokya ebibuga by’Abamidiyaani mwe baabeeranga, awamu n’ensiisira zaabwe zonna. 11 (HD)Baatwala omunyago gwonna, nga mulimu n’abantu n’ensolo; 12 (HE)ne babireeta awali Musa ne Eriyazaali kabona n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri mu lusiisira lwabwe olwali mu nsenyi za Mowaabu eziri ku mugga Yoludaani okutunuulira emitala wa Yeriko.

13 Musa ne Eriyazaali kabona n’abakulembeze mu kibiina bonna ne bagenda okusisinkana abatabaazi ebweru w’olusiisira. 14 (HF)Musa n’anyiigira abakulembeze b’eggye, abaduumizi b’ebikumi n’abaduumizi b’enkumi abaakomawo nga bava mu lutabaalo.

15 Musa n’ababuuza nti, “Abakazi bonna temubasse? 16 (HG)Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera Mukama Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya Mukama. 17 (HH)Kale nno mutte buli mulenzi mu baana abato, era mutte na buli mukazi eyali yeegasseeko n’omusajja. 18 Naye abawala abato abatamanyanga musajja, mubeeterekere.

19 (HI)“Musiisire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli omu mu mmwe eyatta omuntu yenna, n’oyo eyakwatako ku gwe basse, mwetukuze awamu n’abanyage bammwe ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu. 20 (HJ)Mutukuze buli kyambalo ne buli kintu ekyakolebwa mu maliba, oba mu bwoya bw’embuzi oba mu muti.”

21 Awo Eriyazaali kabona n’agamba abasajja abaatabaala nti, “Lino lye tteeka Mukama Katonda ly’alagidde Musa: 22 (HK)Zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo, n’ekyuma, n’ebbaati, n’essasi 23 (HL)n’ekirala kyonna ekigumira omuliro mukiyise mu muliro kiryoke kibeere ekirongoofu. Naye era kisaana okulongoosebwa n’amazzi agalongoosa. Ebyo byonna ebitaasobole kuyita mu muliro biyisibwe mu mazzi ago. 24 (HM)Ku lunaku olw’omusanvu mwozanga engoye zammwe, mulyoke mubeere abalongoofu. Ebyo nga biwedde mulyoke muyingire mu lusiisira.”

Okugabana Omunyago

25 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 26 (HN)“Ggwe ne Eriyazaali kabona, n’abakulembeze b’empya ez’omu kibiina mubale obungi bw’omunyago ogwaleetebwa omuli abantu n’ebisolo. 27 (HO)Omunyago gugabanyeemu mu bitundu bibiri: eky’abatabaazi abaalwana olutalo n’ekyabaasigala mu kibiina. 28 (HP)Munaggya ku basajja abaatabaala ekitundu kimu ku buli bikumi bitaano, nga gwe musolo gwa Mukama Katonda, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi. 29 Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu ekya wakati ekinaagabanibwa abatabaazi mukiwe Eriyazaali kabona nga kye kitundu kya Mukama Katonda. 30 (HQ)Ku munyago gw’abaana ba Isirayiri abasigaddewo munaggyako ekitundu kimu ku bitundu ataano, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi oba ensolo endala zonna. Ebyo mujja kubiwa Abaleevi, abalabirira Weema ya Mukama.” 31 Bwe batyo Musa ne Eriyazaali bwe baakola, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

32 Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000). 33 Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000). 34 Endogoyi, emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000), 35 n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000).

36 Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago eky’abo abaatabaala kyali bwe kiti:

Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500);

37 (HR)ku ezo kwaliko ez’omusolo gwa Mukama Katonda lukaaga mu nsavu mu ttaano (675).

38 Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72).

39 Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu (61).

40 Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32).

41 (HS)Omusolo gwa Mukama, Musa n’aguwa Eriyazaali kabona, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

42 Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago ogwaweebwa abaana ba Isirayiri nga Musa amaze okuggyako ogw’abatabaazi abaalwana mu lutalo, 43 ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano (337,500); 44 Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000); 45 Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500); 46 n’abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000). 47 Ekitundu eky’omugabo eky’abaana ba Isirayiri, Musa n’aggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi eby’abantu n’eby’ebisolo, n’abiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ebiweebwayo by’Abakulembeze b’Eggye

48 Awo abakulembeze b’ebibinja mu ggye abaaduumiranga ebikumi n’abaaduumiranga enkumi, ne bajja eri Musa, 49 (HT)ne bamugamba nti, “Abaweereza bo tubaze abatabaazi bonna be tutwala, nga tewaliiwo n’omu abulawo. 50 (HU)Noolwekyo tuleetedde Mukama Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo eby’oku mikono, emikuufu egy’oku magulu, empeta z’oku ngalo n’empeta ez’omu matu n’obutiiti obw’omu bulago, twetangiririre mu maaso ga Mukama Katonda.”

51 Musa ne Eriyazaali kabona, ne bakkiriza ebyaleetebwa omwali zaabu n’ebyomuwendo ebirala byonna. 52 Zaabu yenna abaduumizi b’enkumi, n’abaduumizi b’ebikumi gwe baleeta eri Musa ne Eriyazaali kabona, okuwaayo eri Mukama Katonda, yali apima obuzito bwa kilo kikumi mu kyenda. 53 (HV)Buli mutabaazi yali yeenyagiddeyo ebintu ebibye ku bubwe. 54 (HW)Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne baddira zaabu eyaleetebwa abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi, ne bamuleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okubeeranga ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri mu maaso ga Mukama Katonda.

Ekika kya Lewubeeni n’ekya Gaadi Bituula mu Gireyaadi

32 (HX)Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe. Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, n’eri abakulembeze b’ekibiina ne babagamba nti, (HY)“Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni, (HZ)bye bitundu by’ensi Mukama Katonda gye yawangulira mu maaso g’abaana ba Isirayiri, nsi nnungi okulundiramu; ate ng’abaweereza bammwe tulina ebisolo byaffe bingi.” Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu by’ensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.”

Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano? (IA)Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’abawadde? (IB)Ne bakadde bammwe bwe baakola bwe nabatuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi. (IC)Kubanga bwe baayambuka mu Kiwonvu ekya Esukoli, ensi ne bagiraba, ne bayeengebula emitima gy’abaana ba Isirayiri baleme okugenda okuyingira mu nsi Mukama Katonda gye yali abawadde. 10 (ID)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku olwo, n’alayira nti, 11 (IE)‘Olw’okubanga tebaŋŋondedde n’omutima gwabwe gwonna, tewalibaawo n’omu ku basajja ab’emyaka okuva ku myaka makumi abiri okweyongerayo egy’obukulu, abaasimbuka okuva mu Misiri, aliraba ku nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; 12 (IF)tewalibaawo n’omu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi[f], ne Yoswa mutabani wa Nuuni, kubanga abo baagondera Mukama Katonda n’omutima gwabwe gwonna.’ 13 (IG)Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatambuliza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa omulembe gw’abo abaasobya mu maaso ga Mukama lwe gwaggweerera.

14 (IH)“Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani b’abakozi b’ebibi, nga mwongera okunakuwaza Mukama Katonda anyiigire Isirayiri! 15 (II)Kubanga singa mumukuba amabega ne mutakola by’ayagala ne mutamugoberera, abantu be ajja kwongera okubeesammulako, nate abaleke mu ddungu omulundi ogwokubiri, era bwe balizikirira mwe mulibaako obuvunaanyizibwa obwo.”

Ebika Ebirala Bigabana ku Bugwanjuba bwa Yoludaani

16 (IJ)Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato. 17 (IK)Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu. 18 (IL)Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe. 19 (IM)Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.