Add parallel Print Page Options

(A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti[a],

Read full chapter

Footnotes

  1. 6:2 Omunazaalayiti Omuntu yasobolanga okuba Omunazaalayiti okumala ennaku amakumi asatu oba obulamu bwe bwonna. Kyalinga kya kyenneyagalire, kyokka oluusi abazadde b’omwana bebeeyamanga ku lw’abaana baabwe abato, abaana ne bafuuka Abanazaalayiti obulamu bwabwe bwonna. Obweyamo bwalimu ebintu bisatu: obutakomba ku nvinnyo wadde ekintu kyonna ekitamiiza; enviiri ze tezaasalibwangako, wadde ekirevu kye okumwebwa; teyakwatanga ku mulambo

(A)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu.

Read full chapter

(A)“Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa[a] nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:3 ekiweebwayo ekyokebwa Ebika by’ensolo bisatu bye byaweebwangayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okusinziira ku mbeera y’omuntu awaayo ssaddaaka: ente sseddume yaweebwangayo abantu abagagga; endiga n’embuzi (lunny 10) n’ebinyonyi (lunny 14) byaweebwangayo abantu abaavu (5:7; 12:8)

31 (A)ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.

Read full chapter

(A)Kabaka n’awaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, n’eby’emyezi egyakaboneka, n’assaawo n’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama.

Read full chapter