Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 15:19-28:43

Oluyimba lwa Miryamu

19 (A)Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 20 (B)Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 21 (C)Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,

“Muyimbire Mukama,
    kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
    embalaasi n’agyebagadde.”

Amazzi g’e Mala n’aga Erimu

22 Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 23 (D)Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 24 (E)Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”

25 (F)Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.

Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26 (G)ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

27 (H)Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.

Maanu n’Obukwale

16 (I)Awo abaana ba Isirayiri, nga kibiina kinene, ne basitula okuva mu Erimu; ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, nga baakamala emyezi ebiri n’ennaku kkumi na ttaano kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. (J)Nga bali mu ddungu eryo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kyemulugunyiza Musa ne Alooni. (K)Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, “Singa twasigala mu nsi y’e Misiri, Mukama n’atuttira eyo n’omukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya z’ennyama, n’emmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala.”

(L)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kubatonnyeseza emmere ng’eva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu eky’olunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga. (M)Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri.”

(N)Awo Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isirayiri bonna nti, “Obudde nga buwungeera, we munaategeerera nga Mukama ye yabaggya mu nsi y’e Misiri: (O)ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe b’ani mmwe okutwemulugunyiza?” (P)Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”

Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ”

10 (Q)Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ng’akyategeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire. 11 Mukama n’ayogera ne Musa, ng’agamba nti, 12 (R)“Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, ‘Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”

13 (S)Obudde nga buwungeera enkwale ne zijja ne zijjula olusiisira; ne mu makya ne wabaawo omusulo ku ttaka mu lusiisira. 14 (T)Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi. 15 (U)Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, “Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya. 16 (V)Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Buli muntu akuŋŋaanye gy’anaamalawo. Buli muntu ali mu weema zammwe mumukuŋŋaanyize kilo bbiri.’ ”

17 Abaana ba Isirayiri ne bakola nga bwe baalagirwa; abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, n’abalala ntono. 18 (W)Bwe baagipimiranga mu kabakuli aka oma, ze lita ebbiri, oyo eyali akuŋŋaanyizza ennyingi teyasukkirizanga, n’oyo ow’entono nga teyeeseera. Buli muntu yakuŋŋaanyanga ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga.

19 (X)Musa n’abagamba nti, “Tewabaawo omuntu n’omu agifissaako okutuusa enkeera.” 20 Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; n’ezaala envunyu, era n’ewunya. Musa n’abasunguwalira.

21 Buli nkya ne bakuŋŋaanyanga buli omu gye yayinzanga okulya nga anaagimalawo; naye akasana bwe kaayakanga nga kakazizza, n’esaanuuka.

Emmere y’oku Ssabbiiti

22 (Y)Awo ku lunaku olw’omukaaga ne bakuŋŋaanya emmere ya mirundi ebiri, ze kilo nnya buli muntu; abakulembeze bonna mu kibiina ne bajja ne bategeeza Musa. 23 (Z)N’abagamba nti, “Mukama yalagidde bw’ati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ ”

24 Bwe batyo ne bagyeterekera okutuusa enkeera, nga Musa bwe yabalagira; n’etewunya wadde okuzaala envunyu. 25 Musa n’abagamba nti, “Eyo mugirye leero, kubanga leero ye Ssabbiiti ya Mukama, ku ttaka temujja kusangako mmere. 26 (AA)Mu nnaku omukaaga mujjanga kugikuŋŋaanya, naye ku lunaku olw’omusanvu, olwa Ssabbiiti, emmere teebeerengawo.”

27 Naye era abamu ku bantu baafuluma ku lunaku olw’omusanvu bagikuŋŋaanye, naye tebaasangayo kantu. 28 (AB)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Mulituusa ddi nga mukyajeemera ebiragiro byange? 29 Mutegeere nga Mukama abawadde Ssabbiiti; ku lunaku olw’omukaaga kyava abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu abeerenga mu maka ge nga tafulumye n’akatono ku lunaku olw’omusanvu.” 30 Abantu bwe batyo ne bawummula ku lunaku olw’omusanvu.

31 (AC)Ab’omu nnyumba ya Isirayiri, emmere eyo ne bagiyitanga maanu. Yali efaanana ng’akasigo ka koliyanda, nga njeru; ng’ewoomerera ng’obusukuuti obufumbiddwa n’omubisi gw’enjuki. 32 Musa n’agamba nti, “Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Muddire akabakuli aka kilo bbiri mukajjuze maanu mugiterekere ab’emirembe egigenda okujja; balyoke balabe ku mmere gye nabaliisanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri.’ ”

33 (AD)Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira akabakuli osseemu maanu ejjuza oma, ze lita bbiri, obungi, ogisse awali Mukama, eterekerwe ab’emirembe egigenda okujja.”

34 (AE)Bw’atyo Alooni n’ateeka maanu awali Endagaano, ekuumirwe awo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 35 (AF)Abaana ba Isirayiri ne balya maanu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi omuli abantu. Baalya maanu[a] okutuusa lwe baatuuka ku nsalo ya Kanani.

36 Oma[b] emu yenkana kimu kya kkumi ekya efa.[c]

Amazzi Agaava mu Lwazi

17 (AG)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. (AH)Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”

(AI)Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”

(AJ)Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”

(AK)Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. (AL)Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. (AM)Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”

Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana

(AN)Awo Abamaleki[d] ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. (AO)Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”

10 (AP)Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 (AQ)Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12 Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13 Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.

14 (AR)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”

15 Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16 N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”

Yesero Akyalira Musa

18 (AS)Yesero, kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, n’awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n’abantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri. (AT)Ye yalabiriranga Zipola, mukyala wa Musa; kubanga Musa yali amuzzizza ewaabwe ng’amumulekedde, (AU)ne batabani be babiri. Mutabani we omu yamutuuma Gerusomu, kubanga Musa yagamba nti, “Mbadde mugwira mu nsi etali yange;” (AV)n’erinnya ly’omulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era n’amponya ekitala kya Falaawo.”

(AW)Yesero, mukoddomi wa Musa, n’ajja ne batabani ba Musa ne mukyala we eri Musa mu ddungu, we yali asiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda. Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.” (AX)Awo Musa n’afuluma n’agenda okwaniriza mukoddomi we; n’akutamako ng’amulamusa, n’amugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, n’oluvannyuma ne bayingira mu weema. (AY)Musa n’anyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo n’Abamisiri ng’abalanga Isirayiri; n’ebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.

Yesero n’asanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ng’abanunula ku Bamisiri. 10 (AZ)Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri. 11 (BA)Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.” 12 (BB)Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, n’awaayo eri Katonda ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.

Okulonda Abalamuzi

13 Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi. 14 Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?” 15 (BC)Musa n’addamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda by’ayagala. 16 (BD)Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”

17 Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi. 18 (BE)Ggwe, n’abantu bano bonna abajja gy’oli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bw’omu. 19 (BF)Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ng’ali naawe. Osaana obeere omubaka w’abantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe. 20 (BG)Bayigirize amateeka n’ebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu n’emirimu gye basaanidde okukola. 21 (BH)Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi. 22 (BI)Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako. 23 Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”

24 Musa bw’atyo n’awuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, n’akolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira. 25 (BJ)Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, n’abafuula abakulembeze b’abantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, n’abalala ebikumi, n’abamu amakumi ataano ataano, n’abalala kkumi kkumi. 26 (BK)Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.

27 (BL)Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.

Eddungu lya Sinaayi

19 Mu mwezi ogwokusatu abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, ne batuuka mu Ddungu lya Sinaayi. (BM)Kubanga baali basitudde okuva mu Lefidimu ne bayingira Eddungu lya Sinaayi. Abayisirayiri ne basimba eweema zaabwe mu ddungu omwo mu maaso g’olusozi Sinaayi.

(BN)Awo Musa n’ayambuka eri Katonda; Mukama n’amuyita ng’asinziira ku lusozi ng’agamba nti, “Bino by’onoogamba ennyumba ya Yakobo, by’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, (BO)‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro by’empungu[e] n’embeereetera gye ndi. (BP)Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange ery’enjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange. (BQ)Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo by’ojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.”

Awo Musa n’akomawo, n’ayita abakulembeze b’abantu n’abategeeza ebigambo ebyo byonna Mukama bye yamulagira. (BR)Abantu bonna ne baddiramu wamu nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye, tujja kubikola.” Musa n’ategeeza Mukama ng’abantu bwe baayogera. (BS)Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kujja gy’oli mu kire ekikutte, abantu bawulire nga njogera naawe, bakukkirizenga era bakwesigenga ennaku zonna.” Musa n’ategeeza Mukama abantu bye baayogera.

Okutukuza Abantu

10 (BT)Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero n’enkya. Bagambe booze engoye zaabwe, 11 (BU)ku lunaku olwokusatu babeere beetegefu, kubanga ku lunaku olwo Mukama alikka ku lusozi Sinaayi ng’Abayisirayiri bonna balaba. 12 Abayisirayiri bakugire n’olukomera okwetooloola olusozi, obagambe nti, ‘Mwekuume muleme okwambuka ku lusozi oba okulukwatako we lutandikira. Anaalukwatako ajja kuttibwa. 13 (BV)Tajja kukwatibwako, wabula ajja kukubirwa ddala amayinja oba kufumitibwa. Omuntu tajja kulama, n’ebisolo tewaabeewo kirama.’ Akagombe bwe kanaamala okuvugira akabanga, olwo abantu ne balyoka bajja awali olusozi.[f]

14 Awo Musa n’ava ku lusozi n’aserengeta eri abantu, n’abatukuza ne bayoza engoye zaabwe. 15 N’abagamba nti, “Mwetegekere olunaku olwokusatu, ne bakyala bammwe temubasemberera.”

Musa Asisinkana Katonda ku Lusozi Sinaayi

16 (BW)Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekikutte ku lusozi, n’eddoboozi ly’akagombe ery’omwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira n’okukankana ne bakankana. 17 Musa n’aggya abantu mu lusiisira n’abaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w’olusozi. 18 (BX)Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 19 (BY)Eddoboozi ly’akagombe bwe lyeyongera okuvuga n’omwanguka ogw’amaanyi, Musa n’ayogera, ne Katonda n’amwanukula n’eddoboozi ery’okubwatuka.

20 Awo Mukama n’akka ku ntikko y’Olusozi Sinaayi. Mukama n’ayita Musa agende ku ntikko y’olusozi; Musa n’alinnya. 21 (BZ)Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta eri abantu obalabule baleme kuwaguza okujja okutunula ku Mukama, abantu bangi baleme kuzikirira. 22 (CA)Ne bakabona, abasemberera Mukama, nabo basaana beetukuze, kubanga Mukama ayinza okubasaanyaawo.”

23 (CB)Musa n’addamu Mukama nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ”

24 (CC)Mukama n’alagira Musa nti, “Serengeta oleete Alooni; naye bakabona n’abantu tobaganya kuwaguza kujja kwambuka eri Mukama, kubanga ayinza okubasaanyaawo.”

25 Bw’atyo Musa n’aserengeta mu bantu n’abategeeza.

Amateeka Ekkumi

20 Awo Mukama n’ayogera ebigambo bino, n’agamba nti:

(CD)“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.

(CE)Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.

(CF)Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. (CG)Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. (CH)Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.

(CI)Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.

(CJ)Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga. (CK)Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo. 11 (CL)Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.

12 (CM)Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

13 (CN)Tottanga.

14 (CO)Toyendanga.

15 (CP)Tobbanga.

16 (CQ)Towaayirizanga muntu munno.

17 (CR)Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”

18 (CS)Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako, 19 (CT)ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”

20 (CU)Musa n’agamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”

Ebiragiro ku Byoto

21 (CV)Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali. 22 (CW)Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu. 23 (CX)Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.

24 (CY)“ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa. 25 (CZ)Bwe munzimbiranga ekyoto eky’amayinja, temukizimbisanga mayinja mayooyoote, kubanga ekyuma bwe kirigakoonako kirigafuula agatasaanira kyoto kyange. 26 Ekyoto kyange temukizimbangako madaala, muleme okukiweebuula nga mulinnya amadaala.’ ”

Amateeka ku Baddu

21 (DA)Amateeka gano gabategeeze nti:

(DB)“Bw’ogulanga omuddu Omwebbulaniya, akuweererezanga emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw’omusanvu omuddizanga eddembe lye n’agenda, era talisasuliranga. Bw’aba nga yajja yekka, era agendanga yekka; naye bw’aba nga yajja ne mukazi we, era agendanga naye. Mukama we bw’abanga amuwadde omukazi, n’amuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala; omukazi n’abaana babanga ba mukama wa muddu oyo; omusajja yekka ye yaddizibwanga eddembe lye. (DC)Naye omuddu bw’agambanga nti, ‘Nze mukama wange mmwagala, ne mukazi wange n’abaana bange bonna mbagala, era seetaaga ddembe,’ (DD)mukama we amutwalanga eri abalamuzi, amuleetanga ku luggi oba ku mwango gw’oluggi, n’amuwummula okutu n’olukato.[g] Olwo anaamuweerezanga okutuusa okufa.

“Omusajja bw’anaatundanga omwana we owoobuwala ng’omuddu, omuwala oyo taddizibwenga ddembe ng’omuddu omusajja. Bw’ataasanyusenga mukama we eyamugula, anaayinzanga okununulibwa. Kyokka mukama we taabenga na buyinza kumutunda mu bannamawanga, kubanga mukama we yanaabanga amukuusizakuusiza okumala okumuwasa ate n’amwegobako. Singa amugabira mutabani we, olwo anaabanga ng’omu ku bawala be. 10 (DE)Singa amuwasizaako omukazi omulala, mukama we taamuggyengako mmere ye oba engoye ze, wadde ebimukwatako byonna eby’obufumbo. 11 Ebintu ebyo ebisatu singa abimumma, omuwala omuddu anaayinzanga okuleka mukama we n’amuvaako awatali kusasulirwa.

Amateeka ku Butemu

12 (DF)“Anaakubanga omuntu n’amutta, naye ateekwa buteekwa okuttibwa. 13 (DG)Kyokka singa akikola nga tagenderedde, naye Katonda n’akikkiriza okubaawo, anaddukanga ne yeekweka mu kifo kye ndibateekerateekera. 14 (DH)Naye singa omuntu anaasalanga olukwe n’alumba munne n’amutta mu bugenderevu, bw’anaabanga ku kyoto kyange, mumusikangako ne mumutwala ne mumutta.

15 “Akubanga kitaawe oba nnyina, ateekwa buteekwa okuttibwa.

16 (DI)“Oyo awambanga omuntu n’amutunda oba n’akwatibwa naye nga tannamutunda attibwanga buttibwa.

17 (DJ)“Anaakolimiranga kitaawe oba nnyina ateekwa kuttibwa.

Amateeka ku Kuyomba n’Okulwana

18 “Abantu singa bayomba ne balwana, omu n’akuba munne ejjinja oba ekikonde, n’atafa wabula n’abeera ku kitanda; 19 singa ava ku kitanda, n’atandika n’okutambulako ebweru n’omuggo gwe, oli eyamukuba taavunaanibwenga; wabula anaasasuliranga ebiseera by’oyo gwe yakuba, era n’amujjanjaba okutuusa ng’awonedde ddala.

20 “Omuntu bw’anaakubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi n’omuggo, omuddu oyo emiggo ne gimutta, omusajja oyo anaabonerezebwanga; 21 (DK)naye omuddu oyo bw’anaalamanga okumala olunaku oba ennaku ebbiri, mukama we taabonerezebwenga, kubanga ye nannyini ye.

22 (DL)“Singa abantu babadde balwana, ne bakubiramu omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, kyokka n’atabaako mutawaana mulala gwonna, oyo amukubye anaatanzibwanga omutango bba w’omukazi gw’anaasalanga, era nga n’abalamuzi bagukkirizza. 23 (DM)Naye singa omukazi oyo abaako omutawaana ogw’amaanyi, ekibonerezo kineenkanaakananga n’ekyo ky’amukoze. Bw’anattanga anattibwanga, 24 (DN)bw’anaaggyangamu eriiso lya munne, n’erirye banaaligyangamu, oba omuntu bw’anaaggyangamu erinnyo lya munne, n’erirye banaalikuulangamu, bw’anaamutemangako omukono, n’ogugwe banaagutemangako, bw’anaamutemangako ekigere, n’ekikye banaakitemangako, 25 bw’anaamwokyanga, naye anaayokebwanga, bw’anaamussangako ekiwundu, naye anaassibwangako ekiwundu, bw’anaamunuubulanga, naye anaanuubulwanga.

26 “Omuntu bw’akubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, n’amuggyamu eriiso, anaamuddizanga eddembe lye n’amuleka n’agenda, nga kwe kumuliyira olw’eriiso eryo. 27 Singa akuba omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, n’amukuulamu erinnyo, anaamuddizanga eddembe lye, nga kwe kumuliyira olw’erinnyo eryo.

Amateeka ku Nsolo Ezirundibwa

28 (DO)“Singa ente ya seddume etomera omusajja oba omukazi n’emutta, seddume eyo eteekwa okukubwanga amayinja n’efa, n’ennyama yaayo teriibwanga. Kyokka nannyini yo taabengako musango. 29 Naye seddume eyo singa emanyiddwa nga bulijjo ntomezi, era nga ne nannyini yo yalabulwako dda, kyokka n’atagisibira mu lugo lwayo, n’etta omusajja oba omukazi, eneekubwanga amayinja n’efa, ne nannyini yo anattibwanga. 30 (DP)Naye singa asalirwa engassi, aneenunulanga n’awona okufa ng’asasuddeyo kyonna ekinaabanga kimusaliddwa. 31 Seddume bw’eneetomeranga mutabani w’omuntu oba muwala we, etteeka lye limu eryo lye linaakozesebwanga. 32 (DQ)Seddume bw’etomeranga omuddu omusajja oba omuddu omukazi, nannyini yo ateekwa okusasula mukama w’omuddu oyo, ebitundu bya ffeeza amakumi asatu,[h] ne seddume ekubwenga amayinja efe.

33 “Omuntu bw’anaabikkulanga ekinnya n’akireka nga kyasamye, oba bw’anaasimanga ekinnya n’atakisaanikirako, seddume n’ekigwamu oba endogoyi, 34 nannyini kinnya anaasasuliranga okufiirwa okwo; anaasasulanga nannyini nsolo efudde, era n’okugitwala anaagitwalanga.

35 “Seddume y’omuntu bw’eneerumyanga seddume y’omulala, n’emala egitta; banaatundanga seddume ennamu, ensimbi ne bazigabana; ne seddume enfu nayo banaagigabananga. 36 Oba singa seddume eyo ng’emanyiddwa nga ntomezitomezi, naye nannyini yo nga tagiggalira mu lugo lwayo, ateekwa asasule seddume olwa seddume, yo enfu eneebanga yiye.

Amateeka ku Bintu by’Abantu

22 (DR)“Omuntu bw’anabbanga ente ya munne, oba endiga, n’agitta oba n’agitunda; anazzangawo ente ttaano olw’emu gy’abbye, n’endiga nnya olw’endiga emu.

(DS)“Omubbi bw’anaakwatibwanga ng’amenya ennyumba, n’akubibwa emiggo n’afa; amukubye taabengako musango olw’okuyiwa omusaayi gw’omubbi oyo; (DT)naye singa ebyo bigwawo ng’enjuba emaze okuvaayo, anaabangako omusango olw’okuyiwa omusaayi ogwo. Omubbi anaateekwanga okuliwa; naye bw’abanga talina kantu, anaatundibwanga alyoke asasulire bye yabba.

(DU)“Omubbi singa akwatibwa lubona nga n’ensolo gy’abbye agirina nnamu, oba nte, oba ndogoyi oba ndiga, anazzangawo bbiri bbiri.

“Omuntu bw’anaabanga alunda ebisolo bye mu ddundiro lye oba mu nnimiro ye ey’emizabbibu, ensolo ze n’azireka ne zigenda ziriira mu nnimiro y’omuntu omulala; anaasasulanga ku bibala ebisinga obulungi n’ezabbibu ebiva omumwe.

“Omuliro bwe gunaalandanga ne guyita mu bisaka[i] ne gukwata ennimiro y’omuntu, ne gwokya ebinywa by’eŋŋaano, oba eŋŋaano ekyakula, oba ne guzikiriza ennimiro ye yonna; eyakumye omuliro ogwo anaasasuliranga byonna ebyonoonese.

(DV)“Omuntu bw’anaateresanga munne ensimbi oba ebintu bye ebirala, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw’anaakwatibwanga anaaliwanga emirundi ebiri. (DW)Naye omubbi bw’ataakwatibwenga, nannyini nnyumba ateekwa agende eri abalamuzi, basalewo obanga ebintu bya munne ye yabitutte. (DX)Mu buli misango gyonna egy’okubeera n’ebintu mu ngeri emenya amateeka, ng’okubeera n’ente, oba endogoyi, oba endiga, oba ekyambalo, oba ekintu ekirala kyonna ekinaabanga kibuze, omuntu n’amala akyogerako nti, ‘Kino kyange,’ omuntu akirina n’oyo akiyita ekikye banaatwalanga ensonga zaabwe eri abalamuzi. Oyo abalamuzi gwe banaasaliranga nti gumusinze, anaddizangawo munne emirundi ebiri.

10 “Omuntu bw’anaateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala yonna; n’emala efa, oba n’erumizibwa, oba n’etwalibwa nga tekitegeerekese agitutte, 11 (DY)ensonga zaabwe zinaagonjoolwanga nga eyatereka alayidde mu maaso ga Mukama nti ensolo eyo si ye yagibba. Nannyini nsolo ateekwanga okukkiriza ekirayiro ekyo, era taasasulwenga kintu kyonna. 12 Naye bw’eneemubbibwangako, anaagiriwanga. 13 (DZ)Bw’eneebanga erumbiddwa ensolo enkambwe n’etaagulwataagulwa, anaaleetanga ebitundutundu byayo ebisigaddewo ng’obujulizi; taaliwenga nsolo etaaguddwataaguddwa.

14 “Omuntu bw’aneeyazikanga ensolo ku muliraanwa we, n’erumizibwa, oba n’emufaako nga nnyini yo taliiwo, anaateekwanga okugisasulira. 15 Naye nannyini yo bw’anaabangawo, taaliyirwenga. Ensolo ng’ebadde epangisibbwa bupangisibwa, omuwendo ogugipangisizza gunaamalanga mu kugisasulira.

Amateeka ku Mbeera y’Abantu

16 (EA)“Omusajja bw’anaasendasendanga omuwala omuto akyali embeerera, ne yeebaka naye, atwalengayo ebintu ebyobuko, amuwase. 17 Naye singa kitaawe w’omuwala agaanira ddala okumumuwa, era asasulangayo omuwendo gw’ensimbi ogwenkanankana n’eby’obuko ebiweebwayo ku mbeerera.

18 (EB)“Omukazi omulogo omuttanga bussi.

19 (EC)“Omuntu akola eby’ensonyi n’ensolo ateekwanga kuttibwa.

20 (ED)“Omuntu atwalanga ssaddaaka eri katonda omulala, atali nze Mukama, azikirizibwenga.

21 (EE)“Bannamawanga temubayisanga bubi, so temubanyigirizanga, kubanga nammwe mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.

22 (EF)“Nnamwandu ne mulekwa temubajooganga. 23 (EG)Bwe munaabajooganga ne bankaabira, nnaabawulirizanga. 24 (EH)Obusungu bwange ne bubuubuuka, mmwe ne mbatta n’ekitala. Bakyala bammwe ne bafuuka bannamwandu n’abaana bammwe bamulekwa.

25 (EI)“Bw’owolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ng’ali mu kwetaaga, teweeyisanga ng’abawozi b’ensimbi abalala; tomusasuzanga magoba. 26 (EJ)Bw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa; 27 (EK)kubanga ekyambalo kye ekyo kye ky’okwebikka kye kyokka ky’alina. Kale bw’otokimuddiza olwo asule mu ki? Bw’anankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa.

28 (EL)“Tovumanga Katonda, wadde okwogera obubi ku bafuzi bammwe.

29 (EM)“Tolwangawo kuwaayo ku bibala ebibereberye nga byengedde.

“Mutabani wo omubereberye onoomumpanga. 30 (EN)Ente zo n’endiga zo nazo onookolanga bw’otyo. Onoozirekeranga bannyina baazo okumala ennaku musanvu; onoozimpanga ku lunaku olw’omunaana.

31 (EO)“Mujjanga kuba bantu bange batukuvu. Noolwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo etaaguddwataaguddwa ebisolo eby’omu nsiko. Munaagirekeranga mbwa.

Amateeka ku Kusaasira ne ku Bwenkanya

23 (EP)“Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ng’owa obujulirwa obw’obulimba bulyoke bumuyambe.

(EQ)“Tokolagananga na kibiina ky’omanyi nga bye kiriko bikyamu. Bw’obanga owa obujulirwa mu musango, tokkirizanga kusikibwa kibiina ne kikuweesa obujulizi obw’obulimba nga weekubira ku ludda lwe kiriko; era towanga bujulirwa bukyamu oyambe omuntu yenna olwokubanga mwavu.

(ER)“Bw’osanganga ente y’omulabe wo, oba endogoyi ye, ng’ebuzze ogimuddizangayo eka. (ES)Bw’olabanga endogoyi y’omuntu atakwagala, ng’omugugu gugisudde wansi, togirekanga, naye omuyambangako okugiyimusa.

(ET)“Tolemanga kusalirawo muntu nsonga ze mu bwenkanya, olwokubanga mwavu. (EU)Teweeyingizanga mu nsonga za bulimba, era tottanga muntu atalina kibi oba atazzizza musango, kubanga aliko omusango sigenda kumwejjeereza.

(EV)“Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba omuntu amaaso n’ekyamya n’abatuukirivu.

(EW)“Temuwalagganyanga munnaggwanga, kubanga mmwe bennyini mumanyi nga bwe kiri okuba bannaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.

10 “Mu myaka omukaaga osigirangamu emmere yo mu nnimiro zo era n’ogikungula; 11 naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka olirekanga ne liwummula, abaavu mu mmwe basobolenga okulya ku mmere okuva mu bimererezi; eneefikkangawo ebisolo by’omu nsiko binaagiryanga. Era bw’otyo bw’onookolanga n’ennimiro zo ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni.

12 (EX)“Mu nnaku omukaaga mw’okoleranga emirimu gyo, naye ku lunaku olw’omusanvu tokolanga, ente yo n’endogoyi yo ziryoke zisobole okuwummulako; ne mutabani w’omuweereza wo, ne munnaggwanga ali mu maka go bawummuleko baddemu endasi.

13 (EY)“Weegenderezanga n’okolanga byonna bye nkulagidde. Bakatonda abalala toboogerangako, era amannya gaabwe tegayitanga mu kamwa ko.

Amateeka ku Mbaga Enkulu Essatu eza Buli Mwaka

14 (EZ)“Ononkoleranga embaga emirundi esatu buli mwaka.

15 (FA)“Onookolanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Onoolyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa okumala ennaku musanvu, nga bwe nakulagira. Kino okikolanga mu kiseera ekyategekebwa, mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu mwezi ogwo mwe waviira mu nsi y’e Misiri.

“Tewabangawo ajja gye ndi engalo ensa.

16 (FB)“Onookolanga Embaga ey’Amakungula[j] ey’ebibala ebibereberye eby’ebirime bye wasiga mu nnimiro yo.

“Onookolanga Embaga ey’Amayingiza[k] buli nkomerero ya mwaka, bw’onookuŋŋaanyanga ebibala by’omu nnimiro, n’obiyingiza.

17 (FC)“Abasajja bonna banajjanga awali Mukama Katonda emirundi egyo esatu buli mwaka.

18 (FD)“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; n’amasavu aga ssaddaaka yange tegasulangawo kutuusa nkeera.

19 (FE)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbanga akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako.[l]

Ekisuubizo ky’Okukuumibwa Katonda

20 (FF)“Laba, ntuma malayika akukulembere, akutuuse bulungi mu kifo kye nteeseteese. 21 (FG)Omuwulirizanga, era ogonderanga by’agamba. Tomujeemeranga; bw’olijeema tagenda kukusonyiwa, kubanga aliba akola mu Linnya lyange. 22 (FH)Naye bw’onoowulirizanga eddoboozi lye, n’okola nga bwe ŋŋamba, kale nnaakyawanga abakukyawa, n’abalabe bo banaabanga balabe bange. 23 (FI)Malayika wange alikwesooka mu maaso akukulemberenga akutuuse mu nsi y’Abamoli, ne mu y’Abakiiti, ne mu y’Abaperezi, ne mu y’Abakanani, ne mu y’Abakiivi, ne mu y’Abayebusi, nange ndibazikiririza ddala. 24 (FJ)Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, era tokwatanga mpisa zaabwe, wabula obabetetaranga ddala, n’omenyaamenya n’empagi zaabwe. 25 (FK)Oweerezanga Mukama Katonda wo yekka, emmere yo n’amazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe; 26 (FL)tewaabengawo mugumba wadde avaamu olubuto. Ennaku z’obulamu bwo zonna nnaazituukirizanga.

27 (FM)“Nnaasindikanga ekikangabwa mu mawanga agaagala okukwolekera, ne ntabulatabula abo bonna abanaakwegezangamu, era abalabe bo nnaabafuumuulanga emisinde. 28 (FN)Ndisindika ennumba ne zikukulembera, ne zigoba Abakiivi, n’Abakanani, n’Abakiiti ne bakuviira mu kkubo lyo. 29 (FO)Naye mu nsi omwo siribagobamu mu mwaka gumu, ebikande bireme kusukkirira, n’ensolo ez’omu nsiko ne zaala ne zibayitirira obungi. 30 Nzijanga kubagobamu mpola mpola, okutuusa nga mwaze ne mulyoka mulya ensi eyo.

31 (FP)“Ndisala ensalo zammwe okuva ku Nnyanja Emyufu okutuuka ku Nnyanja y’Abafirisuuti, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Fulaati. Abantu b’omu nsi omwo ndibabawa, ne mubagobamu. 32 (FQ)Temukolanga nabo ndagaano, wadde ne bakatonda baabwe. 33 (FR)Temubakkirizanga kubeera mu nsi yammwe, tebalwa kubanyoomesa biragiro byange; kubanga singa muweereza bakatonda baabwe muliba mugudde mu mutego.”

Isirayiri Akkiriza Endagaano

24 (FS)Awo Mukama n’alagira Musa nti, “Mwambuke eno gye ndi, ggwe ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri nsanvu. Musinze nga mwesuddeko akabanga, Musa yekka y’anaansemberera; abalala tebasembera. Era abantu tebasaana kujja naye.”

(FT)Musa n’ajja n’ategeeza abantu ebigambo byonna Mukama bye yamugamba awamu n’amateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna Mukama by’agambye tunaabikola.” (FU)Bw’atyo Musa n’awandiika ebigambo byonna Mukama bye yayogera.

Awo Musa n’akeera mu makya n’azimba ekyoto awo wansi w’olusozi; n’asimbako n’empagi kkumi na bbiri ng’ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri bwe byali. N’atuma abasajja abavubuka Abayisirayiri, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ne ssaddaaka ey’emirembe ey’ente. (FV)Musa n’addira ekitundu ky’omusaayi n’akissa mu mabeseni, n’ekitundu ekirala n’akimansira ku kyoto. (FW)N’asitula Ekitabo ky’Endagaano, n’akisomera abantu nga bonna bawulira. Ne bagamba nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye tujja kubikola; era tunaamugonderanga.”

(FX)Awo Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu, n’agamba nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Mukama Katonda gye yabalagira okukwata.”

(FY)Awo Musa ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri ensanvu, ne bambuka; 10 (FZ)ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi w’ebigere bye nga waliwo ng’omwaliiro ogw’amayinja ga safiro, agalabika obulungi ng’eggulu eritaliiko bire. 11 (GA)Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa.

12 (GB)Mukama n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.”

13 (GC)Awo Musa n’asituka n’omuweereza we Yoswa; Musa n’ayambuka ku lusozi lwa Katonda. 14 N’agamba abakulembeze b’abantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba n’ensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.”

15 (GD)Awo Musa n’alinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka. 16 (GE)Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu Mukama n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire. 17 (GF)Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi. 18 (GG)Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.

Ebiweebwayo mu Weema Entukuvu

25 Mukama n’ayogera ne Musa nti, (GH)“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ng’okuteesa kw’omutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.

“Bino bye biweebwayo bye banaakukwasa:

“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;

n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;

n’obwoya bw’embuzi,

n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;

n’embaawo z’omuti gwa akasiya;

(GI)n’amafuta g’ettaala;

n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza;

(GJ)n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, era ne ku kyomukifuba.

(GK)“Bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo. (GL)Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu n’ebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.

Essanduuko

10 (GM)“Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11 Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu. 12 Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. 13 Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu. 14 Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko. 15 (GN)Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu. 16 (GO)Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.

17 (GP)“Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 18 Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira. 19 Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira. 20 (GQ)Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira. 21 (GR)Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko. 22 (GS)Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.

Emmeeza

23 (GT)“Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 24 Ogibikkeko zaabu omuka ennyo; era ogyetoolooze ne zaabu omuge gwonna. 25 Era ogyetoolooze olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwetooloola olukugiro olwo. 26 Ogikolere empeta nnya eza zaabu, ozisibe mu nsonda ennya awali amagulu ana. 27 Empeta zijja kubeera waggulu okumpi n’omuge, emisituliro gy’emmeeza mwe ginaayisibwa. 28 Okole emisituliro mu muti gwa akasiya, ogibikkeko zaabu, egyo emmeeza kw’eneesitulirwanga. 29 (GU)Era ogikolere essowaani eza zaabu, n’ebijiiko ebya zaabu, n’ensuwa eza zaabu, n’ebibya ebya zaabu eby’okufukanga ebiweebwayo. 30 (GV)Era ku mmeeza eno onossaako Emigaati egy’Okulaga, egy’okubeeranga mu maaso gange bulijjo.

Ekikondo ky’Ettaala

31 (GW)“Okole ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo n’enduli, ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 32 Kunaabako amatabi mukaaga omutuula emisubbaawa: amatabi asatu nga gali ku ludda lumu, n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 33 Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo ky’ettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ng’ebimuli by’alumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi n’ekimuli. 34 Ku kikondo ky’ettaala kyennnyini kubeeko ebikopo bina ebifaanana ebimuli by’alumondi nga mulimu emitunsi n’ebimuli. 35 Omutunsi gumu gujja kuba wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo, n’omutunsi ogwokubiri gubeere wansi w’amatabi abiri amalala, n’omutunsi ogwokusatu gubeere wansi w’amatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo. 36 Emitunsi n’amatabi biweesebwe mu kyuma kya zaabu omwereere, nga kiri bulambalamba n’ekikondo ky’ettaala.

37 (GX)“Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo. 38 Makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, byonna bikolebwe mu zaabu mwereere. 39 Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako. 40 (GY)Weegendereze, byonna obikole ng’ogoberera ekifaananyi kye nkulaze wano ku lusozi.”

Eweema ya Mukama

26 “Onookola Weema n’emitanda gy’entimbe kkumi, nga girukiddwa mu wuzi eza linena omulebevu alangiddwa n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu. Omutunzi ow’amagezi ennyo akoleremu bakerubi. Emitanda gy’entimbe gyonna gijja kwenkanankana: obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana. Emitanda gy’entimbe etaano onoogigatta wamu, ng’ogisengese gumu ku gunnaagwo, era ne ginnaagyo ettaano ogikole bw’otyo. Otunge eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe ettaano, era okole bw’otyo ne ku ŋŋango ekomererayo mu kitundu ekyokubiri. Otunge eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gw’entimbe ogumu, n’eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe mu kitundu ekikomererayo, eŋŋango ezo nga zoolekaganye. Okole ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okwase wamu emitanda gy’entimbe gyombi n’ebikwaso ebyo, olwo Eweema ya Mukama ebeere wamu nga nnamba.

Eby’okussa mu Weema

“Okole entimbe kkumi na lumu nga zilukiddwa mu bwoya bw’embuzi, ozibikke ku Weema. Entimbe zonna ekkumi n’olumu zijja kwenkanankana obunene: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana. Ogatte entimbe ttaano wamu, n’entimbe omukaaga ozigatte wamu. Olutimbe olw’omukaaga oluwetemu mu maaso g’Eweema. 10 Ojja kutunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ky’entimbe ekimu, ne ku mukugiro gw’olutimbe olukomererayo mu kitundu ekyokubiri. 11 Okole ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, obiyise mu ŋŋango, bikwate ekibikka ku Weema, ebeere wamu nga nnamba. 12 Ekitundu ky’entimbe ekisigaddewo ku masuuka g’ebibikka ku Weema kijja kuleebeetera emabega wa Weema. 13 Entimbe z’ekibikka ku Weema mu mbiriizi zombi ziyise Eweema ya Mukama kitundu kya mita emu mu buwanvu. Ebitundu bino byombi bijja kuleebeetera mu mbiriizi zombi eza Weema nga bigibisse. 14 (GZ)Ekibikka ku Weema okikolereko ekibikkako eky’amaliba g’endiga nga gasiigiddwa erangi emyufu, okwo obikkeko amaliba g’ente ey’omu nnyanja.

15 “Obajje embaawo mu muti gwa akasiya oziyimirize zikole omudaala gw’Eweema kweneetuula. 16 Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya n’ekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 17 Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye n’embaawo zonna. Embaawo zonna ez’omudaala gw’Eweema ya Mukama ozikole bw’otyo. 18 Okole embaawo amakumi abiri ozisse ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema, 19 era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo. 20 Ku ludda olwa bukiikakkono olw’Eweema ya Mukama okolereyo embaawo amakumi abiri, 21 n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri wansi wa buli lubaawo. 22 Okole embaawo mukaaga oziteeke ku ludda olw’emabega, lwe lw’ebugwanjuba bwa Weema; 23 era okole embaawo bbiri ez’okussa ku nsonda ku ludda olwo. 24 Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze n’empeta. 25 Kwe kugamba nti wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.

26 “Osale buliti mu muti gwa akasiya: buliti ttaano ez’okukozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu, 27 ne buliti ttaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, ne buliti ttaano okukozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba. 28 Omulabba guyite wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala. 29 Embaawo ozibikkeko zaabu, era okole empeta eza zaabu ozisibise buliti; ne buliti nazo ozibikkeko zaabu. 30 (HA)Eweema ya Mukama onoogizimba ng’ogoberera ekifaananyi ekyakulagibwa ng’oli ku lusozi.

Eggigi

31 (HB)“Okole eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; era omukozi omukugu atungiremu bakerubi. 32 Oliwanike n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezibajjiddwa mu muti gwa akasiya nga zibikkiddwako zaabu, era nga ziyimiriziddwa mu ntobo eza ffeeza. 33 (HC)Eggigi olinyweze n’ebikwaso; olyoke otereeze Essanduuko ey’Endagaano munda waalyo. Eggigi liryoke lyawule Ekifo Ekitukuvu n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo.[m] 34 (HD)Onosse ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira ku Ssanduuko ey’Endagaano munda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo. 35 (HE)Oddire emmeeza ogisse ku ludda olwa ddyo mu kisenge ebweru w’eggigi mu Weema, n’ettaala ogisse ku ludda olwa kkono ng’eyolekedde emmeeza.

36 “Okole olutimbe lw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa omulungi; nga byonna bitungiddwa bulungi. 37 Olutimbe olukolere empagi ttaano ng’ozibazze mu muti gwa akasiya, ozibikkeko zaabu, n’amalobo gaalwo gabe zaabu; ogiweeseze entobo ttaano ez’ekikomo.”

Ekyoto

27 (HF)“Zimba ekyoto mu miti gya akasiya, obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, n’obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. (HG)Era ku nsonda zaakyo ennya kolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe bibajjiddwa bumu mu muti gumu; ekyoto kyonna olyoke okibikkeko ekikomo. Kola ebbakuli omunaayoolerwanga evvu lyakyo, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni; ebyo byonna nga bikolebwa mu kikomo. Ekyoto kikolere ekitindiro eky’obutimba eky’ebyuma eby’ekikomo; ku nsonda ennya ez’ekitindiro olyoke okolereko empeta nnya ez’ekikomo. Leebeeseza ekitindiro ekyo mu kyoto, nga waggulu kinyweredde ku muziziko ne kireebeeta okukoma wakati ng’ekyoto bwe kikka. Kola emisituliro gy’ekyoto mu muti gwa akasiya, ogibikkeko ekikomo. Emisituliro egyo ogiyingize mu mpeta ennya, gibeere ku njuyi zombi ez’ekyoto nga kibadde kisitulwa okubaako gye kitwalibwa. (HH)Ekyoto kikole n’embaawo, nga wakati kya muwulukwa. Okikole nga bwe kyakulagibwa ku lusozi.

Oluggya

“Eweema ya Mukama gikolere oluggya. Ku ludda olwa ddyo oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, era nga lulina amagigi aga linena omulebevu alangiddwa, 10 n’entobo amakumi abiri n’ebikolo ebikondo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri; nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11 Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.

12 “Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi. 13 Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi. 14 Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu, 15 ne ku ludda olulala nakwo kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.

16 “Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya. 17 Ebikondo byonna mu luggya bibeere n’emikiikiro gya ffeeza, n’amalobo ga ffeeza, n’entobo za kikomo. 18 Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo. 19 Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo.

Amafuta g’Ettaala

20 “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’emizeeyituuni amalungi ennyo ag’okukozesa mu ttaala, eryoke eyakenga obudde bwonna nga tezikira. 21 (HI)Mu kisenge kya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ebweru w’eggigi eribisse Endagaano, awo Alooni ne batabani be we banaabeeranga nga balabirira ettaala eyakirenga awali Mukama okuva olweggulo okutuusa mu makya. Lino libeere tteeka abaana ba Isirayiri lye banaakwatanga emirembe gyonna.”

Ebyambalo by’Obwakabona

28 (HJ)“Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona. (HK)Muganda wo Alooni mutungire ebyambalo ebitukuvu, nga bya kitiibwa era nga birabika bulungi. (HL)Yogera n’abo bonna abasobola, be nawa ekirabo eky’amagezi mu mirimu egyo, bakolere Alooni ebyambalo mw’anaayawulirwa okubeera kabona wange. (HM)Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba, ekkanzu ey’obwakabona okutali mikono ennyimpi eyitibwa ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi; ng’ekoma mu ntumbwe; omunagiro; ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika; ekitambaala; n’olukoba. Bakolere Alooni ne batabani be ebyambalo ebitukuvu balyoke bampeereze nga be bakabona. Abakozi baweebwe ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange.

Ekkanzu eyitibwa Efodi

“Abakozi abakugu bakole ekkanzu ey’obwakabona ennyimpi etaliiko mikono n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. Ebeere n’eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, eryoke egattibwe bulungi. Omusipi gwayo mu kiwato gukolebwe n’amagezi mangi nga aganaakola ekkanzu ey’obwakabona, era n’ebinaakola bifaanagane, ng’ewuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa.

“Oddire amayinja ga onuku abiri, ogalambeko amannya ga batabani ba Isirayiri, 10 amannya mukaaga ku jjinja erimu, n’amannya g’abasigaddewo omukaaga ku jjinja eryokubiri, ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kugenda kuddiriragana. 11 Olambe amannya ga batabani ba Isirayiri ku mayinja ago abiri ng’omusazi w’amayinja bw’ayola akabonero ku jjinja; ogateeke mu fuleemu ogeetoolooze n’emikugiro egya zaabu. 12 Amayinja ago ojja gakwasiza ku by’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, ng’amayinja ag’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri. Alooni asitulenga amannya gaabwe awali Mukama ng’ekijjukizo. 13 Okole fuleemu eza zaabu, 14 n’enjegere bbiri eza zaabu omuka, ozirange ng’emiguwa; olyoke osibire enjegere ez’oku fuleemu.

Ekyomukifuba

15 “Kola ekyomukifuba eky’okutereezanga ensonga, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 16 Kijja kwenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri, okiwetemu wakati. 17 Otungireko ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka osseemu amayinja saasiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 18 ne mu lunyiriri olwokubiri osseemu emalada, ne safiro ne dayamandi; 19 ne mu lunyiriri olwokusatu osseemu jasinta; ne ageti, ne ametisita, 20 ne mu lunyiriri olwokuna osseemu berulo, ne onuku, ne yasipero, ogateeke mu fuleemu ya zaabu. 21 Wabeerewo amayinja kkumi n’abiri, n’amannya gaago ng’amannya g’abatabani ba Isirayiri. Gasalibwe bulungi ng’obubonero obuwoolebwa, nga ku buli limu kulambiddwako erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.

22 “Ekyomukifuba kikolere enjegere ennange ng’emiguwa gya zaabu omuka. 23 Era ekyomukifuba kikolere empeta za zaabu bbiri, oteeke empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 24 Oyise enjegere ebbiri eza zaabu mu mpeta ebbiri eziri ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 25 Oddire enjuuyi ebbiri ezisigaddewo ez’enjegere ozikwasize ku fuleemu ebbiri, ozinywereze mu maaso g’eby’oku bibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 26 Era okole empeta bbiri eza zaabu, ozitunge ku mikugiro gy’eky’omu kifuba ku luuyi olw’omunda oluliraanye ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 27 Era okole empeta bbiri eza zaabu oziteeke mu maaso, mu bitundu ebya wansi eby’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi olw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 28 Empeta ez’oku kyomukifuba zisibwe wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi n’akaguwa aka bbululu, kagattibwe n’olukoba, olw’omu kifuba luleme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.

29 (HN)“Buli kiseera Alooni lw’anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, anaabanga ayambadde amannya ga batabani ba Isirayiri ku kyomukifuba eky’okumala ensonga, nga kiri ku mutima gwe, kibeerenga ekijjukizo awali Mukama. 30 (HO)Mu ky’omu kifuba eky’okumala ensonga, onooteekamu Ulimu ne Sumimu[n], era binaabeeranga ku mutima gwa Alooni buli lw’anaayingiranga awali Mukama. Bw’atyo Alooni anaasitulanga ekkubo omuyitwa okumala ensonga z’abaana ba Isirayiri okumpi n’omutima gwe buli lw’anaagendanga awali Mukama.

Ebyambalo eby’Obwakabona ebirala

31 “Onookola ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, nga kyonna kya bbululu. 32 Waggulu mu makkati gaakyo munaabaamu ekituli omw’okuyisa omutwe; okwetooloola ekituli ekyo kunaabaako omuge omuyonde obulungi ng’omuleera ku kituli ky’omutwe eky’ekkanzu ey’obwakabona, kireme okuyulika. 33 Okwetooloola ebirenge wansi onootungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu; nga mu makkati ga buli langi eziriraanye otobekamu obude obwa zaabu. 34 Ng’otunga amajjolobera n’ozzaako akade, ate n’oddiriza amajjolobera n’ozzaako akade; bw’otyo okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo. 35 Gunaabanga mulimu gwa Alooni okwambala ekyambalo ekyo ng’agenda okuweereza. Obude obwo bunaawulirwanga ng’ayingira mu Kifo Ekitukuvu awali Mukama, ne bw’anaabanga afuluma, aleme okufa.

36 (HP)“Onookola akapande aka zaabu omuka ennyo, okayoleko, nga bwe bayola akabonero, nti,

Mutukuvu wa Mukama.

37 Akapande okasibeko akaguwa aka bbululu, okanywereze ku kitambaala ky’oku mutwe ku ludda olw’omu maaso olw’ekitambaala. 38 (HQ)Akapande ako kanaabeeranga mu kyenyi kya Alooni, era Alooni y’anaabangako obuvunaanyizibwa nga wabaddewo ebitatuuse mu biweebwayo ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga nga bamaze okubyawula ng’ebirabo byabwe ebitukuvu; kanaabeeranga ku kyenyi kye bulijjo, Mukama alyoke akkirize ebirabo ebyo.

39 “Luka ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika mu wuzi eza linena omulebevu, era okole n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu, era okole olukoba ng’olutunzeemu amajjolobera. 40 (HR)Batabani ba Alooni bakolere amakooti, n’emisipi, n’enkuufiira; nga byonna bya kitiibwa era nga birabika bulungi nnyo. 41 (HS)Alooni muganda wo mwambaze ebyambalo ebyo, ne batabani be nabo bw’otyo; olyoke obafukeko amafuta ag’omuzeeyituuni, obaawule, obatukuze, bampeerezenga nga be bakabona.

42 (HT)“Bakolere empale ez’omunda eza linena, nga ziva mu kiwato okukoma mu bisambi, zibikke omubiri gwabwe. 43 (HU)Alooni ne batabani be banaazambalanga nga bajja mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu oba bwe banaasembereranga Ekyoto okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme okwereetako omusango ne bafa.

“Alooni ne batabani be ne bazzukulu be abalimuddirira banaakuumanga etteeka lino nga lya nkalakkalira.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.