Beginning
Katonda ne bakatonda abalala
10 Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. 2 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Temugobereranga makubo g’amawanga
oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,
kubanga amawanga ge byeraliikirira.
3 (B)Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;
batema omuti mu kibira,
omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
4 (C)Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
bagukomerera n’enninga n’ennyondo
guleme okunyeenyanyeenya.
5 (D)Bakatonda bafaanana nga ssemufu
mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
tebayinza kukukola kabi konna,
wadde okukola akalungi n’akamu.”
6 (E)Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
Oli mukulu,
era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
7 (F)Ani ataakutye,
Ayi Kabaka w’amawanga?
Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
tewali ali nga ggwe.
8 (G)Bonna tebalina magezi basirusiru,
abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
9 (H)Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,
ne zaabu eva e Yufazi,
ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze
byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.
Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
10 (I)Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu
11 (J)“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”
12 (K)Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,
n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,
era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
13 (L)Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,
asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba,
era n’aggya empewo mu mawanika ge.
14 Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;
buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.
Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,
era tebiriimu bulamu.
15 (M)Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
16 (N)Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,
ye Mutonzi w’ebintu byonna,
era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Okuzikirira Okujja
17 (O)Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,
mmwe abazingiziddwa.
18 (P)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba nfuumuula abantu
mbaggye mu nsi eno,
era ndibaleetako ennaku
balyoke bawambibwe.”
19 (Q)Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange
ekinnuma ennyo.
Naye ate ne ŋŋamba nti,
“Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
20 (R)Eweema yange eyonooneddwa,
era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.
Tewali n’omu asigaddewo kaakano
kuzimba weema yange
wadde okuzimba ekigango kyange.
21 (S)Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo
tebakyebuuza ku Mukama.
Noolwekyo tebakulaakulana
era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
22 (T)Wuliriza!
Amawulire gatuuse,
waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.
Okusaba kwa Yeremiya
23 (U)Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,
omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
24 (V)Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,
si mu busungu bwo,
si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
25 (W)Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
agatakutwala ng’ekikulu,
ku bantu abatakoowoola linnya lyo.
Kubanga bamazeewo Yakobo,
bamuliiridde ddala
era ne boonoona ensi ye.
Yuda Amenye Endagaano
11 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya. 2 Wuliriza ebigambo by’endagaano eno era yogera n’abantu ba Yuda era n’abo ababeera mu Yerusaalemi. 3 (X)Bagambe nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo by’endagaano eno 4 (Y)bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, okuva mu kikoomi ky’omuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe, 5 (Z)ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo Mukama.”
6 (AA)Mukama n’aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo by’endagaano era mubikole. 7 (AB)Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.” 8 (AC)Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”
9 (AD)Ate Mukama n’aŋŋamba nti, “Waliwo olukwe mu basajja ba Yuda ne mu batuuze b’omu Yerusaalemi. 10 (AE)Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri n’eya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe. 11 (AF)Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza. 12 (AG)Ebibuga bya Yuda n’abantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe n’akamu nga bali mu nnaku. 13 (AH)Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’
14 (AI)“Noolwekyo tosabira bantu bano, tobakaabiririra wadde okubegayiririra kubanga siribawulira mu biro lwe baligwako akabi.
15 “Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ng’ate akoze eby’ekivve?
Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja?
Okola ebibi n’olyoka ojaguza!”
16 (AJ)Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo,
oguliko ebibala ebirungi.
Naye ajja kugukumako omuliro
n’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi,
amatabi gaagwo gakutuke.
17 (AK)Mukama Katonda ow’Eggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zikoze eby’ekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane.
18 Mukama yambikkulira nnamanyisa mu bbanga eryo olukwe lwe baali bansalira. 19 (AL)Nnali ng’omwana gw’endiga gwe batwala okuttibwa. Nnali simanyi nga nze gwe baali balyamu olukwe, nga bagamba nti,
“Ka tuzikirize omuti n’ekibala kyagwo,
ka tumutemere ddala ave ku nsi y’abalamu,
erinnya lye lireme okuddayo okujjukirwa n’akatono.”
20 (AM)Naye ggwe Mukama Katonda ow’Eggye,
alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo,
ka ndabe bw’obawoolera eggwanga,
kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.
21 (AN)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ku basajja b’e Anasosi abanoonya obulamu bwo nga bagamba nti, “Totubuulira bunnabbi mu linnya lya Mukama, tuleme okukutta.” 22 (AO)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, nzija kutta abavubuka n’ekitala; ne batabani baabwe n’abawala bafe enjala. 23 (AP)So tewaliba n’omu alisigalawo, kubanga ndireeta akabi ku basajja b’e Anasosi, mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”
Okwemulugunya kwa Yeremiya
12 (AQ)Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
bwe nkuleetera ensonga yange.
Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.
Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?
Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?
2 (AR)Wabasimba, emirandira ne ginywera,
bakula ne baleeta ebibala.
Tova ku mimwa gyabwe bulijjo
wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.
3 (AS)Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda,
ondaba era otegeera bye nkulowoozaako.
Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa.
Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.
4 (AT)Ensi erikoma ddi okwonooneka,
n’omuddo mu buli nnimiro okukala?
Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi,
ensolo n’ebinyonyi bizikiridde,
kubanga abantu bagamba nti,
“Katonda taalabe binaatutuukako.”
Katonda Addamu
5 (AU)“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro
n’oggwaamu amaanyi
oyinza otya okudduka n’embalaasi?
Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi,
onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?
6 (AV)Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
nabo bennyini bakwefuukidde,
beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.
Tobeesiga
wadde nga bakwogerako bulungi.”
Ennaku ya Mukama olw’Abantu be
7 (AW)“Njabulidde ennyumba yange,
ne ndeka omugabo gwange;
mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala,
mu mikono gy’abalabe baabwe.
8 (AX)Abantu bange be nalonda
banfuukidde ng’empologoma eri mu kibira;
empulugumira,
noolwekyo mbakyaye.
9 (AY)Abantu bange be nalonda
tebanfuukidde ng’ennyonyi erya ginnaazo ey’amabala,
ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba?
Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko
muzireete zirye.
10 (AZ)Abasumba bangi
boonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu,
balinnyiridde ennimiro yange,
ensi yange ennungi bagirese njereere.
11 (BA)Eyonooneddwa efuuse ddungu
esigadde awo ng’enkaabirira.
Ensi yonna efuuse matongo
kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
12 (BB)Abanyazi bazze
batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,
kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya
okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,
awataliiwo n’omu kuwona.
13 (BC)Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa.
Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu.
Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo,
kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”
14 (BD)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo. 15 (BE)Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye. 16 (BF)Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange. 17 (BG)Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.
13 Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.” 2 Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.
3 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri 4 nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.” 5 (BH)Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.
6 Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.” 7 Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, 9 (BI)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi. 10 (BJ)Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa. 11 (BK)Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”
Olugero lw’Ekita
12 “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ 13 (BL)Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. 14 (BM)Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”
Amalala n’Okuswazibwa kwa Yerusaalemi
15 Wuliriza ontegere okutu;
toba na malala,
Mukama y’akyogedde.
16 (BN)Mukama Katonda wo
mugulumize nga tannaleeta kizikiza,
nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi
ezikutte ekizikiza.
Musuubira ekitangaala,
naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa
akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
17 (BO)Naye bwe mutaafeeyo,
emmeeme yange eneekaabira mu kyama
olw’amalala gammwe;
amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini
gakulukuse amaziga
era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.
18 Gamba kabaka era ne namasole nti,
“Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
19 (BP)Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,
tewali n’omu anaabiggulawo;
Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse,
yonna yaakutwalibwa.
20 (BQ)Muyimuse amaaso gammwe
mulabe abo abava mu bukiikakkono.
Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,
endiga ezaabeeyinuzanga?
21 (BR)Muligamba mutya Mukama
bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?
Temulirumwa
ng’omukazi alumwa okuzaala?
22 (BS)Era bwe weebuuza nti,
“Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
23 Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe
oba engo okukyusa amabala gaayo?
Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,
mmwe abaamanyiira okukola ebibi.
24 (BT)“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku
ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
25 (BU)Guno gwe mugabo gwo
gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama,
“kubanga wanneerabira
ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
26 (BV)Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
obwereere bwammwe ne bulabika.
27 (BW)Ndabye obwenzi bwammwe
n’obwamalaaya bwe mukoze.
Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi
era ne mu nnimiro.
Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!
Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.