Beginning
Kuulo Ayamba Abawaŋŋanguse okuddayo
1 (A)Awo mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka w’e Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okukiteeka mu buwandiike nti,
2 (B)“Bw’ati bw’ayogera Kuulo[a] kabaka w’e Buperusi nti,
“ ‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. 3 Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi. 4 (C)Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’ ”
5 (D)Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi[b]. 6 Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde. 7 (E)Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi n’abiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, n’abiggyayo. 8 (F)Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.
9 Guno gwe gwali omuwendo gwabyo:
Esowaani eza zaabu amakumi asatu | 30, |
Esowaani eza ffeeza lukumi | 1,000, |
Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda | 29, |
10 Ebibya ebya zaabu amakumi asatu | 30, |
n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi | 410, |
n’ebintu ebirala lukumi | 1,000. |
11 Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400).
Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.
Olukalala olw’Abawaŋŋangusibwa Abaddayo
2 (G)Bano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe. 2 (H)Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya[c], ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana.
Omuwendo gw’abantu ba Isirayiri gwali:
3 (I)bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
4 bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri (372),
5 bazzukulu ba Ala lusanvu mu nsavu mu bataano (775),
6 bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812),
7 bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
8 bazzukulu ba Zattu lwenda mu ana mu bataano (945),
9 bazzukulu ba Zakkayi lusanvu mu nkaaga (760),
10 bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri (642),
11 bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu (623),
12 bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222),
13 (J)bazzukulu ba Adonikamu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
14 bazzukulu ba Biguvaayi enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga (2,056),
15 bazzukulu ba Adini ebikumi bina mu ataano mu bana (454),
16 bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya kyenda mu munaana (98),
17 bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu (323),
18 bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri (112),
19 bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
20 bazzukulu ba Gibbali kyenda mu bataano (95).
21 (K)Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu (123),
22 abazzukulu ab’e Netofa amakumi ataano mu mukaaga (56),
23 abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana (128),
24 abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri (42),
25 abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu (743),
26 (L)abazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),
27 abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),
28 (M)abazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
29 abazzukulu ab’e Nebo amakumi ataano mu babiri (52),
30 abazzukulu ab’e Magubisi kikumi ataano mu mukaaga (156),
31 abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
32 abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri (320),
33 abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano (725),
34 (N)abazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano (345),
35 n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu (3,630).
36 (O)Bano be bakabona:
bazzukulu ba Yedaya ab’ennyumba ya Yesuwa lwenda mu nsavu mu basatu (973),
37 (P)bazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
38 (Q)bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247),
39 (R)bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
40 (S)Ne bano be Baleevi:
bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana (74).
42 (U)Bano be baakuumanga[e] enzigi za yeekaalu:
bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).
43 (V)Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:
bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
44 bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaka, bazzukulu ba Padoni,
45 bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,
46 bazzukulu ba Kagabu, bazzukulu ba Samulaayi, bazzukulu ba Kanani,
47 bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, bazzukulu ba Leyaya,
48 bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,
49 bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, bazzukulu ba Besayi,
50 bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
51 bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
52 bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
53 bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
54 bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
55 Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani baali:
bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Kassoferesi, bazzukulu ba Peruda,
56 bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
57 bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Ami.
58 (W)Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392).
59 (X)Ne bano be baava mu bibuga eby’e Terumeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddani, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.
60 Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda n’omuwendo gwabwe gwali lukaaga mu amakumi ataano mu babiri (652).
61 (Y)Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,
ne bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya eryo.
62 (Z)Ate waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu. 63 (AA)Omukulembeze n’abalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.
64 Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360), 65 (AB)okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi[f] abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200). 66 (AC)Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245), 67 n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
68 (AD)Awo abakulu b’ennyumba z’abajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda. 69 Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), n’ebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.
70 (AE)Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga enzigi za yeekaalu, n’abakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu n’abamu ku bantu abalala, n’Abayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.
Okuddaabiriza Ekyoto
3 (AF)Omwezi ogw’omusanvu bwe gwatuuka, Abayisirayiri ne bava mu bibuga gye baali, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi nga bali bumu. 2 (AG)Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n’ab’ennyumba ye ne batandika okuzimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri, okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa, mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. 3 (AH)Newaakubadde nga baalina entiisa ey’abamawanga agaali gabeetoolodde, basooka okuzimba ekyoto ku musingi gwakyo ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bawaayo eby’enkya n’eby’akawungeezi. 4 (AI)Era ng’etteeka bwe liri, ne bakwata embaga ey’ensiisira ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng’omuwendo ogwetaagibwa buli lunaku bwe gwali. 5 (AJ)N’oluvannyuma baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli kiseera, omwezi nga gwa kaboneka ne ku buli mbaga zonna ezaatukuzibwa eza Mukama ezaalagirwa, ate n’ekiweebwayo ekya buli muntu eyawaayo eri Mukama ekiweebwayo awatali kuwalirizibwa. 6 Okuva ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu ne batandika okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, newaakubadde ng’omusingi gwa yeekaalu ya Mukama gwali tegunnazimbibwa.
Okuddaabiriza Yeekaalu
7 (AK)Ne bawa abazimbi n’ababazzi ensimbi, ne bawa n’ab’e Sidoni n’ab’e Tuulo ebyokulya n’ebyokunywa n’amafuta, okuleeta emivule okuva mu Lebanooni okugituusa ku nnyanja e Yopa, ng’ekiragiro kya Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe kyali.
8 (AL)Awo mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri nga batuuse awali yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe bakabona n’Abaleevi ne bonna abajja e Yerusaalemi okuva mu buwaŋŋanguse ne batandika omulimu ogw’okuzimba, era ne beerondamu abaali ab’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okusingawo, okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 9 (AM)Awo Yesuwa ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne bazzukulu ba Yuda, nga bayambibwako ne batabani ba Kenedadi n’Abaleevi bonna ne bavunaanyizibwa okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
10 (AN)Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, n’abaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka. 11 (AO)Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza Mukama nga boogera nti,
“Mulungi,
n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.”
Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw’ennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa. 12 (AP)Naye bangi ku bakabona n’Abaleevi abakadde, n’Abakulu b’ebika, abaalaba yeekaalu eyasooka, ne bakaaba nnyo ng’amaloboozi gaabwe gawulikika bwe baalaba ng’omusingi gwa yeekaalu empya guzimbiddwa, newaakubadde ng’abalala bangi baasanyuka nnyo nga bwe baleekaana; 13 (AQ)nga si kyangu okwawula amaloboozi g’abo abaali bakaaba n’abaali basanyuka, kubanga abantu bonna baawowogana mu ddoboozi ery’omwanguka, era n’amaloboozi gaabwe ne gawulirwa wala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.