Beginning
Ennyumba ya Dawudi
3 (A)Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni:
Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri;
owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;
2 (B)owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli;
n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.
3 Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali
n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.
4 (C)Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu, 5 (D)era bano be baana be yazaalira eyo:
Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.
6 N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti, 7 ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, 8 ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.
9 (E)Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.
Olulyo lwa Sulemaani
10 (F)Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu,
ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu,
ne Asa nga ye mutabani wa Abiya,
ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa,
11 (G)ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati,
ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu,
ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya,
12 (H)Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi,
ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya,
ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.
13 (I)Akazi yali mutabani wa Yosamu,
ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi,
ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.
14 (J)Amoni yali mutabani wa Manase,
ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni.
15 (K)Batabani ba Yosiya baali
Yokanaani omuggulanda,
ne Yekoyakimu ye yali owookubiri,
ne Zeddekiya nga wa wakusatu,
ne Sallumu nga wakuna.
16 (L)Batabani ba Yekoyakimu baali
Yekoniya
ne Zeddekiya.
Olulyo Olulangira Oluvannyuma lw’Okuva mu Buwaŋŋanguse
17 (M)Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba:
Seyalutyeri mutabani we, 18 (N)ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya.
19 (O)Batabani ba Pedaya baali
Zerubbaberi ne Simeeyi.
Batabani ba Zerubbaberi baali
Mesullamu ne Kananiya,
ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe. 20 N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi.
21 Batabani ba Kananiya baali
Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya.
22 (P)Ab’olulyo lwa Sekaniya baali
Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga.
23 Batabani ba Neyaliya baali
Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.
24 Batabani ba Eriwenayi baali
Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu.
Ebika Ebirala ebya Yuda
4 (Q)Bazzukulu ba Yuda abalala baali
Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.
2 Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.
3 Ne bano, be baali baganda ba Etamu,
ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi. 4 (R)Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.
Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.
5 (S)Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.
6 Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.
7 Keera n’amuzaalira
Zeresi, ne Izukali, ne Esumani 8 ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9 Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.” 10 Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.
11 Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni. 12 Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.
13 (T)Batabani ba Kenazi baali
Osuniyeri ne Seraya.
Batabani ba Osuniyeri baali
Kasasi ne Myonosaayi. 14 Myonosaayi n’azaala Ofula.
Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.
15 Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali
Iru, ne Era ne Naamu.
Ne Era n’azaala
Kenazi.
16 Batabani ba Yekalereri baali
Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.
17 (U)Batabani ba Ezula baali
Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni.
Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa. 18 (V)Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.
Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.
19 (W)Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu
era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.
20 Batabani ba Simoni baali
Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi.
N’ab’ennyumba ya Isi baali
Zokesi ne Benizokesi.
21 (X)Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali
Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,
22 Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). 23 Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.
Ekika kya Simyoni
24 (Y)Batabani ba Simyoni baali
Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.
25 Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.
26 Mutabani wa Misuma yali
Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.
27 Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda. 28 (Z)Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali, 29 (AA)ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi, 30 (AB)ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi, 31 (AC)ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. 32 (AD)Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano, 33 n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.
Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.
34 Mesobabu, ne Yamulaki,
ne Yosa mutabani wa Amonya; 35 ne Yoweeri,
ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.
36 Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,
ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,
37 ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.
38 Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.
Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo. 39 (AE)Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe. 40 (AF)Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.
41 (AG)Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe. 42 (AH)Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi. 43 (AI)Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.
Ekika kya Lewubeeni
5 (AJ)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye. 2 (AK)Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu. 3 (AL)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali:
Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
4 Ab’enda ya Yoweeri baali
Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we,
ne Simeeyi muzzukulu we. 5 Mikka yali mutabani wa Simeeyi,
ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we.
6 (AM)Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.
7 (AN)Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano:
Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya, 8 (AO)Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri.
Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni. 9 (AP)Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.
10 (AQ)Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.
Ekika kya Gaadi
11 (AR)Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.
12 Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani.
13 Baganda baabwe mu nda z’abajjajjaabwe bwe baali
Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu.
14 Bano be baali ab’omu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi.
15 Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu w’ennyumba yaabwe.
16 Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.
17 (AS)Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri.
18 (AT)Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana. 19 (AU)Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu. 20 (AV)Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo. 21 Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi. 22 (AW)Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.
Ekitundu ky’Ekika kya Manase
23 (AX)Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.
24 Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe. 25 (AY)Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. 26 (AZ)Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.