Beginning
Omutwe gw’Embazzi ogwali gubuze guzuulibwa
6 (A)Awo ekibiina kya bannabbi ne bagamba Erisa nti, “Laba, ekifo we tukuŋŋaanira wafunda nnyo. 2 Leka tulage ku lubalama lwa Yoludaani, buli omu ku ffe atemeyo omuti gumu, twezimbire ekifo ekigazi mwe tuyinza okubeera.” N’abagamba nti, “Mugende.”
3 Awo omu ku bo n’amubuuza nti, “Toogende n’abaddu bo?”
N’addamu nti, “Nzija kugenda nammwe.” 4 N’agenda nabo.
Ne baserengeta ne balaga ku Yoludaani, ne batandika okutema emiti. 5 Naye omu ku bo bwe yali ng’atema omuti, omutwe gw’embazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!”
6 (B)Awo omusajja wa Katonda n’amubuuza nti, “Yagudde wa?” Bwe yamulaga ekifo, Erisa n’atema akati, n’akakanyuga mu kifo ekyo, ekyuma ne kiva wansi ne kiseeyeeya kungulu ku mazzi. 7 Erisa n’amugamba nti, “Giggyeemu.” Omusajja n’agiggyamu.
Erisa Aziba Amaaso g’Abasuuli
8 Awo olwatuuka kabaka wa Busuuli yali atabadde Isirayiri, ne yeebuza ku baserikale be ng’agamba nti, “Kifo ki mwe ndikuba olusiisira lwange?” 9 (C)Naye mu kiseera kye kimu omusajja wa Katonda n’aweereza kabaka wa Isirayiri obubaka nti, “Weegendereze obutayita mu kifo gundi, kubanga Abasuuli bajja kubeerayo.” 10 (D)Awo kabaka wa Isirayiri n’atuma bakebere mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yayogerako. Era bulijjo Erisa yamulabulanga, kabaka n’awona si mulundi gumu so si ebiri.
11 Ekyo kyanyiiza nnyo kabaka wa Busuuli, era n’ayita abaserikale be, n’ababuuza nti, “Muntegeeze, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?” 12 (E)Omu ku bo n’amuddamu nti, “Tewali n’omu ku ffe mukama wange kabaka, naye Erisa nnabbi ali mu Isirayiri, y’ategeeza kabaka wa Isirayiri, ebigambo by’oyogerera mu kisenge kyo.” 13 (F)Kabaka n’alagira nti, “Mugende mulabe w’ali, ndyoke ntume abasajja bamukwate.” Ne bakomyawo obubaka nti, “Ali mu Dosani.” 14 (G)Amangwago n’asindika embalaasi, n’amagaali, n’eggye ery’amaanyi, ne bajja mu kiro ne bazingiza ekibuga.
15 Omuweereza ow’omusajja wa Katonda bwe yazuukuka ku makya n’afuluma ebweru, laba, eggye eririna embalaasi, n’amagaali nga lyetoolodde ekibuga. Omuweereza n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange tunaakola tutya?”
16 (H)Nnabbi n’addamu nti, “Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”
17 (I)Awo Erisa n’asaba ng’agamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama n’azibula amaaso ag’omuweereza, laba ng’ensozi zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro nga geetoolodde Erisa.
18 (J)Abalabe bwe baaserengeta okulumba Erisa, n’asaba Mukama, n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, ozibe amaaso g’abantu bano.” N’aziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yamusaba.
19 Erisa n’abagamba nti, “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga. Mungoberere, mbatwale eri omusajja gwe munoonya.” N’abakulemberamu n’abatwala e Samaliya. 20 Olwayingira mu kibuga, n’asaba Mukama nti, “Zibula amaaso g’abasajja bano, balabe.” Mukama n’azibula amaaso gaabwe, ne batunula, laba nga bali mu Samaliya wakati.
21 (K)Awo kabaka wa Isirayiri bwe yabalaba, n’abuuza Erisa nti, “Kitange, mbatte? Mbatte?” 22 (L)N’amuddamu nti, “Tobatta. Oyinza okutta abo b’owambye n’ekitala kyo, n’omutego gw’akasaale? Bategekere emmere n’amazzi, balye n’okunywa banywe, n’oluvannyuma obasindike baddeyo eri mukama waabwe.” 23 (M)N’abateekerateekera embaga nnene, era bwe baamala okulya n’okunywa, n’abasindika ne baddayo eri mukama waabwe. Abasuuli okwo kwe baakoma okulumba ensi ya Isirayiri.
Enjala egwa mu Kibuga ekizingize, Samaliya
24 (N)Bwe waayitawoko ebbanga, Benikadadi kabaka w’e Busuuli, n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’alumba n’azingiza Samaliya. 25 (O)Ne waba enjala nnyingi nnyo mu kibuga olw’okuzingiza okwo, omutwe gw’endogoyi[a] ne gutundibwanga kilo emu eya ffeeza, n’ekimu ekyokuna eky’ekibya eky’obusa bw’enjiibwa ne kitundibwanga gulaamu ataano mu ttaano eza ffeeza.
26 Awo kabaka wa Isirayiri yali ayita okumpi ne bbugwe, omukazi omu n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Nnyamba mukama wange kabaka!”
27 Kabaka n’amuddamu nti, “Mukama bw’ataakuyambe, nze nnaakuyamba ntya? Obuyambi nnaabuggya mu gguuliro oba mu ssogolero?” 28 Era kwe ku mubuuza nti, “Mutawaana ki?”
Omukazi n’amuddamu nti, “Omukazi ono gw’olaba yateesezza nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye leero, enkya tulye owange.’ 29 (P)Ne nzikiriza, ne tufumba owange ne tumulya. Enkeera ne mugamba nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye,’ naye amukwese.”
30 (Q)Kabaka bwe yawulira ebigambo by’omukazi oyo, n’ayuza ebyambalo bye. Bwe yali ng’atambula ku bbugwe, abantu ne bamulengera, laba ng’ayambadde ebibukutu wansi w’ebyambalo bye. 31 N’ayogera nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabeera ku bibegabega bye leero!”
32 (R)Mu kiseera kye kimu ekyo, Erisa yali atudde mu nnyumba ye nga n’abakadde batudde wamu naye, kabaka n’atuma omubaka okumukulemberamu, naye omubaka oyo bwe yali tannatuuka, Erisa n’agamba abakadde nti, “Mulaba omutemu oyo bw’atumye omuntu okuntemako omutwe? Laba, omubaka ajja, muggaleewo oluggi mulunyweze so temumukkiriza kuyingira. Ebigere bya mukama we tebiri mabega we, tamuvaako mabega?”
33 (S)Awo Erisa bwe yali ng’akyayogera nabo, omubaka n’atuuka, n’ayogera nti, “Akabi kano kavudde eri Mukama. Lwaki nnindirira Mukama nate?”
7 (T)Naye Erisa n’agamba nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, Jjo obudde nga buno ekigero ky’obutta obulungi ekyenkana lita omusanvu ne desimoolo ssatu kiritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ebigero bibiri ebya sayiri bitundibwe gulaamu kkumi n’emu ebweru wa wankaaki w’e Samaliya.”
2 (U)Awo omukungu kabaka gwe yeesigamangako n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Mukama ne bw’anakuba ebituli mu ggulu, ekyo tekiyinzika kubaawo.” Erisa n’amuddamu nti, “Ekyo olikiraba n’amaaso go, naye tolibaako na kimu ky’olyako ku byo.”
Abasuuli Badduka
3 (V)Waaliwo abasajja bana abaagengewala[b] abaabeeranga ku mulyango gwa wankaaki w’ekibuga. Ne bagambagana bokka ne bokka nti, “Kiki ekitutuuza wano okutuusa okufa? 4 Bwe tunaagamba nti, ‘Tuyingire mu kibuga,’ enjala gy’eri, era tunaafiirayo; ate bwe tusigala wano, era nawo tujja kufiirawo. Noolwekyo tulage mu nkambi y’Abasuuli, bwe banaatusaasira, tunaaba balamu, bwe banaatutta, kale kinaaba bwe kityo.”
5 Awo ekiro mu ttumbi ne bagolokoka ne balaga mu lusiisira lw’Abasuuli. Naye bwe baatuuka mu kitundu ekisembayo eky’olusiisira, tewaali muntu n’omu. 6 (W)Mukama yalowozesa eggye ly’Abasuuli nti kabaka wa Isirayiri yali apangisizza bakabaka b’Abakiiti n’ab’Abamisiri okujja okumulwanirira, bwe lyawulira eddoboozi ly’amagaali n’eddoboozi ly’embalaasi. 7 (X)Ne bagolokoka ne badduka okuva mu nkambi yaabwe amatumbibudde ne baleka awo eweema zaabwe, n’embalaasi zaabwe n’endogoyi zaabwe, ne badduka okuwonya obulamu bwabwe.
8 (Y)Abagenge bwe baatuuka ku nkambi w’ekoma, ne bayingira mu emu ku weema, ne balya ne banywa era ne beetikka n’effeeza ne zaabu n’engoye, ne bagenda ne babikweka. N’oluvannyuma ne bakomawo, ne bayingira mu weema endala, ne baggyayo ebyalimu, ne bagenda ne babikweka nabyo.
9 Awo ne bagambagana nti, “Kye tukola si kituufu. Luno olunaku lwa bigambo birungi; bwe tunaasirika ne tulinda okutuusa enkya, tujja kubonerezebwa. Noolwekyo tugende tutegeeze ab’omu nju ya kabaka.”
10 Awo ne bagenda ne bakoowoola abakuumi ba wankaaki w’ekibuga, ne boogera nti, “Twalaze mu nkambi y’Abasuuli ne tutasangayo muntu n’omu okuggyako embalaasi nga zisibiddwa, n’endogoyi nga zisibiddwa, n’eweema nga ziri nga bwe baazirese.” 11 Abakuumi ne balangirira amawulire ago, n’ab’omu lubiri ne bakiwulira.
12 (Z)Kabaka n’agolokoka mu kiro ekyo, n’agamba abakungu be nti, “Ka mbategeeze Abasuuli kye bategese okutukola. Bamanyi nga tuli bayala; era bavudde mu nkambi yaabwe ne bagenda okwekweka ku ttale, nga balowooza nti, ‘Mazima ddala bajja kuvaayo, n’oluvannyuma tunaabawamba nga balamu, tulyoke tuyingire mu kibuga.’ ”
13 Awo omu ku bakungu be n’aleeta ekirowoozo nti, “Ffuna abasajja bagende n’embalaasi ttaano ku ezo ezisigaddewo, kubanga bali ng’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekisigaddewo; baliba ng’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekimaliddwawo. Ka tubasindikeyo bagende balabe ekiriyo.”
14 Awo ne balonda abeebagala embalaasi babiri n’embalaasi zaabwe, kabaka n’abatuma okuwondera eggye ly’Abasuuli, ng’abagamba nti, “Mugende mulabe.” 15 Ne babawondera okutuukira ddala ku Yoludaani, ne basanga ng’ekkubo lyonna lijjudde engoye n’ebintu ebirala Abasuuli bye baasuula nga badduka. Awo ababaka ne bakomawo eri kabaka ne bamutegeeza bye baalaba.
Okunyaga mu Nkambi y’Abasuuli
16 (AA)Awo abantu ne bafuluma, ne bakaliza olusiisira lw’Abasuuli. Ekigero ky’obutta obulungi ekyenkana lita musanvu ne desimoolo ssatu ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ebigero bibiri ebya sayiri ne bitundibwa gulaamu kkumi n’emu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
17 (AB)Kabaka yali alonze omukungu we oli gwe yeesigamangako, okuvunaanyizibwa wankaaki, abantu ne bamulinnyiririra mu mulyango, n’afa, ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, mu kiseera kabaka bwe yalaga ewuwe. 18 Bwe kityo bwe kyali kubanga omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti, “Jjo essaawa nga zino ebigero bibiri ebya sayiri biritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ekigero ky’obutta obulungi ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, mu wankaaki ya Samaliya,” 19 (AC)omukungu oyo, yaddamu omusajja wa Katonda nti, “Laba, Mukama ne bwaggulawo ebituli eby’omu ggulu, tekiyinzika kubaawo.” Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Olikiraba n’amaaso go, naye toliryako na kimu.” 20 Era bwe kityo bwe kyali ekyamutuukako, abantu bwe bamulinnyiririra mu wankaaki, n’afa.
Omukyala Omusunammu Addizibwa Ebibye
8 (AD)Mu biro ebyo Erisa n’agamba omukazi gwe yazuukiriza mutabani we nti, “Golokoka ove wano ogende n’ab’omu nnyumba yo bonna mu nsi gy’oliyinza okubeeramu, kubanga Mukama alireeta ekyeeya mu nsi okumala emyaka musanvu.” 2 Omukazi n’asitukiramu n’akola ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, n’alaga ye n’ab’omu nnyumba ye mu nsi y’Abafirisuuti[c] okumala emyaka musanvu.
3 Oluvannyuma lw’emyaka omusanvu, n’akomawo okuva mu nsi y’Abafirisuuti, n’alaga eri kabaka okumwegayirira addizibwe ekibanja kye n’ennyumba ye. 4 Mu kiseera ekyo kye kimu kabaka yali anyumyamu ne Gekazi omuweereza w’omusajja wa Katonda, nga kabaka amugambye nti, “Ntegeeza ebintu ebikulu byonna Erisa by’akoze.” 5 (AE)Awo Gekazi bwe yali ng’akyanyumiza kabaka, engeri Erisa bwe yazuukiza abafu, omukazi eyali ne mutabani we, Erisa gwe yazuukiza n’atuuka, okwegayirira kabaka ng’asaba ekibanja kye n’ennyumba ye. Gekazi n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka, ono ye mukazi, era ne mutabani we Erisa gwe yazuukiza y’oyo.” 6 Awo kabaka bwe yabuuza omukazi, n’amutegeeza nti bwe kyali. N’alyoka alagira omu ku bakungu amutereereze ensonga ze; n’amugamba nti, “Muddize buli kintu kyonna ekikye, n’obusuulu bwonna obwa kuŋŋaanyizibwa okuva mu kibanja kye okuva ku lunaku lwe yakivaamu okutuusa kaakano.”
Kazayeeri Atta Benikadadi
7 (AF)Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,” 8 (AG)n’agamba Kazayeeri nti, “Ffuna ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, weebuuze ku Mukama ng’oyita mu ye oba, ndiwona endwadde eno.”
9 Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko[d], ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’ ” 10 (AH)Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.” 11 (AI)N’amutunuulira n’amaaso ag’enkaliriza, okutuusa Kazayeeri bwe yakwatibwa ensonyi, omusajja wa Katonda n’atandika okukaaba.
12 (AJ)Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.” 13 (AK)Awo Kazayeeri n’addamu nti, “Nze ani omuddu wo, embwa obubwa, ayinza okukola ekintu ng’ekyo?” Erisa n’amuddamu nti, “Mukama akimbikulidde nti ggwe ogenda okubeera kabaka w’e Busuuli.” 14 Awo n’ava mu maaso ga Erisa, n’addayo eri mukama we. Benikadadi n’amubuuza nti, “Erisa yakugambye ki?” Kazayeeri n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti eky’amazima ojja kuwona.” 15 (AL)Naye olunaku olwaddirira, enkeera, n’addira ekiwero ekinene, n’akinnyika mu mazzi, n’akibikka ku maaso ga kabaka, okutuusa bwe yafa. N’oluvannyuma Kazayeeri n’alya obwakabaka mu kifo kye.
Yekolaamu, Kabaka wa Yuda
16 (AM)Mu mwaka ogwokutaano nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati, kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda. 17 Yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri, we yaliira obwakabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 18 (AN)Yekolaamu n’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, n’okuwasa n’awasa omu ku bawala ba Akabu. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama. 19 (AO)Naye Mukama n’atazikiriza Yuda, ku lwa Dawudi omuddu we, gwe yasuubiza nti alireka ettabaaza ye ng’eyaka n’okutuusa ku bazzukulu be emirembe gyonna.
20 (AP)Mu mirembe gya Yekolaamu, Edomu ne bajeemera obufuzi bwa Yuda, ne bassaawo kabaka owaabwe. 21 Awo Yekolaamu[e] n’asomoka n’agenda e Zayiri n’amagaali ge, n’agolokoka mu kiro n’abaduumizi be ne batta Abayedomu abaali bamuzingizza, olwo eggye lye ne lidduka okuddayo ewaabwe. 22 (AQ)Okuva mu kiseera ekyo Edomu n’ajeemera obufuzi bwa Yuda n’okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu kiseera kye kimu ab’e Libuna nabo ne bajeema.
23 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekolaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 24 Yekolaamu n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Akaziya mutabani we n’amusikira.
Akaziya, Kabaka wa Yuda
25 (AR)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda. 26 (AS)Akaziya yalina emyaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka, n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Asaliya[f], muzzukulu wa Omuli kabaka wa Isirayiri. 27 (AT)N’atambulira mu makubo ga b’ennyumba ya Akabu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ab’omu nnyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.
28 (AU)Akaziya n’agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi, era eyo Abasuuli ne bafumitirayo Yolaamu, n’afunirayo ebiwundu. 29 (AV)Awo kabaka Yolaamu n’addayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ng’ali e Lama, bwe yali ng’alwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’aserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.