Beginning
15 (A)Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Mukama nze gwe yatuma okukufukako amafuta okuba kabaka w’abantu be Isirayiri, noolwekyo wuliriza obubaka obuva eri Mukama Katonda. 2 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, ‘Ndibonereza Abamaleki olw’ekyo kye baakola Isirayiri bwe baabateega nga bayambuka okuva mu Misiri. 3 (C)Kaakano genda olumbe Abamaleki obazikiririze ddala, n’ebintu byabwe byonna. Tobasaasira, otta abasajja n’abakazi, abaana n’abato ddala, ente, n’endiga, n’eŋŋamira n’endogoyi.’ ”
4 Awo Sawulo n’akuŋŋaanya abasajja, n’ababalira e Terayimu, nga bawera abaserikale ab’ebigere emitwalo amakumi abiri, n’abalala omutwalo gumu okuva mu Yuda. 5 Sawulo n’asemberera ekibuga kya Amaleki n’abateegera mu kiwonvu. 6 (D)N’agamba Abakeeni nti, “Muve mu Bamaleki mugende nneme okubazikiririza awamu nabo, kubanga mwakolera Abayisirayiri bonna ebyekisa bwe bayambuka okuva mu Misiri.” Abakeeni ne basenguka okuva mu Bamaleki.
7 (E)Awo Sawulo n’alumba Abamaleki okuviira ddala e Kavira okutuuka e Ssuuli, ekiri ebuvanjuba w’e Misiri. 8 (F)N’awamba Agagi kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiririza ddala n’ekitala. 9 (G)Era Sawulo n’eggye ne baleka Agagi nga mulamu, era endiga n’ente, n’ennyana n’abaana b’endiga n’ebyassava, n’ebyo byonna bye baalaba nga bya muwendo, ne batabizikiririza ddala. Naye ebirala byonna ebitaali bya muwendo nga binyoomebwa oba nga binafu, ne babizikiririza ddala.
10 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Samwiri nti, 11 (H)“Nejjusizza okufuula Sawulo kabaka, kubanga avudde kukungoberera, n’atakolera ku biragiro byange.” Samwiri n’anyolwa nnyo, n’akabira Mukama ekiro kyonna.
12 (I)Enkeera ku makya Samwiri n’agolokoka n’agenda okusisinkana Sawulo, naye ne bamutegeeza nti, “Sawulo yazze e Kalumeeri gye yeezimbidde ekijjukizo, kyokka kaakano avuddeyo n’aserengeta e Girugaali.”
13 Awo Samwiri bwe yamutuukako, Sawulo n’ayogera nti, “Mukama akuwe omukisa. Ngoberedde ebiragiro bya Mukama.” 14 Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Ate okubejjagala okw’endiga n’okuŋooŋa kw’ente bye mpulira biva wa?” 15 Sawulo n’amuddamu nti, “Abaserikale baaziggye ku Bamaleki. Baaleseewo ente n’endiga ezisinga obulungi okuba ebiweebwayo eri Mukama Katonda wo, naye ebirala byonna twabizikiririzza ddala.”
16 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Sirika! Ka nkutegeeze Mukama kye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n’amuddamu nti, “Ntegeeza.” 17 (J)Samwiri n’amugamba nti, “Newaakubadde nga wali weeraba ng’oli mutono, tewafuuka mukulu wa bika bya Isirayiri? Mukama yakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. 18 Naakutuma omulimu, ng’agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lw’olibamalirawo ddala.’ 19 (K)Lwaki tewagondedde ddoboozi lya Mukama? Lwaki mwalulunkanidde omunyago ne mukola ekibi mu maaso ga Mukama?”
20 (L)Sawulo n’addamu Samwiri nti, “Nagondedde eddoboozi lya Mukama, era nagenze ku mulimu Mukama gwe yantumye. Nazikiririzza ddala Abamaleki era ne ndeeta Agagi kabaka waabwe. 21 Abaserikale baatute endiga n’ente, ebisinga obulungi ku ebyo ebyali biteekeddwa okuzikirizibwa, babiweeyo eri Mukama Katonda wo e Girugaali.”
22 (M)Naye Samwiri n’amugamba nti,
“Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka,
okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama?
Okugonda kusinga ssaddaaka,
era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume.
23 (N)Kubanga obujeemu buli ng’ekibi eky’okusamira,
era n’obukakanyavu buli ng’ekibi eky’okusinza bakatonda abalala.
Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama,
naye akugaanye okuba kabaka.”
24 (O)Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya Mukama era n’ebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe. 25 (P)Kaakano nkusaba, osonyiwe ekibi kyange, okomewo nange nsobole okusinza Mukama.”
26 (Q)Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Sijja kuddayo naawe kubanga ovudde ku kigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanye okuba kabaka wa Isirayiri.” 27 (R)Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, Sawulo n’akwata ekirenge ky’ekyambalo kye, ne kiyulika. 28 (S)Samwiri n’amugamba nti, “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isirayiri leero, n’abuwa omu ku baliraanwa bo akusinga. 29 (T)Oyo ayitibwa Ekitiibwa kya Isirayiri talimba ate takyusakyusa kirowoozo kye, kubanga si muntu nti anaakyusa ekirowoozo kye.”
30 (U)Sawulo n’addamu nti, “Nyonoonye, naye nzisaamu ekitiibwa mu maaso g’abakadde b’abantu bange, ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange, nsinze Mukama Katonda wo.” 31 Awo Samwiri n’addayo ne Sawulo, Sawulo n’asinza Mukama.
32 Samwiri n’alagira nti, “Mundeetere Agagi kabaka w’Abamaleki.”
Agagi n’ajja gy’ali ng’akankana naye ng’agamba mu mutima gwe nti, “Mazima ddala obubalagaze bw’okufa buyise.”
33 (V)Naye Samwiri n’ayogera nti,
“Ng’ekitala kyo bwe kyaleetera abakazi abangi obutaba na baana,
ne nnyoko talibeera na mwana.”
Awo Samwiri n’atemaatema Agagi n’amuttira mu maaso ga Mukama e Girugaali.
34 (W)Samwiri n’alyoka agenda e Laama, naye Sawulo ye n’agenda ewuwe mu Gibea ekya Sawulo. 35 (X)Samwiri yanakuwala nnyo olwa Sawulo, era teyaddayo kulabagana ne Sawulo okutuusa Samwiri lwe yafa. Mukama n’anyolwa olw’okufuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.
Samwiri Afuka Amafuta ku Dawudi
16 (Y)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.”
2 Naye Samwiri n’ayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bw’anakiwulira ajja kunzita.” Mukama n’amugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’ 3 (Z)Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga eky’okukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.”
4 (AA)Samwiri n’akola ekyo Mukama kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu b’ekibuga ne bakankana olw’okutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?” 5 (AB)N’abaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” N’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita okujja okuwaayo ssaddaaka.
6 (AC)Bwe baatuuka n’atunuulira Eriyaabu, n’alowooza nti, “Mazima Mukama ono gw’afuseeko amafuta, era y’ayimiridde kaakano mu maaso ga Mukama.” 7 (AD)Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”
8 (AE)Awo Yese n’ayita Abinadaabu, n’amuyisa mu maaso ga Samwiri. Naye Samwiri n’ayogera nti, “Oyo naye Mukama si gw’alonze.” 9 Yese n’ayita Samma n’amusimbawo, naye Samwiri n’ayogera nti, “Era n’oyo Mukama si gw’alonze.” 10 Yese n’ayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’amugamba nti, “Ku bo tekuli n’omu Mukama gw’alonze.” 11 (AF)N’abuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese n’addamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri n’agamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja.”
12 (AG)N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.” 13 (AH)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.
Dawudi Aweereza Sawulo
14 (AI)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga.
15 Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca. 16 (AJ)Mukama waffe alagire abaweereza be kaakano okumunoonyeza omuntu asobola okukuba entongooli. Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaabanga gukusseeko, bw’anagikubanga n’oddamu endasi, onoowuliranga bulungi n’okkakkana.”
17 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Munfunireyo omuntu asobola okukuba entongooli obulungi, mumundeetere.” 18 (AK)Omu ku baweereza n’addamu nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu gwe nalaba asobola okukuba entongooli obulungi. Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate Mukama Katonda ali wamu naye.” 19 Awo Sawulo n’atuma ababaka eri Yese, ng’agamba nti, “Mpeereza mutabani wo Dawudi, alabirira endiga.” 20 (AL)Yese n’addira endogoyi n’agitikka emigaati, n’eccupa y’envinnyo n’omwana gw’embuzi, n’abiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo.
21 (AM)Dawudi n’atuuka eri Sawulo, n’afuuka omu ku baweereza be. Sawulo n’amwagala nnyo, era n’amufuula omu ku abo abaasitulanga ebyokulwanyisa bye. 22 Awo Sawulo n’atumira Yese ng’agamba nti, “Kkiriza Dawudi asigale ng’omu ku baweereza bange, kubanga nsiimye by’ankolera.”
23 (AN)Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako.
Dawudi ne Goliyaasi
17 (AO)Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe e Soko ekya Yuda okulwana. Ne basiisira mu Efusudammimu ekiri wakati wa Soko ne Azeka. 2 (AP)Sawulo n’Abayisirayiri nabo ne bakuŋŋaana, bo ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n’Abafirisuuti. 3 Abafirisuuti ne bayimirira ku luuyi olumu olw’olusozi, n’Abayisirayiri ne bayimirira ku luuyi olulala olw’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu.
4 (AQ)Mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne muva essajja eddene nga lizira erinnya lyalyo Goliyaasi[a], ery’e Gaasi, ng’obuwanvu bwalyo lyali mita ssatu n’okusingawo. 5 Lyalina enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe gwalyo, nga lyambadde n’ekizibaawo eky’ekikomo, n’obuzito bwakyo bwali kilo ataano mu musanvu. 6 (AR)Lyali lyambadde eby’ebikomo ku magulu gaalyo, nga lirina effumu ery’ekikomo ku kibegabega kyalyo. 7 (AS)N’olunyago lw’effumu lyalyo lwali ng’omuti ogulukirwako engoye, n’omutwe gw’effumu ogw’ekyuma ng’obuzito bwagwo kilo musanvu. Eyasitulanga engabo ye yamukulemberangamu.
8 (AT)Awo Goliyaasi n’ayimirira n’aboggolera eggye lya Isirayiri nti, “Lwaki mwetegeka okulwana? Siri Mufirisuuti, ate mmwe temuli baddu ba Sawulo? Mulonde omusajja mu mmwe aserengete gye ndi. 9 Bw’anannwanyisa n’anzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.” 10 (AU)Era Omufirisuuti n’ayongera okwogera nti, “Leero, nsomooza eggye lya Isirayiri! Mumpeeyo omusajja tulwane.” 11 Sawulo ne Isirayiri yenna bwe baawulira ebigambo eby’Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo.
12 (AV)Dawudi yali mutabani wa Yese Omwefulasi ow’e Besirekemu mu Yuda. 13 (AW)Yese yalina abaana munaana aboobulenzi, era mu biro ebyo ebya Sawulo yali akaddiye nnyo.
Batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagenze ne Sawulo mu lutalo. Omukulu ye yali Eriyaabu, owookubiri nga ye Abinadaabu, n’owookusatu nga ye Samma. 14 Dawudi ye yali omuto. Abasatu ne bagenda ne Sawulo, 15 (AX)naye Dawudi n’addiŋŋananga ng’ava mu kulunda endiga za kitaawe e Besirekemu, ng’agenda ewa Sawulo.
16 Omufirisuuti n’amala ennaku amakumi ana ng’asoomooza Abayisirayiri enkya n’akawungeezi. 17 (AY)Yese n’agamba mutabani we Dawudi nti, “Kwata ekkilo zino amakumi abiri ez’eŋŋaano ensiike n’emigaati gino ekkumi, oyanguwe okubitwalira baganda bo mu lusiisira lwabwe. 18 (AZ)Ate ne bino ebitole ekkumi eby’amata (kiizi[b]) bitwalire omuduumizi w’ekibinja kyabwe. Olabe baganda bo nga bwe bali okomyewo obubaka obunaatugumya. 19 Bali ne Sawulo n’abasajja ba Isirayiri bonna mu kiwonvu Era, balwana n’Abafirisuuti.”
20 Enkeera Dawudi n’agolokoka mu makya nnyo, endiga n’azirekera omusumba, n’ateekateeka ebintu bye yali atwala, n’agenda nga Yese bwe yamulagira. We yatuukira mu lusiisira, ng’eggye ligenda mu ddwaniro nga lirangirira olutalo. 21 Isirayiri n’Abafirisuuti baali basimbye ennyiriri, buli ggye nga lyolekedde linnaalyo. 22 Dawudi n’alekera omukuumi w’ebikozesebwa ebintu bye, n’adduka n’agenda eri eggye, n’alamusa ku baganda be. 23 (BA)Awo bwe yali ng’aky’anyumya nabo, Goliyaasi, Omufirisuuti omuzira ow’e Gaasi, ne yeesowolayo okuva mu ggye ly’Abafirisuuti n’asoomooza Abayisirayiri mu bigambo bye bimu bye yayogeranga. Dawudi n’amuwulira. 24 Awo Abayisirayiri bwe baalaba omusajja ne batya ne bamudduka mu kutya okw’ekitalo. 25 (BB)Ne bagamba nti, “Mulaba omusajja oyo avuddeyo? Mazima, azze okusoomooza Isirayiri. Omuntu alimutta, kabaka alimugaggawaza era alimuwa muwala we okumuwasa, era n’ennyumba ya kitaawe eneebanga ya ddembe mu Isirayiri.”
26 (BC)Awo Dawudi n’abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Kiki ekirikolerwa omuntu alitta Omufirisuuti oyo, n’aggya obuswavu buno ku Isirayiri? Omufirisuuti oyo atali mukomole yeeyita ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?” 27 Ne bamuddiramu ebigambo bye bimu nti, “Bw’atyo bw’anaakolebwa omuntu anaamutta.”
28 (BD)Awo Eriyaabu, muganda wa Dawudi mukulu waabwe bwe yamuwulira ng’ayogera n’abasajja, obusungu ne bumukwata, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakuleese wano? Ani gwe walekedde endiga ezo entono ku ttale? Mmanyi amalala go n’ekyejo ky’olina mu mutima, waserengese kulaba bulabi lutalo.”
29 Dawudi n’ayogera nti, “Kaakano nkoze ki? Siyinza kubaako kye mbuuza? Mbuuzizza bubuuza.” 30 N’akyuka n’abuuza omuntu omulala ekibuuzo kye kimu, mu ngeri y’emu abasajja ne bamutegeeza ebigambo bye bimu nga bali abaasoose. 31 Ebigambo Dawudi bye yayogera byawulirwa ne bituusibwa eri Sawulo; Sawulo n’amutumya.
32 (BE)Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.” 33 (BF)Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.”
34 (BG)Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo, 35 nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta. 36 Omuweereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.” 37 (BH)Dawudi n’ayogera nti, “Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.”
Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.” 38 Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo; n’amuwa ekizibaawo eky’ekikomo, n’amuteeka n’enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe. 39 Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu. 40 N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti.
41 Awo Omufirisuuti n’omusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi. 42 (BI)Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi. 43 (BJ)N’agamba Dawudi nti, “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Omufirisuuti n’akolimira Dawudi nga bwakoowoola balubaale be. 44 (BK)Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti, “Sembera wano, omubiri gwo nnaagugabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.”
45 (BL)Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza. 46 (BM)Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. 47 (BN)Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.”
48 Awo Omufirisuuti bwe yali ng’asembera okulumba Dawudi, Dawudi n’adduka mbiro okumusisinkana. 49 Dawudi n’aggya ejjinja mu nsawo ye n’alivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; n’agwa nga yeevuunise, n’ejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye. 50 (BO)Bw’atyo Dawudi n’awangula Omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja, n’amukuba n’amutta nga Dawudi talina kitala ky’akutte.
51 (BP)Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, n’adduka n’amuyimirirako, n’asowola ekitala ky’Omufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, n’amutemako omutwe nakyo.
Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka. 52 (BQ)Abasajja ba Isirayiri ne Yuda ne bagolokoka n’okuleekaana okungi ne bagoberera Abafirisuuti okutuuka e Gaasi ne ku miryango gya Ekuloni; abaafa n’abaatuusibwako ebiwundu ne baba bangi mu kkubo okuva e Saalayimu okutuuka e Gaasi n’e Ekuloni. 53 Awo Abayisirayiri bwe baakomawo okuva mu kugoberera Abafirisuuti, ne banyaga olusiisira lw’Abafirisuuti. 54 Dawudi n’asitula omutwe gw’Omufirisuuti n’aguleeta e Yerusaalemi, naye ebyokulwanyisa by’Omufirisuuti n’abiteeka mu weema ye.
55 (BR)Sawulo bwe yalengera Dawudi ng’agenda okulwana n’Omufirisuuti, n’abuuza Abuneeri omuduumizi w’eggye nti, “Abuneeri, oyo omuvubuka mutabani w’ani?” Abuneeri n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.” 56 Kabaka n’ayogera nti, “Genda onoonyereze bazadde b’omuvubuka oyo.” 57 Amangu ddala nga Dawudi akomyewo ng’asse Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi asitudde omutwe gw’Omufirisuuti mu mukono gwe. 58 (BS)Sawulo n’amubuuza nti, “Muvubuka, oli mwana w’ani?” Dawudi n’amuddamu nti, “Ndi mutabani wa muddu wo Yese Omubesirekemu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.