Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 33-34

Olugendo lw’Abaana ba Isirayiri okuva e Misiri okutuuka e Kanani

33 (A)Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni. Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira.

Bino bye bitundu ebyo: (B)Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi; (C)ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.

(D)Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.

(E)Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.

(F)Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.

(G)Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.

(H)Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.

10 Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.

11 (I)Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.

12 Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.

13 Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.

14 Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.

15 (J)Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.

16 (K)Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.

17 (L)Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.

18 Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.

19 Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.

20 (M)Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.

21 Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.

22 Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.

23 Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.

24 Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.

25 Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.

26 Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.

27 Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.

28 Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.

29 Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.

30 (N)Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.

31 Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.

32 Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.

33 (O)Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.

34 Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.

35 (P)Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.

36 (Q)Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.

37 (R)Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu. 38 (S)Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 39 Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.

40 (T)Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.

41 Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.

42 Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.

43 (U)Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.

44 (V)Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.

45 Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.

46 Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.

47 (W)Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.

48 (X)Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko. 49 (Y)Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.

50 Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti, 51 (Z)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani; 52 (AA)mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza. 53 (AB)Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini. 54 (AC)Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.

55 (AD)“Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga. 56 Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”

Ensalo za Kanani

34 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (AE)“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:

(AF)“ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba, (AG)n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni, (AH)awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene.

Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.

(AI)Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola; (AJ)eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada, ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono.

10 Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu. 11 (AK)Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. 12 Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo.

“ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ”

13 (AL)Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu, 14 (AM)kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe. 15 Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.”

Abasajja Abaalondebwa Okugabanyaamu Ensi

16 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 17 (AN)“Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 18 (AO)Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.

19 (AP)“Gano ge mannya gaabwe:

“Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.

20 (AQ)Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni.

21 (AR)Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini.

22 Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani.

23 Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.

24 Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.

25 Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.

26 Palutiyeri mutabani wa Azani

nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,

27 (AS)ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,

28 ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”

29 Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.