Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebikolwa by’Abatume 1-3

Yesu Atwalibwa mu Ggulu

(A)Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza, (B)okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu. (C)Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda. (D)Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ”

(E)Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mw’onooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?”

(F)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe. (G)Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”

(H)Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.

10 (I)Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, 11 (J)ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.”

12 (K)Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti. 13 (L)Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano:

Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya,

ne Firipo ne Tomasi,

ne Battolomaayo, ne Matayo,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote[a]”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.

14 (M)Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.

Matiya Asikira Yuda

15 Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, 16 (N)“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. 17 (O)Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”

18 (P)Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. 19 Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!

20 (Q)“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,

“ ‘Ekibanja kye kizike,
    so kireme okubeerangamu omuntu.’
‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’

21 Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu, 22 (R)okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”

23 Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya. 24 (S)Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri, 25 okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.” 26 (T)Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.

Mwoyo Mutukuvu ajja ku Pentekoote

(U)Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. (V)Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. (W)Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.

(X)Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu. Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe. (Y)Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya? Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa? (Z)Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 10 (AA)ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi, 11 Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.” 12 Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”

13 (AB)Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”

Okwogera kwa Peetero

14 Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. 15 (AC)Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! 16 Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,

17 (AD)“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
    bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
    n’abakadde baliroota ebirooto.
18 (AE)Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
    ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
    baliwa obunnabbi.
19 Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
    n’obubonero ku nsi wansi,
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
20 (AF)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
21 (AG)Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
    alirokolebwa.’ 

22 (AH)“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. 23 (AI)Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. 24 (AJ)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. 25 (AK)Kubanga Dawudi amwogerako nti,

“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
    kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
    nneme okusagaasagana.
26 Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
    Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 (AL)Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
    so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 Wandaga amakubo g’obulamu,
    era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’ 

29 (AM)“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. 30 (AN)Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, 31 (AO)bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. 32 (AP)Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. 33 (AQ)Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. 34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
    “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 (AR)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’

36 (AS)“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”

37 (AT)Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”

38 (AU)Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu. 39 (AV)Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”

40 (AW)Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama. 41 Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ng’enkumi ssatu.

Obulamu bw’Abakkiriza

42 (AX)Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. 43 (AY)Buli muntu n’ajjula okutya era ebyamagero bingi n’obubonero bungi ne bikolebwanga abatume. 44 (AZ)Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. 45 (BA)Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. 46 (BB)Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa, 47 (BC)nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.

Peetero Awonya Omulema

(BD)Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda, (BE)ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza. Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi. Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!” N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.

(BF)Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!” Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi, (BG)n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda. (BH)Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda, 10 (BI)ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.

Okwogera kwa Peetero mu Yeekaalu

11 (BJ)Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde. 12 Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono? 13 (BK)Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula, 14 (BL)naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu. 15 (BM)Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa. 16 Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.

17 (BN)“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo. 18 (BO)Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo. 19 (BP)Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, 20 mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, 21 (BQ)eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. 22 (BR)Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. 23 (BS)Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’

24 (BT)“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno. 25 (BU)Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’ 26 (BV)Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.