Beginning
Katonda Akozesa Babulooni ng’Ekitala kye
21 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Omwana w’omuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo ky’obunnabbi eri ensi ya Isirayiri, 3 (B)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu abali mu ggwe. 4 (C)Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono. 5 (D)Awo abantu bonna balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’
6 (E)“Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike. 7 (F)Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.”
8 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 9 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Ekitala, ekitala, kiwagaddwa
era kiziguddwa,
10 (G)kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu!
Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda?
“ ‘Ekitala kinyooma buli muggo.
11 (H)“ ‘Ekitala kiweereddwayo okuzigulwa
kiryoke kinywezebwe mu mukono;
kiwagaddwa era kiziguddwa,
kiryoke kiweebwe omussi.
12 (I)Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu,
kubanga ekyo nkikola bantu bange,
era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri.
Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange,
noolwekyo weekube mu kifuba.
13 “ ‘Okugezesebwa kuteekwa okujja. Kiba kitya ng’omuggo gw’obufuzi bwa Yuda ekitala gwe kinyooma, tegulabika nate? bw’ayogera Mukama Katonda.’
14 (J)“Kyonoova owa obunnabbi, omwana w’omuntu,
n’okuba ne mu ngalo.
Leka ekitala kisale emirundi ebiri
oba emirundi esatu.
Kitala kya kutta,
okutta okunene,
nga kibataayiza enjuuyi zonna,
15 (K)era n’emitima gyabwe girisaanuuka,
n’abattiddwa baliba bangi.
Ntadde ekitala ekitta
ku miryango gyabwe gyonna.
Kiwagaddwa era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu
era kinywezebbwa olw’okutta.
16 Ggwe ekitala genda osale
ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono,
ne yonna obwogi bwo gye bunaakyukira.
17 (L)Nange ndikuba mu ngalo,
n’ekiruyi kyange kirikkakkana.
Nze Mukama njogedde.”
18 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, 19 “Omwana w’omuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga. 20 (M)Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba eky’abaana ba Amoni, n’eddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera. 21 (N)Kabaka w’e Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya Mukama; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera n’ekibumba. 22 (O)Mu mukono gwe ogwa ddyo mwe mulibeera akalulu ka Yerusaalemi, gy’aliteeka ebitomera wankaaki, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririragira okutta kutandike, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririrangirira olutalo, era gy’aliteeka ebitomera emiryango, n’okuzimba ebitindiro n’ebigo ebikozesebwa okutaayiza. 23 (P)Kulirabika ng’obunnabbi obw’obulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe n’abatwala nga bawambe.
24 “Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Olw’okunzijjukiza omusango gwammwe, olw’obujeemu bwammwe obw’olwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olw’okukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.
25 (Q)“ ‘Ggwe omulangira wa Isirayiri omwonoonefu, omukozi w’ebibi, olunaku gwe lutuukidde, ekiseera eky’okubonerezebwa kwo, bwe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala, 26 (R)bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko n’engule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, n’abeegulumiza balikkakkanyizibwa. 27 (S)Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lw’alijja, era oyo gwe ndikiwa.’
28 (T)“Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe:
“ ‘Ekitala, ekitala,
kisowoddwa okutta,
Kiziguddwa okusaanyaawo
era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu.
29 (U)Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba,
ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba,
ekitala kiriteekebwa ku bulago
bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa,
olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe
be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala.
30 (V)“ ‘Ekitala kizze
mu kiraato kyakyo.
Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja,
eyo gye ndikusalirira omusango.
31 (W)Ndikufukako ekiruyi kyange,
ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange,
ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo,
abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.
32 (X)Oliba nku za muliro,
n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo,
era tolijjukirwa nate,
kubanga nze Mukama njogedde.’ ”
Ebibi bya Yerusaalemi
22 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 (Y)“Omwana w’omuntu, olikisalira omusango? Olisalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale mulumbe wakati mu bikolwa bye byonna eby’ekivve; 3 (Z)mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe ekibuga ekittira abantu mu kyo era ekyeyonoonesa olwa bakatonda abalala be beekolera, weeleeseeko wekka ekivume, 4 (AA)era osingiddwa olw’omusaayi gw’oyiye era weeyonoonyesezza olwa bakatonda abalala be weekolera. Ennaku zo ozikomekkerezza, enkomerero ye myaka gyo etuuse. Kyendiva nkuswaza eri amawanga, n’ofuuka eky’okusekererwa eri ensi zonna. 5 Abali okumpi n’abali ewala balikukudaalira, ggwe ekibuga ekinyoomebwa era ekijjudde emivuyo.
6 (AB)“ ‘Laba, buli mulangira wa Isirayiri bw’akozesa obuyinza bwe okuyiwa omusaayi. 7 (AC)Bataata ne bamaama banyoomebwa, era n’abagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu. 8 (AD)Munyoomye ebintu byange ebitukuvu, ne mwonoona Ssabbiiti zange. 9 (AE)Mu mmwe mulimu abantu abawaayiriza abaamalirira okuyiwa omusaayi, era mulimu n’abo abaliira ku nsozi, ne bakola eby’obugwagwa. 10 (AF)Era mu mmwe mulimu abajerega obwereere bwa bakitaabwe, era mulimu n’abo abeebaka n’abakazi abali mu nsonga zaabwe ez’abakazi nga si balongoofu. 11 (AG)Mu mmwe mulimu omusajja akola ebibi eby’obwenzi ne muka muliraanwa we, omulala n’ayonoonyesa muka mwana mu buswavu, ate omulala n’akwata mwannyina muwala wa kitaawe. 12 (AH)Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri ey’obukumpanya, era munneerabidde, bw’ayogera Mukama Katonda.
13 (AI)“ ‘Kale nno ndikuba mu ngalo olw’amagoba agatasaanidde ge mukoze n’omusaayi ogwayiyibwa wakati mu mmwe. 14 (AJ)Obuvumu bwo bulibeerera, oba emikono gyo giriba n’amaanyi olunaku lwe ndikubonereza? Nze Mukama nkyogedde, era ndikikola. 15 (AK)Ndibabunya mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi, era ndikomya obutali bulongoofu bwo. 16 Bw’oliggwaamu ekitiibwa mu maaso g’amawanga, olimanya nga Nze Mukama.’ ”
17 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (AL)“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri efuuse amasengere gye ndi; bonna bali ng’ebikomo, masasi, n’ebyuma ebisigalira wansi mu kikoomi ky’ekyokero. Bali ng’amasengere ga ffeeza. 19 Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Kubanga mwenna mufuuse masengere, kyendiva mbakuŋŋaanya ne mbateeka wakati mu Yerusaalemi. 20 (AM)Ng’omuntu bw’okuŋŋaanya effeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, n’amasasi mu kyokero okubisaanuusa n’omuliro ogw’amaanyi, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne mbateeka mu kibuga ne mbasaanuusa. 21 Ndibakuŋŋaanya, ne mbafukuta mu muliro ogw’ekiruyi kyange, ne musaanuukira munda mu kyo. 22 (AN)Era ng’effeeza bw’esaanuusibwa mu kyokero, nammwe bwe mutyo bwe mulisaanuusibwa munda mu kyo, era mulimanya nga Nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.’ ”
23 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, 24 (AO)“Omwana w’omuntu, yogera eri ensi nti, ‘Ggwe oli nsi eteri nongoose, era etetonnyebwako nkuba ku lunaku olw’ekiruyi.’ 25 (AP)Bannabbi b’ensi balina enkwe, bali ng’empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo gwayo; bavaabira abantu, ne batwala eby’obugagga n’ebintu eby’omuwendo, ne bafuula abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu. 26 (AQ)Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu n’ebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo. 27 (AR)Abakungu baakyo bali ng’emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi ne batta abantu okukola amagoba mu butali bwenkanya. 28 (AS)Bannabbi baakyo bakkiriza ebikolwa ebyo, nga babalimba n’okwolesebwa okukyamu n’okuwa obunnabbi obw’obulimba, nga boogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,’ so nga Mukama tayogedde. 29 (AT)Abantu ab’omu nsi bakola eby’obukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya.
30 (AU)“Ne nnoonya omuntu mu bo ayinza okuzimba ekisenge era ayinza okubeeyimiririra mu maaso gange ku lw’ensi, naye ne siraba n’omu. 31 (AV)Kyendiva mbayiwako ekiruyi kyange, ne mbamalawo n’omuliro ogw’obusungu bwange, ne mbaleetako ebyo byonna bye baakola,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.