Add parallel Print Page Options

(A)Mukama anaakulwaniriranga;
    bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
(B)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
    n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.

Read full chapter

(A)Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
    era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
    abantu be mmaliddewo ddala.
Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
    kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
    amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
    era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.

Read full chapter