Beginning
Ettabi Ettukuvu
23 (A)“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. 2 (B)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. 3 (C)“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. 4 (D)Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.
5 (E)“Ennaku zijja,
lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
6 (F)Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.
7 (G)“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, 8 (H)naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.
Bannabbi Abalimba
9 (I)Ebikwata ku bannabbi:
omutima gwange gwennyise mu nda yange
amagumba gange gonna gakankana,
nninga omusajja omutamiivu,
ng’omusajja afugiddwa omwenge,
ku lwa Mukama
n’ebigambo bye ebitukuvu.
10 (J)Ensi ejjudde abenzi;
olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu
era n’amalundiro g’omu ddungu meereere.
Bannabbi bagoberera amakubo amabi
era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.
11 (K)“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,
ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”
bw’ayogera Mukama.
12 (L)“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera
era bajja kusuulibwa mu kizikiza
era eyo gye baligwira.
Ndibaleetako okuzikirira
mu mwaka gwe balibonerezebwamu,”
bw’ayogera Mukama.
13 (M)“Mu bannabbi b’e Samaliya
nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.
Balagulira wansi wa Baali
ne babuza abantu bange Isirayiri.
14 (N)Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
ndabye ekintu ekibi ennyo.
Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”
15 (O)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,
“Nzija kubaliisa emmere ekaawa
banywe amazzi ag’obutwa,
kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,
obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”
16 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,
“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:
babajjuza essuubi ekyamu.
Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,
so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
17 (Q)Bagamba abo abannyooma nti,
‘Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’
Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe
babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
18 Naye ani ku bo
eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba
oba okuwulira ekigambo kye?
19 (R)Laba, omuyaga gwa Mukama
gujja kubwatuka n’ekiruyi,
empewo ey’akazimu
eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
20 (S)Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma
okutuusa ng’amaze okutuukiriza
ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi. 21 (T)Situmanga bannabbi bano,
songa bagenda
badduka n’obubaka buno,
era sogeranga nabo,
songa bategeeza obunnabbi.
22 (U)Naye singa bayimirira mu maaso gange,
bandibuulidde abantu bange ebigambo byange,
era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi
era ne mu bikolwa byabwe ebibi.
23 (V)“Ndi Katonda abeera okumpi wokka,
so si abeera ewala?”
bw’ayogera Mukama.
24 (W)“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama
ne sisobola kumulaba?”
bw’ayogera Mukama.
“Sijjuza eggulu n’ensi?”
bw’ayogera Mukama.
25 (X)“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ 26 (Y)Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? 27 (Z)Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. 28 Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama. 29 (AA)“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.
30 (AB)“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama. 31 (AC)“Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’ 32 (AD)Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.
Obubaka Obukyamu ne Bannabbi Aboobulimba
33 (AE)“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’ 34 (AF)Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge. 35 (AG)Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’ 36 (AH)Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe. 37 Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’ 38 Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ 39 (AI)kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe. 40 (AJ)Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”
Ebibbo by’Emitiini
24 (AK)Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama. 2 (AL)Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ng’eyo esooka okwengera, n’ekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.
3 (AM)Mukama n’ambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”
4 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya. 6 (AN)Amaaso gange gajja kubalabirira olw’obulungi bwabwe, era nzija kubakomyawo mu nsi eno. Nzija kubazimba era nneme kubamenyaamenya: nzija kubasimba nneme kubakuula. 7 (AO)Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.
8 (AP)“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama. 9 (AQ)‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga. 10 (AR)Ndireeta ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”
Emyaka Nsanvu egy’Obusibe
25 (AS)Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni. 2 (AT)Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti, 3 (AU)Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.
4 (AV)Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo. 5 Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna. 6 (AW)Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”
7 (AX)“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
8 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange, 9 (AY)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala. 10 (AZ)Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala. 11 (BA)Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.
12 (BB)“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama. 13 “Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna. 14 (BC)Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”
Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama
15 (BD)Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa. 16 (BE)Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.”
17 (BF)Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;
18 (BG)Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.
19 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna, 20 (BH)n’abagwira bonna abaaliyo;
bakabaka ba Uzi bonna,
ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,
21 (BI)n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni,
22 (BJ)bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;
23 (BK)Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala,
24 (BL)ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu;
25 (BM)ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi;
26 (BN)n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi.
Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.
27 (BO)“Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’ 28 Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa! 29 (BP)Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’
30 (BQ)“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,
“ ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu,
era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu
awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.
Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,
ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
31 (BR)Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.
Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,
alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”
bw’ayogera Mukama.
32 (BS)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi;
enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”
33 (BT)Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.
34 (BU)Mukaabe mulaajane mmwe abasumba,
mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo.
Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse
mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.
35 (BV)Abasumba tebaabeeko na buddukiro,
n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.
36 Muwulire okukaaba kw’abasumba,
okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo,
kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.
37 Amalundiro amalungi galifuuka matongo
olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
38 (BW)Ajja kuleka ekisulo kye
ng’empologoma bw’eva w’esula,
n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi
era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.