Beginning
4 (A)“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama,
“eri nze gy’olina okudda.
Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna
n’otosagaasagana,
2 (B)era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya
era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’
olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa
era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”
3 (C)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti,
“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,
temusiga mu maggwa.
4 (D)Mukoowoole Mukama,
mweweeyo mutukuze emitima gyammwe
mwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,
obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi,
ne wataba ayinza kubuzikiza.”
Yuda Erumbibwa
5 (E)“Kirangirire mu Yuda
era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,
‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!
Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,
tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
6 (F)Weereza obubaka eri Sayuuni nti,
Mudduke temulwa,
kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,
okuzikiriza okw’amaanyi.”
7 (G)Empologoma evudde mu kisaka kyayo,
omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo.
Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa
bibuleko abibeeramu.
8 (H)Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,
mukube ebiwoobe
kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.
9 (I)Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo,
kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo,
bakabona basamaalirire
ne bannabbi beewuunye.”
10 (J)Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”
11 (K)Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa 12 (L)embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.”
13 (M)Laba ajja ng’ebire,
amagaali ge ng’empewo y’akazimu,
embalaasi ze zidduka okusinga empungu;
zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!
14 (N)Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe.
Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
15 (O)Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,
nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
16 (P)“Labula amawanga nti ajja:
kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,
‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo
nga balumba ebibuga bya Yuda.
17 (Q)Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro
kubanga Yuda yanjeemera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
18 (R)“Empisa zammwe,
n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.
Kino kye kibonerezo kyammwe.
Nga kya bulumi!
Nga kifumita omutima.”
19 (S)Obulumi, Ayi Obulumi!
Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
mpulidde enduulu z’olutalo.
20 (T)Okuzikirizibwa kweyongeddeko
era ensi yonna eyonooneddwa.
Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera,
n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
21 Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalo
n’okuwulira amaloboozi g’amakondeere?
22 (U)“Kubanga abantu bange basirusiru,
tebammanyi.
Baana abatalina magezi;
abatategeera.
Bakagezimunnyu mu kukola ebibi,
tebamanyi kukola birungi.”
23 (V)Natunuulira ensi,
nga njereere,
ate ne ntunula ne ku ggulu,
ng’ekitangaala kigenze.
24 (W)Natunuulira agasozi
nga gajugumira,
n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma.
25 (X)Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu,
era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.
26 Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu,
era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama,
olw’obusungu bwe obungi.
27 (Y)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Ensi yonna eriyonoonebwa,
wadde nga sirigizikiririza ddala.
28 (Z)Noolwekyo ensi erikungubaga
era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza,
kubanga njogedde
era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”
29 (AA)Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale,
ebibuga byonna biribuna emiwabo,
abamu beesogge ebisaka;
n’abalala balinnye waggulu ku njazi.
Ebibuga byonna birekeddwa ttayo;
tewali abibeeramu.
30 (AB)Okola ki ggwe,
ggwe eyayonoonebwa?
Lwaki oyambala engoye entwakaavu,
ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,
n’amaaso n’ogasiiga langi?
Omala biseera nga weeyonja.
Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
31 (AC)Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,
okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,
okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,
ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,
“Zinsanze nze, nzirika.
Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”
Tewali n’Omu mugolokofu
5 (AD)“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,
tunulatunula olabe,
noonya wonna we bakuŋŋaanira,
bw’onoosanga omuntu omu bw’ati
omwesimbu ow’amazima,
nnaasonyiwa ekibuga kino.
2 (AE)Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’
baba balayirira bwereere.”
3 (AF)Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?
Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,
naye ne bagaana okukangavvulwa.
Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;
era bagaanyi okwenenya.
4 (AG)Ne njogera nti,
“Bano baavu abasirusiru.
Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama,
amateeka ga Katonda waabwe.
5 (AH)Kale ndigenda eri abakulembeze
njogere nabo;
Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama,
amateeka ga Katonda waabwe.”
Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo
nga baakutula ebisiba.
6 (AI)Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,
n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo.
Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe,
buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe;
Kubanga ebibi byabwe bingi,
okudda ennyuma kunene.
7 (AJ)“Mbasonyiwe ntya?
Abaana bammwe banvuddeko,
ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda.
Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda,
ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
8 (AK)Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,
buli muntu ng’akaayanira muka munne.
9 (AL)Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?
bw’ayogera Mukama,
Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi
efaanana bw’etyo?”
Ekiragiro ky’Okulumba Yuda
10 (AM)“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,
naye togimalirawo ddala.
Giggyeeko amatabi gaagyo,
kubanga si bantu ba Mukama.
11 (AN)Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda
zifuukidde ddala njeemu gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
12 (AO)Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti,
“Talina kyajja kukola,
tewali kabi kanaatugwako,
era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.
13 (AP)Bannabbi mpewo buwewo
era ekigambo tekibaliimu;
noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”
14 (AQ)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti,
“Kubanga abantu boogedde ebigambo bino,
ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro,
n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.
15 (AR)Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala,
ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.
Ensi eyaguma ey’edda,
abantu ab’olulimi lwe mutamanyi
aboogera bye mutategeera
16 omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde,
bonna balwanyi nnamige.
17 (AS)Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe;
balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe;
balye emizabbibu n’emitiini gyammwe,
ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala.
18 (AT)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo. 19 (AU)Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
20 “Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo,
kirangirire mu Yuda.
21 (AV)Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera,
abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
22 (AW)Temuntya?” bw’ayogera Mukama;
“temunkankanira?
Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,
olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;
wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,
gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
23 (AX)Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu.
Bajeemye banvuddeko.
24 (AY)Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba,
eya ddumbi n’eya ttoggo,
mu ntuuko zaayo;
atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ”
25 Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese
ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.
26 (AZ)“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;
abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi.
Batega abantu omutego.
27 (BA)Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,
enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe.
Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga,
ne bagejja era ne banyirira.
28 (BB)Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,
abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango,
era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.
29 Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?”
bw’ayogera Mukama.
“Nneme okwesasuza ku ggwanga
eriri nga eryo?
30 (BC)“Ekigambo eky’ekitalo
era eky’ekivve kigudde mu nsi:
31 (BD)Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,
bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala.
Naye ku nkomerero
munaakola mutya?”
Abeesigwa Bagambibwa Okudduka
6 (BE)Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!
Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
okuzikirira okw’entiisa.
2 Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,
omulungi oyo omubalagavu.
3 (BF)Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.
Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,
buli omu yeezimbire w’ayagala.
4 (BG)“Mwetegeke mumulwanyise!
Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!
Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,
n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
5 Tugende, tulumbe kiro
tuzikirize amayumba ge.”
6 (BH)Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,
“Muteme emiti mukole entuumo
muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
7 (BI)Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,
entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.
Obulwadde n’ebiwundu
bye ndaba buli bbanga.
8 (BJ)Nkulabula,
ggwe Yerusaalemi,
emmeeme yange ereme okwawukana naawe,
si kulwa ng’ofuuka amatongo.”
9 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Balisusumbulira ddala n’abo abatono
abaliba basigaddewo mu Isirayiri.
Ddamu oyise omukono mu matabi
ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
10 (BK)Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
tebakisanyukira n’akamu.
11 (BL)Kyenva nzijula ekiruyi
sikyasobola kukizibiikiriza.
“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12 (BM)Enju zaabwe
ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
bw’ayogera Mukama.
13 (BN)“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
boogera eby’obulimba.
14 (BO)Ekiwundu ky’abantu bange
bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
So nga tewali mirembe.
15 (BP)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
Nedda.
Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
bw’ayogera Mukama.
16 (BQ)Kino Mukama ky’agamba nti,
“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17 (BR)Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
18 Kale muwulire,
mmwe amawanga
era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19 (BS)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
n’etteeka lyange baligaanye.
20 (BT)Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
21 (BU)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;
bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.
Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
22 (BV)Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,
“Laba, eggye lijja
eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
23 (BW)Bakutte omutego n’effumu,
abakambwe abatalina kusaasira.
Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,
nga beebagadde embalaasi zaabwe:
bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo
okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
24 (BX)Tuwulidde ettutumu lyabwe;
era emikono gyaffe giweddemu amaanyi
okulumwa okunene kutukutte
n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
25 (BY)Togeza kugenda mu nnimiro
newaakubadde okutambulira mu kkubo;
kubanga omulabe abunye wonna wonna
n’entiisa ejjudde mu bantu.
26 (BZ)Kale nno mmwe abantu,
mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
ajja kutugwako mavumbavumba.
27 (CA)“Nkufudde ekigezesa
abantu bange n’ekyuma,
osobole okulaba n’okugezesa
amakubo gaabwe.
28 (CB)Bonna bakyewaggula
abakakanyavu abagenda bawaayiriza,
bikomo era kyuma,
bonna boonoonefu.
29 Emivubo bagifukuta n’amaanyi,
omuliro gumalawo essasi,
naye balongoosereza bwereere
kubanga ababi tebaggyibwamu.
30 (CC)Baliyitibwa masengere ga ffeeza,
kubanga Mukama abalese.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.