Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 45-48

45 (A)“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,
    oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo
okujeemulula amawanga mu maaso ge
    era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,
okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,
    emiryango eminene gireme kuggalwawo.
(B)Ndikukulembera
    ne ntereeza ebifo ebigulumivu.
Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo
    ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.
(C)Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu
    era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama
olyoke omanye nga nze Mukama,
    Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
(D)Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange
    kyenvudde nkuyita erinnya,
ne nkuwa ekitiibwa
    wadde nga tonzisaako mwoyo.
(E)Nze Mukama, tewali mulala.
    Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
    wadde nga tonzisaako mwoyo,
(F)balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda
    tewali mulala wabula nze.
Nze Mukama,
    tewali mulala.
(G)Nze nteekawo ekitangaala
    ne ntonda ekizikiza.
    Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.
Nze Mukama akola ebyo byonna.

(H)“Mmwe eggulu eriri waggulu,
    mutonnyese obutuukirivu.
Ebire bitonnyese obutuukirivu.
    Ensi egguke n’obulokozi bumeruke,
ereete obutuukirivu.
    Nze Mukama nze nagitonda.

(I)“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
    Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
    ‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
    ‘Aliko emikono?’
10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti,
    ‘Wazaala ki?’
Oba nnyina nti,
    ‘Kiki ky’ozadde?’

11 (J)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri
    era Omutonzi we nti,
‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja,
    oba ebikwata ku baana bange,
    oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
12 (K)Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
13 (L)Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu
    era nditereeza amakubo ge gonna.
Alizimba ekibuga kyange
    n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;
naye si lwa mpeera oba ekirabo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

14 (M)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
    n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
    babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
    nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
    ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”

15 (N)Ddala oli Katonda eyeekweka,
    ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
16 (O)Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,
    balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
17 (P)Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama
    n’obulokozi obutaliggwaawo.
Temuukwatibwenga nsonyi,
    temuuswalenga emirembe gyonna.

18 (Q)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
    Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
    Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
19 (R)Soogereranga mu kyama,
    oba mu nsi eyeekizikiza.
Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti,
    ‘Munoonyeze bwereere.’
Nze Mukama njogera mazima,
    mbuulira ebigambo eby’ensonga.

20 (S)“Mwekuŋŋaanye mujje,
    mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga.
Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje,
    abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
21 (T)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
    Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
    Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
    Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
    tewali mulala wabula nze.

22 (U)“Mudde gye ndi, mulokoke,
    mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi,
    kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 (V)Neerayiridde,
    ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima
    so tekiriggibwawo mu maaso gange.
Buli vviivi lirifukamira,
    na buli lulimi lulirayira!
24 (W)Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ”
Bonna abaamusunguwalira
    balijja gy’ali nga baswadde.
25 (X)Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu
    era mwe liryenyumiririza.

Bakatonda b’e Babulooni

46 (Y)Beri avunnama,
    Nebo akutamye!
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.
    Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
(Z)Bikutamye byonna bivuunamye.
    Tebiyinza kuyamba ku mbeera,
    byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.

(AA)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
    n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
    be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
(AB)Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
    Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
    Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

(AC)“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya
    era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
(AD)Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe
    ne bapima ne ffeeza ku minzaani.
Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,
    ne bagwa wansi ne basinza.
(AE)Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.
    N’ayimirira awo,
    n’atava mu kifo kye.
Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,
    tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.

(AF)“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.
    Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
(AG)Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.
    Kubanga nze Katonda, teri mulala.
    Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 (AH)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
    Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
    era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.
    Omusajja[a] ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.
Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.
    Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 (AI)Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,
    abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 (AJ)Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
    tebuli wala.
    N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
    ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”

Babulooni Esalirwa Omusango

47 (AK)“Omuwala wa Babulooni embeerera,
    kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
    ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
    Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
(AL)Ddira olubengo ose obutta.
    Ggyako akatimba ku maaso,
situla ku ngoye z’oku magulu
    oyite mu mazzi.
(AM)Obwereere bwo bulibikkulwa;
    obusungu bwo bulyeraga.
Nzija kuwoolera eggwanga;
    tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”

(AN)Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
    ye Mutukuvu wa Isirayiri.

(AO)“Tuula mu kasirise
    yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,
tebakyakuyita kabaka omukazi
    afuga obwakabaka obungi.
(AP)Nnali nsunguwalidde abantu bange,
    ne nyonoonesa omugabo gwange.
Nabawaayo mu mikono gyo,
    n’otobasaasira n’akatono.
N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
(AQ)Wayogera nti,
    ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
    wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

(AR)“Kale nno kaakano wuliriza kino,
    ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
    ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
    Siribeera nnamwandu
    wadde okufiirwa abaana.’
(AS)Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
    eky’okufiirwa abaana
    n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
    newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
    n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 (AT)Weesiga obutali butuukirivu bwo,
    n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
    bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 (AU)Kyokka ensasagge erikujjira
    era tolimanya ngeri yakugyeggyako;
n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;
    akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.

12 (AV)“Weeyongere nno n’obulogo bwo
    n’obufumu bwo obwayinga obungi,
    bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.
Oboolyawo olibaako kyoggyamu,
    oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 (AW)Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.
    Abalagulira ku munyeenye basembera,
n’abo abakebera emmunyeenye,
    era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 (AX)Laba, bali ng’ebisusunku
    era omuliro gulibookya!
Tebalyewonya
    maanyi ga muliro.
Tewaliiwo manda ga kukubugumya
    wadde omuliro ogw’okwota!
15 (AY)Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;
    b’obonyeebonye nabo
    b’oteganidde okuva mu buto bwo.
Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye
    era tewali n’omu ayinza okukulokola.”

Katonda bye Yayogera Bituukirira

48 (AZ)“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
    abayitibwa erinnya lya Isirayiri,
    era abaava mu nda ya Yuda.
Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,
    era abaatula Katonda wa Isirayiri,
    naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
(BA)Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
    abeesiga Katonda wa Isirayiri,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
(BB)Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo;
    byava mu kamwa kange ne mbyogera.
    Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
(BC)Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe;
    ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;
    ekyenyi ng’ekikomo.
(BD)Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo,
    muleme kugamba nti,
“Bakatonda bange be baabikola:
    Ekifaananyi kyange ekyole
    n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
Mulabe ebintu bino nabibagamba dda,
    era temubikkirize?

“Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja,
    eby’ekyama bye mutawulirangako.
Mbikola kaakano,
    so si ekiseera ekyayita:
mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega
    si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
(BE)Towulirangako wadde okutegeera.
    Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga.
Kubanga namanya nti wali kyewaggula,
    okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
(BF)Olw’erinnya lyange
    ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange
    ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10 (BG)Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
    Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
11 (BH)Ku lwange nze,
    ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa.
    Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.

Isirayiri Enunulibwa

12 (BI)“Mpuliriza ggwe Yakobo.
    Isirayiri gwe nalonda.
Nze Nzuuyo.
    Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13 (BJ)Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi,
    era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu.
Bwe mbiyita
    byombi bijja.

14 (BK)“Mwekuŋŋaanye mwenna
    mujje muwulire!
Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino?
    Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni,
    era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.[b]
15 (BL)Nze; Nze nzennyini nze njogedde.
    Nze namuyita.
Ndimuleeta
    era alituukiriza omulimu gwe.

16 (BM)“Munsemberere muwulirize bino.

“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.
    Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”

Era kaakano Mukama Ayinzabyonna
    n’Omwoyo we antumye.

17 (BN)Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,
    Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Nze Mukama Katonda wo
    akuyigiriza okukulaakulana,
    akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18 (BO)Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange!
    Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga!
    Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19 (BP)ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu
    abaana bo ng’obuweke bwagwo.
Erinnya lyabwe teryandivuddewo
    wadde okuzikirira nga wendi.”

20 (BQ)Muve mu Babulooni,
    mudduke Abakaludaaya.
Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu.
    Mugalangirire wonna wonna
    n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 (BR)So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.
    Yabakulukusiza amazzi mu lwazi:
yayasa olwazi
    amazzi ne gavaamu.

22 (BS)“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.