Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 15-17

Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi

15 (A)Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema. (B)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.”

(C)Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna mu Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.

N’ayita abazzukulu ba Alooni n’Abaleevi:

ku bazzukulu ba Kokasi,

Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri;

ku bazzukulu ba Merali,

Asaya omukulembeze ne baganda be bibiri mu abiri;

ku bazzukulu ba Gerusomu,

Yoweeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu asatu;

(D)ku bazzukulu ba Erizafani,

Semaaya omukulembeze ne baganda be ebikumi bibiri,

(E)ku bazzukulu ba Kebbulooni,

Eryeri omukulembeze ne baganda be kinaana;

10 ku bazzukulu ba Wuziyeeri,

Amminadaabu omukulembeze ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.

11 (F)Awo Dawudi n’atumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi, 12 (G)n’abagamba nti, “Mmwe bakulembeze mu nnyumba z’Abaleevi, era mmwe ne baganda bammwe mujja kwetukuza, mulyoke mwambuse essanduuko ya Mukama Katonda wa Isirayiri, okugiteeka mu kifo kye ngitegekedde. 13 (H)Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olw’obutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.” 14 Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama, Katonda wa Isirayiri. 15 (I)Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Mukama ku bibegabega byabwe n’emisituliro gyako, nga Musa bwe yalagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

16 (J)Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa.

17 (K)Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya; 18 (L)ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yeyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, n’abaggazi Obededomu ne Yeyeeri, 19 (M)ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa eby’ebikomo; 20 ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ez’ekyalamosi; 21 naye Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeri, ne Azaziya baali baakukulemberamu nga bakuba ennanga ez’ekiseminisi. 22 Kenaniya omukulembeze w’Abaleevi mu by’okuyimba, avunaanyizibwe eby’okuyimba kubanga yali mukugu mu byo.

23 Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera. 24 (N)Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya n’abo baali baggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera.

25 (O)Awo Dawudi n’abakadde aba Isirayiri, n’abaduumizi b’enkumi ne bagenda okwambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka. 26 (P)Olw’okubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baawaayo sseddume z’ente musanvu ne z’endiga musanvu nga ssaddaaka. 27 Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ng’Abaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ng’abayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde n’ekkanzu eya linena. 28 (Q)Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga.

29 Awo essanduuko ey’endagaano ya Mukama bwe yali ng’eyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba Kabaka Dawudi ng’azina era ng’ajjaguza, n’amunyooma mu mutima gwe.

16 (R)Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. (S)Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.

(T)Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.

Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza

(U)Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:

(V)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
    mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
(W)Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza
    mwogere ku byamagero bye byonna.
10 Erinnya lye ligulumizibwe,
    n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 (X)Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
    munoonye amaaso ge ennaku zonna.

12 (Y)Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,
    n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,
    mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 (Z)Ye Mukama Katonda waffe;
    okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.

15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
    n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 (AA)gye yakola ne Ibulayimu,
    era n’agirayiza Isaaka.
17 (AB)N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,
    n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 (AC)ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”

19 (AD)Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,
    era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,
    n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 (AE)Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;
    weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 (AF)ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
    so bannabbi bange temubakolanga akabi.”

23 Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;
    mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
    n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

25 (AG)Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;
    era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
26 (AH)Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,
    naye Mukama ye yakola eggulu.
27 Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,
    amaanyi n’essanyu biri wamu naye.

28 (AI)Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
29     (AJ)Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;
    musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
30 (AK)Mukankane mu maaso ge ensi yonna,
    weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.

31 (AL)Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;
    boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
32 (AM)Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,
    n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!
33 (AN)Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,
    ginaayimbira Mukama n’essanyu,
    kubanga akomawo okusalira ensi omusango.

34 (AO)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
    era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
35 (AP)Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
    tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga,
twebaze erinnya lyo ettukuvu,
    era tujagulize mu ttendo lyo.”
36 (AQ)Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri
    ow’emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

37 (AR)Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. 38 (AS)Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.

39 (AT)Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni 40 (AU)okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri. 41 (AV)Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. 42 (AW)Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

43 Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.

Okusuubiza kwa Mukama eri Dawudi

17 (AX)Awo Dawudi ng’amaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, n’agamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye nga essanduuko ey’endagaano ya Mukama ebeera mu weema.”

(AY)Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.” Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

(AZ)“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti si gwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga. Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala. Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’ 

(BA)“Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, nakuggya ku ttale ng’olunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze ow’abantu bange Isirayiri. Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi. Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye, 10 (BB)era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna.

“ ‘Nkirangirira gy’oli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba: 11 Ennaku zo bwe zirituuka, era n’ogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe. 12 (BC)Oyo y’alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe emirembe gyonna. 13 (BD)Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka. 14 (BE)Ye y’aliba omukulu mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna, era entebe ye ey’obwakabaka eribeerera emirembe gyonna.’ ”

15 Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa okwo.

Esaala ya Dawudi

16 Awo Kabaka Dawudi n’agenda n’atuula mu maaso ga Mukama n’ayogera nti,

“Nze ani, Ayi Mukama Katonda, era ennyumba yange kye ki, gwe okuntuusa wano? 17 Kino tekyali kitono mu maaso go, okwogera ku bigenda okuba ku nnyumba ey’omuddu wo, n’ontunuulira ng’omu ku basajja abasingirayo ddala ekitiibwa, Ayi Mukama Katonda.

18 “Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo. 19 (BF)Olw’omuddu wo Ayi Mukama Katonda, n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era n’osuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo.

20 (BG)“Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde n’amatu gaffe. 21 (BH)Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era n’okola ebikolwa eby’amaanyi, n’ebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso g’abantu bo, be wanunula okuva mu Misiri? 22 (BI)Abantu bo Abayisirayiri wabafuulira ddala babo emirembe gyonna, era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.

23 (BJ)“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna. 24 Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, Mukama ow’Eggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.

25 “Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza. 26 Ggwe Ayi Mukama oli Katonda, era osuubizza omuddu wo ebirungi ebyo. 27 (BK)Kaakano osiimye okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.