Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 (B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 (C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 (D)Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 (E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 (F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 (G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 (H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 (I)Tombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 (L)Nnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
Zabbuli ya Dawudi.
28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 (B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
3 (C)Tontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 (D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.
5 (E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.
6 Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 (F)Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
tatya Katonda.
2 Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
oba okukyawa ekibi kye.
3 (B)Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
takyalina magezi era takyakola birungi.
4 (C)Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
era ebitali bituufu tabyewala.
5 Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6 (D)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
7 (E)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
baddukira mu biwaawaatiro byo.
8 (F)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
9 (G)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
era gw’otwakiza omusana.
10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
wadde ababi okunsindiikiriza.
12 (H)Laba, ababi nga bwe bagudde!
Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 (B)Naye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:
4 (C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 (D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
6 (E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 (F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 (G)Ondokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
9 (H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.
13 (A)Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse
kubanga tebalina kutegeera.
Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,
n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
14 (B)Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,
era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.
Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe
n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.
15 (C)Buli muntu alitoowazibwa,
abantu bonna balikkakkanyizibwa
era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
16 (D)Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,
era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17 (E)Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,
n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
24 (A)Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,
era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,
bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,
era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;
kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,
era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.
25 (B)Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.
Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
era omukono gwe gukyagoloddwa.
Ebiragiro Ebisembayo
12 (A)Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 13 (B)mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 14 (C)Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 15 (D)Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 16 (E)Musanyukenga ennaku zonna.
Musabenga
17 Musabenga obutayosa. 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 19 (F)Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 20 (G)era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 21 (H)naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
23 (I)Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24 (J)Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
25 (K)Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
26 Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.
27 Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.
28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
Eky’okuyiga ku muti omutiini
29 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna. 30 Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse. 31 (A)Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.
32 (B)“Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 33 (C)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.
34 (D)“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego. 35 Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna. 36 (E)Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”
37 (F)Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni. 38 (G)Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.