Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 20-21

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
    Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
(B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
    akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
(C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
    era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
(D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
    era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
(E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
    ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.

Mukama akuwenga byonna by’omusaba.

(F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
    amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
    ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
(G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
(H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
    naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
(I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
    otwanukule bwe tukukoowoola.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

21 (J)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
    Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!

(K)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
    era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
(L)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
    n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
(M)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
    ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
(N)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
    Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
(O)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
    n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
    era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

(P)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
    omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
(Q)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
    olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
    era alibamalirawo ddala.
10 (R)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
    n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (S)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
    ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (T)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
    ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.

13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
    Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

Zabbuli 110

Zabbuli ya Dawudi.

110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
    okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]

(B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
    olifuga abalabe bo.
(C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
    ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
    nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
    balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

(D)Mukama yalayira,
    era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
    ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

(E)Mukama anaakulwaniriranga;
    bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
(F)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
    n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
(G)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
    n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Zabbuli 116-117

116 (A)Mukama mmwagala,
    kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
(B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
    kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

(C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
    n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
    ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
(D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
    “Ayi Mukama, ndokola.”

(E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
    Katonda waffe ajjudde okusaasira.
(F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
    bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

(G)Wummula ggwe emmeeme yange,
    kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
(H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
    n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
    n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
(I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
    mu nsi ey’abalamu.

10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
    “Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
    “Abantu bonna baliraba.”

12 Mukama ndimusasula ntya
    olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
    onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
    nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
    wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.
117 (R)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
    mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
(S)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
    n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.

Isaaya 4:2-6

Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya

(A)Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. (B)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. (C)Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. (D)Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. (E)Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.

1 Basessaloniika 4:13-18

Okujja kwa Mukama waffe

13 Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. 14 (A)Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. 15 (B)Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. 16 (C)Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, 17 (D)naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 18 Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.

Lukka 21:5-19

Okuzikirizibwa kwa Yeekaalu

Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu. (A)Naye Yesu n’agamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”

Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”

(B)Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga. Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”

10 (C)N’ayongera n’abagamba nti, “Amawanga galirwanagana, n’obwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo. 11 (D)Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.

12 “Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera. 13 (E)Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange. 14 (F)Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo eby’okuwoza, 15 (G)Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu! 16 (H)Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe. 17 (I)Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange. 18 (J)Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira. 19 (K)Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.