Book of Common Prayer
Ya Dawudi.
16 (A)Onkuume, Ayi Katonda,
kubanga ggwe buddukiro bwange.
2 (B)Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,
ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
3 (C)Abatukuvu abali mu nsi be njagala
era mu bo mwe nsanyukira.
4 (D)Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala
yeeyongera.
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,[a]
wadde okusinza bakatonda baabwe.
5 (E)Mukama, ggwe mugabo gwange,
era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
6 (F)Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,
ddala ddala omugabo omulungi.
7 (G)Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya
ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
8 (H)Nkulembeza Mukama buli kiseera,
era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
siinyeenyezebwenga.
9 (I)Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;
era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 (J)Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.
11 (K)Olindaga ekkubo ery’obulamu;
w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
Okusaba kwa Dawudi.
17 (L)Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2 Nzigyako omusango;
kubanga olaba ekituufu.
3 (M)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4 Ggwe, gwe nkoowoola,
ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
ebikolwa by’abantu abakambwe.
5 (N)Nnyweredde mu makubo go,
era ebigere byange tebiigalekenga.
6 (O)Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
7 (P)Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,
ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo
abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
8 (Q)Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
9 (R)Omponye ababi abannumba,
n’abalabe bange abanneetoolodde.
10 (S)Omutima gwabwe mukakanyavu,
n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
11 (T)Banzingizza era banneetoolodde;
bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12 (U)Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo
era ng’empologoma enkulu eteeze.
13 (V)Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama,
oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14 (W)Ayi Mukama, mponya abantu,
abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi.
Embuto zaabwe zigezze,
obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe
ne bazzukulu baabwe.
15 (X)Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2 (B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3 (C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4 Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5 (D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.
6 (E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7 (F)Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8 (G)“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”
9 (H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
11 (J)Tobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
16 (O)Abantu ababi banneetoolodde;
banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 (P)Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 (Q)Bagabana engoye zange;
era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
19 (R)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (S)Omponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.
22 (T)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (U)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (V)Kubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
25 (W)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (X)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
8 (A)Kubanga Yerusaalemi kizikiridde
ne Yuda agudde!
Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda,
bityoboola ekitiibwa kye.
9 (B)Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,
era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[a]
awatali kukweka n’akatono.
Zibasanze!
Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.
10 (C)Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,
kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 (D)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
12 (E)Abantu bange banyigirizibwa abaana abato,
abakazi kaakano be babafuga.
Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe
era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.
13 (F)Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga,
ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14 (G)Mukama Katonda asala omusango
gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be.
“Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu.
Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15 (H)Lwaki mulinnyirira abantu bange,
lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Obulamu obusanyusa Katonda
4 (A)Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. 2 Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.
3 (B)Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, 4 (C)buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, 5 (D)so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. 6 (E)Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. 7 (F)Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. 8 (G)Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.
9 (H)Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. 10 (I)Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga. 11 (J)Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, 12 mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.
Kristo Mwana w’ani?
41 (A)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki Kristo ayitibwa Omwana wa Dawudi? 42 Songa Dawudi amwogerako mu Zabbuli nti,
“ ‘Katonda yagamba Mukama wange nti,
Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo
43 (B)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
entebe y’ebigere byo.’
44 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita Mukama we, kale ayinza atya okuba omwana we?”
45 Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti, 46 (C)“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! 47 Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”
Okugaba kwa Nnamwandu
21 (D)Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu. 2 N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri. 3 N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna. 4 (E)Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.