Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 88

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

88 (A)Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange,
    nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli;
    otege okutu kwo nga nkukoowoola.

(B)Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu,
    era nsemberedde okufa.
(C)Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe;
    nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
(D)Bandese wano ng’afudde,
    nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana,
nga tokyaddayo kubajjukira,
    era nga tewakyali kya kubakolera.

(E)Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu,
    era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
(F)Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo,
    ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
(G)Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko,
    n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali.
Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
    (H)Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku.

Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama,
    ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
10 (I)Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu?
    Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 (J)Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe
    n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
12 Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza?
    Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?

13 (K)Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba;
    buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
14 (L)Ayi Mukama, onsuulidde ki?
    Onkwekedde ki amaaso go?

15 (M)Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
    ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.
    Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 (N)Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna;
    binsaanikiridde ddala.
18 (O)Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;
    nsigazza nzikiza yokka.

Zabbuli 91-92

Obwesige bw’oyo atya Katonda.

91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
    aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
(B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
    ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

(C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
    ne kawumpuli azikiriza.
(D)Alikubikka n’ebyoya bye,
    era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
    obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
(E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
    wadde akasaale akalasibwa emisana;
newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
    wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,
    n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,
    naye olumbe terulikutuukako.
(F)Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go;
    n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.

Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
    Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 (G)tewali kabi kalikutuukako,
    so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 (H)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
    bakukuume mu makubo go gonna.
12 (I)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
    oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (J)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
    olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.

14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
    nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (K)Anankowoolanga ne muyitabanga;
    nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
    Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (L)Ndimuwangaaza n’asanyuka
    era ndimulaga obulokozi bwange.”

Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.

92 (M)Kirungi okwebazanga Mukama,
    n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
(N)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
    n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
(O)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
    n’endere awamu n’entongooli.

(P)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
    kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
(Q)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
    ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
(R)Omuntu atalina magezi tamanyi;
    n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
    n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!

Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.

(S)Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
    abalabe bo balizikirira,
    abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 (T)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
    n’onfukako amafuta amalungi.
11 (U)Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
    n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.

12 (V)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
    ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (W)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
    Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (X)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
    baliba balamu era abagimu,
15 (Y)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
    lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.

Yoweeri 2:28-3:8

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

28 (A)“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
    ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
    abakadde baliroota ebirooto,
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 (B)Mu biro ebyo
    ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
30 (C)Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu
    ne ku nsi:
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
31 (D)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
32 (E)Awo olulituuka buli alikoowoola
    erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka.
Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi
    walibaawo abaliwona
    nga Mukama bw’ayogedde,
ne mu abo abalifikkawo
    mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”

Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango

(F)“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,
    Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
(G)Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna
    ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati,
ne mbasalira omusango
    olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange.
Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga,
    ne bagabana ensi yange.
(H)Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu;
    ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya,
n’abawala ne babatundamu omwenge
    ne beenywera.

(I)“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago. (J)Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe. Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.

(K)“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola. (L)Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.

Yakobo 1:16-27

16 (A)Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga. 17 (B)Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala. 18 (C)Yalondawo ku bubwe yekka okutuzaala, ng’ayita mu kigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’abaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya.

Okuwuliriza n’okukola

19 (D)Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. 20 Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda. 21 (E)Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.

22 Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. 23 Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu; 24 bw’ava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bw’afaananye. 25 (F)Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola.

26 (G)Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa. 27 (H)Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.

Lukka 16:1-9

Omuwanika Omukalabakalaba

16 (A)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ng’alina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ng’abidiibuuda. Mukama we n’amuyita n’amubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota y’ebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’

“Omuwanika n’alowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, n’okusabiriza kunkwasa ensonyi. Ekinaasobozesa abantu okunsembeza mu maka gaabwe, nga bwe ngobeddwa ku mulimu, nkifunye.’

“N’agenda ng’ayita buli eyalina ebbanja ku mukama we. Gwe yasookerako n’amubuuza nti, ‘Ebbanja mukama wange ly’akubanja lyenkana wa obunene?’ ”

“Omusajja n’addamu nti, ‘Ammanja endebe z’omuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’

“Omuwanika n’adda ku wookubiri n’amubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’

“N’addamu nti, ‘Ebigera by’obuwunga bw’eŋŋaano kikumi.’ ”

“Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’

(B)“Mukama we n’atenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olw’obukalabakalaba bwe. Kubanga abaana b’omulembe guno bagezigezi okusinga abaana b’omusana ab’omu mulembe gwabwe.”

Enkozesa y’Obugagga Entuufu

(C)“Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.