Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
2 (B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
3 (C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
4 (D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
5 (E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.
Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
6 (F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
7 (G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8 (H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
9 (I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
otwanukule bwe tukukoowoola.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
21 (J)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
2 (K)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
3 (L)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
4 (M)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
5 (N)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
6 (O)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
8 (P)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
9 (Q)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
era alibamalirawo ddala.
10 (R)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (S)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (T)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.
Zabbuli ya Dawudi.
110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]”
2 (B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
olifuga abalabe bo.
3 (C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
4 (D)Mukama yalayira,
era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
116 (A)Mukama mmwagala,
kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
2 (B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
3 (C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
4 (D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
“Ayi Mukama, ndokola.”
5 (E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Katonda waffe ajjudde okusaasira.
6 (F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.
7 (G)Wummula ggwe emmeeme yange,
kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
8 (H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
9 (I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
mu nsi ey’abalamu.
10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
“Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
“Abantu bonna baliraba.”
12 Mukama ndimusasula ntya
olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna.
15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
wakati wo, ggwe Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
117 (R)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
2 (S)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.
Mutendereze Mukama.
17 (A)Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo. 18 (B)Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa. 19 (C)Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange. 20 (D)Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”
21 (E)Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi. 22 (F)Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”
23 (G)Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi. 24 (H)Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. 25 Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,
26 “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,
Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera
n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
27 (I)Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.
N’amatu gaabwe gazibikidde,
n’amaaso gaabwe gazibiridde.
Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,
ne bawulira n’amatu gaabwe,
ne bategeera n’emitima gyabwe,
ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’
28 (J)“Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”
29 Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
30 Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. 31 (K)N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.
Yesu Awonya Omwana Eyaliko Dayimooni
37 Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu. 38 Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. 39 Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. 40 Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”
41 (A)Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”
42 Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe. 43 Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti, 44 (B)“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.” 45 (C)Naye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.
46 (D)Awo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo. 47 (E)Naye Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’addira omwana omuto n’amuyimiriza w’ali. 48 (F)N’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”
49 (G)Awo Yokaana n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumuziyiza kubanga tayita naffe.”
50 (H)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga kubanga oyo atalwana nammwe abeera ku ludda lwammwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.