Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 106

106 (A)Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

(B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
    oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
(C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
    era abakola ebituufu bulijjo.

(D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
    nange onnyambe bw’olibalokola,
(E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
    nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
    era ntendererezenga mu bantu bo.

(F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
    tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
(G)Bakadde baffe
    tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
    bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
(H)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
    alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
(I)Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
    n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 (J)Yabawonya abalabe baabwe;
    n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 (K)Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
    ne wataba n’omu awona.
12 (L)Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
    ne bayimba nga bamutendereza.

13 (M)Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
    ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 (N)Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
    ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 (O)Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
    kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16 (P)Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
    ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 (Q)Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
    Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 (R)Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
    ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 (S)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
    ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (T)Ekitiibwa kya Katonda
    ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (U)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
    eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (V)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
    n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (W)N’agamba nti,
    Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
    n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

24 (X)Baanyooma eby’ensi ennungi,
    kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 (Y)Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,
    ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 (Z)Kyeyava yeerayirira
    nti alibazikiririza mu ddungu,
27 (AA)era nga n’abaana baabwe
    balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.

28 (AB)Baatandika okusinza Baali e Peoli;
    ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
    kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 (AC)Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
    kawumpuli n’agenda.
31 (AD)Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
    emirembe gyonna.
32 (AE)Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
    ne baleetera Musa emitawaana;
33 (AF)kubanga baajeemera ebiragiro bye,
    ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.

34 (AG)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
    nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (AH)naye beetabika n’abannaggwanga ago
    ne bayiga empisa zaabwe.
36 (AI)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
    ne bibafuukira omutego.
37 (AJ)Baawaayo batabani baabwe
    ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (AK)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
    abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
    ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (AL)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
    ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40 (AM)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
    n’akyawa ezzadde lye.
41 (AN)N’abawaayo eri amawanga amalala,
    abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
    ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (AO)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
    naye obujeemu ne bubalemeramu,
    ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44 (AP)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
    n’abakwatirwa ekisa;
45 (AQ)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
    okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (AR)N’abaleetera okusaasirwa
    abo abaabawambanga.
47 (AS)Ayi Mukama Katonda,
    otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
    era tusanyukenga nga tukutendereza.

48 (AT)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
    emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.

Koseya 14

Okwenenya Kuleeta Omukisa

14 (A)Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
    Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
(B)Mudde eri Mukama
    nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
    otwanirize n’ekisa,
    bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
(C)Obwasuli tebusobola kutulokola;
    Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
    nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
    kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”

(D)Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
    ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
    Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
(E)Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
    alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
    (F)Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
    n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
(G)Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
    era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
    era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
(H)Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
    Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.

(I)Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
    era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
    n’abatuukirivu bagatambuliramu,
    naye abajeemu bageesittaliramu.

Ebikolwa by’Abatume 22:30-23:11

30 (A)Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.

23 (B)Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” (C)Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. (D)Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”

Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”

(E)Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”

(F)Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!” Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, (G)kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.

(H)Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” 10 (I)Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.

11 (J)Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”

Lukka 6:39-49

39 (A)Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Ddala ddala omuzibe w’amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebajja kugwa mu kinnya? 40 (B)Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bw’aba ng’atendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ng’omusomesa we.”

41 “Lwaki otunuulira akasasiro akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otolaba kisiki kiri ku liiso lyo? 42 Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ naye nga ekisiki ekiri ku liryo tokiraba? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi olwo oggyeko akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”

43 “Omuti omulungi tegubala bibala bibi, so n’omuti omubi tegubala bibala birungi. 44 (C)Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo. 45 (D)Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”

Omuzimbi omugezi n’atali mugezi

46 (E)“Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ so nga bye mbagamba si bye mukola? 47 (F)Buli ajja gye ndi n’awulira ebigambo byange, n’abikola, ka mbalage bw’afaanana. 48 Afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba, eyasima omusingi wansi ennyo n’atuuka ku lwazi. Amataba bwe gajja, ne gajjuza omugga tegaasobola kunyeenya nnyumba eyo kubanga yazimbibwa bulungi. 49 Naye omuntu awuliriza ebigambo byange n’atabikola, afaanana n’omusajja eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimye musingi. Omugga bwe gwajjula, ne gwanjaala, ne gukuba ennyumba n’egwa, era n’okugwa kw’ennyumba eyo kwali kunene nnyo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.