Book of Common Prayer
ו Waawu
41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 (A)ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 (B)Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.
ז Zayini
49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
kubanga gwe wampa essuubi.
50 (C)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (D)Ab’amalala banduulira obutamala,
naye nze siva ku mateeka go.
52 (E)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
biwummuza omutima gwange.
53 (F)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (G)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
nfunye emikisa gyo mingi.
ח Esi
57 (H)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
nasuubiza okukugonderanga.
58 (I)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (J)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
so seekunya.
61 (K)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
naye seerabirenga mateeka go.
62 (L)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (M)Ntambula n’abo abakutya,
abo bonna abakwata amateeka go.
64 (N)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
onjigirize amateeka go.
11 (A)Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,
12 (B)“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe,
temubiyita nkwe,
era temutya bye batya,
wadde okutekemuka[a] omutima.
13 (C)Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,
nze gwe muba mutya,
era gwe muba mwekengera.
14 (D)Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri
aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa,
era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15 (E)Era bangi abaliryesittalako,
bagwe, bamenyeke,
bategebwe bakwatibwe.”
16 (F)Nyweza obujulirwa
okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17 (G)Nange nnaalindirira Mukama Katonda
akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,
mmunoonye n’essuubi.
18 (H)Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
19 (I)Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? 20 (J)Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
10 Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. 2 (A)Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. 3 (B)Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. 4 (C)Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.
5 (D)Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” 6 (E)Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) 7 newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” 8 (F)Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. 9 (G)Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. 10 Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. 11 (H)Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” 12 (I)Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 13 (J)Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. 14 Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15 (K)Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
2 (B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
era liraga amagezi ge buli kiro.
3 Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 (C)Naye obubaka bwabyo
bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
5 Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
6 (D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
7 (E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
ligeziwaza abatalina magezi.
8 (F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
bye galaba.
9 (G)Okutya Mukama kirungi,
era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
bisiimibwe mu maaso go,
Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.
Alina omukisa omuntu atya Katonda,
era asanyukira ennyo mu mateeka ge.
2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
4 (B)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
5 (C)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
6 (D)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
era anajjukirwanga ennaku zonna.
7 (E)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
8 (F)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
9 (G)Agabidde abaavu bye beetaaga;
mutuukirivu ebbanga lyonna;
era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
10 (H)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
44 (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa[a] mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.
45 (B)“Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, 46 bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.
Olugero lw’Akatimba
47 (C)“Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, 48 akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. 49 (D)Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. 50 (E)Ababi balibasuula mu nkoomi y’omuliro eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”
51 Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?”
Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.”
52 Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.