Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 93

93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
    Mukama ayambadde ekitiibwa
    era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
    Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

(C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
    ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
    n’amazzi g’ennyanja gayira.
(D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
    oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

(E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
    n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
    ennaku zonna.

Zabbuli 96

96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
    muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
(B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
    mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
    eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

(C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
    asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
(D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
    naye Mukama ye yakola eggulu.
(E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
    amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

(F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
(G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
    muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
(H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
    Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
    Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
    Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
    ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12     (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13     (L)Kubanga Mukama ajja;
    ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
    n’abantu bonna abalamule mu mazima.

Zabbuli 34

Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.

34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
    akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
(B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
    ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
(C)Kale tutendereze Mukama,
    ffenna tugulumizenga erinnya lye.

(D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
    n’ammalamu okutya kwonna.
(E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
    era tebaaswalenga.
Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
    n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
(F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
    n’abawonya.

(G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
    Balina omukisa abaddukira gy’ali.
(H)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
    kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (I)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
    naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (J)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
    mbayigirize okutya Mukama.
12 (K)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
    okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (L)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
    n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (M)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
    noonya emirembe era ogigobererenga.

15 (N)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
    n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (O)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
    okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.

17 (P)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
    n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (Q)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

19 (R)Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi,
    naye byonna Mukama abimuyisaamu.
20 (S)Amagumba ge gonna Mukama agakuuma,
    ne watabaawo na limu limenyeka.

21 (T)Ekibi kiritta abakola ebibi,
    n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.
22 (U)Mukama anunula abaweereza be;
    so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.

Balam 6:1-24

Abamidiyaani balumba Abayisirayiri

(A)Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda. N’abawaayo mu mikono gy’Abamidiyaani[a] okumala emyaka musanvu. (B)Abayisirayiri ne batulugunyizibwa nnyo Abamidiyaani. Kyebaava beesimira empuku ne beetoolooza ebibuga byabwe agasenge. (C)Buli Abayisirayiri lwe baasiganga ensigo, Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu ab’ebuvanjuba ne babalumbanga. (D)Ne basiisira mu nsi eyo, ne bazikiriza ebirime byonna okutuusiza ddala e Gaaza. Ne bawemmenta endiga, ente, endogoyi era tebaalekera Bayisirayiri kantu konna. (E)Kubanga baayiikanga ng’enzige mu bungi nga tebabalika. Nga bajja n’eweema, ente, n’eŋŋamira zaabwe. Bwe batyo ne bazikiriza ensi. (F)Abayisirayiri baajeezebwa nnyo Abamidiyaani, Abayisirayiri kyebaava balaajaanira Mukama Katonda.

Mukama atuma Nnabbi

Awo Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama olw’Abamidiyaani, Mukama, (G)n’atumira Abayisirayiri Nnabbi, n’abagamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri agamba bw’ati: nabakulembera okuva mu Misiri, ne mbaggya mu nnyumba ey’obuddu, (H)ne mbanunula okuva mu mikono gy’Abamisiri, ne mu mikono gy’abo bonna abababonnyabonnyanga ne mbafuumuula ku lwammwe era ne mbawa mmwe ensi yaabwe; 10 (I)ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe, temussanga kitiibwa mu bakatonda b’Abamoli, bannannyini nsi gye mubeeramu.’ Naye mmwe temugondedde ddoboozi lyange.”

Mukama Ayita Gidyoni

11 (J)Malayika wa Mukama Katonda n’ajja mu Ofula, n’atuula wansi w’omuti omwera ogwali ogwa Yowaasi ow’omu ssiga lya Abiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali akubira eŋŋaano mu ssogolero alyoke agikweke Abamidiyaani. 12 (K)Malayika wa Mukama Katonda n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ggwe omusajja omulwanyi namige. Mukama ali wamu naawe.”

13 (L)Gidyoni n’abuuza nti, “Ayi Mukama wange, obanga Mukama ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Eby’amagero eby’ekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti, ‘Mukama yatuggya mu Misiri, byo biruwa?’ Naye Kaakano Mukama Katonda atwabulidde era atuwaddeyo mu mikono gy’Abamidiyaani.”

14 (M)Mukama Katonda n’amukyukira n’agamba nti, “Ggenda n’amaanyigo g’olina, onunule Abayisirayiri mu mikono gy’Abamidiyaani: si nze nkutumye?” 15 (N)N’amuddamu nti, “Ayi Mukama wange, nnyinza ntya okununula Abayisirayiri? Kubanga essiga mwe nva lye lisinga okunyoomebwa mu kika kya Manase ate nze nsembayo obuto mu maka ga kitaffe.” 16 (O)Mukama n’amugamba nti, “Ndibeera wamu naawe, era olifufuggaza Abamidiyaani ng’olinga akuba omuntu omu.”

17 (P)Gidyoni n’amuddamu nti, “Obanga nsiimiddwa mu maaso go mpa obukakafu nga ddala ggwe wuuyo ayogera nange. 18 Nkwegayiridde, tova wano, ka ŋŋende nkuleetere ekirabo kyange nkiteeke mu maaso go.” Mukama n’agamba nti, “Kale kambeere wano okutuusa lw’onookomawo.”

Ekiweebwayo Kya Gidyoni Kisiimibwa

19 (Q)Gidyoni n’ayingira mu nju ye, n’atta omwana gw’embuzi n’ateekateeka n’emigaati egitazimbulukuswa ng’akozesa kilo abiri ez’obuwunga bw’eŋŋaano. Ennyama n’agiteeka mu kibbo; ne guleevi waayo ne bamussa mu kibya, n’abimuleetera wansi w’omwera n’abimuwa. 20 (R)Naye malayika wa Katonda n’amulagira nti, “Ddira ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino obifukeko guleevi.” Gidyoni n’akola bw’atyo. 21 (S)Awo malayika wa Mukama Katonda n’akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa nga yeeyambisa omuggo gwe yalina. Omuliro ne guva mu jjinja ne gububuuka ne gwokya ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa byonna ne bisaanawo. Amangwago malayika wa Mukama n’abulawo. 22 (T)Gidyoni n’ategeera ng’oyo abadde malayika wa Mukama; Gidyoni n’agamba nti, “Zinsanze, Ayi Mukama Katonda, kubanga tulabaganye ne malayika wa Mukama maaso ku maaso.”

23 (U)Naye Mukama Katonda n’amugamba nti, “Emirembe gibe ku ggwe tootya tojja kufa.”

24 (V)Gidyoni n’azimbira Mukama Katonda ekyoto mu kifo ekyo; n’akituuma erinnya Yakuwasalumu (Mukama gy’emirembe); n’okutuusa kaakano kikyaliyo mu Ofula eky’ab’omu ssiga lya Abiezeri.

2 Abakkolinso 9:6-15

(A)Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” (B)Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. (C)Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, (D)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Yasaasaanya, yagabira abaavu.
    Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”

10 (E)Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 11 (F)Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

12 (G)Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. 13 (H)Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna, 14 era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina; 15 (I)Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.

Makko 3:20-30

Yesu ne Beeruzebuli

20 (A)Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate w’ali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya. 21 (B)Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse. 22 (C)Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”

23 (D)Awo Yesu n’abayita n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? 24 Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo. 25 N’ennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo. 26 Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka. 27 (E)Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye. 28 Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu ky’akola kirisonyiyibwa abaana b’abantu, ebibi n’okuvvoola kwonna kwe bavvoola. 29 (F)Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.”

30 Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.