Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 38

Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

38 (A)Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
    oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
(B)Kubanga obusaale bwo bunfumise,
    n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
(C)Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
    n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
(D)Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
    gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.

(E)Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
    olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
(F)Nkootakoota era mpweddemu ensa,
    ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
(G)Omugongo gunnuma nnyo,
    ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
(H)Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
    nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.

(I)Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
    n’okusinda kwange okuwulira.
10 (J)Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
    n’okulaba sikyalaba.
11 (K)Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
    ne bannange tebakyansemberera.
12 (L)Abaagala okunzita bantega emitego,
    n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
    Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.

13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
    nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
    atasobola kwanukula.
15 (M)Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
    onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 (N)Tobakkiriza kunneeyagalirako,
    oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.

17 Kubanga nsemberedde okugwa,
    era nga nnumwa buli kiseera.
18 (O)Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
    nnumirizibwa ekibi kyange.
19 (P)Abalabe bange bangi era ba maanyi;
    n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 (Q)Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
    era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.

21 (R)Ayi Mukama, tonjabulira;
    tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
22 (S)Ayi Mukama Omulokozi wange,
    yanguwa okumbeera.

Zabbuli 119:25-48

ד Daleeti

25 (A)Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
    nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 (B)Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
    onjigirize amateeka go.
27 (C)Njigiriza amateeka go bye gagamba,
    nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 (D)Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
    onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
    olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
    ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 (E)Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
    tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
    nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.

ה Eh

33 (F)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
    ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
    era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
    kubanga mwe nsanyukira.
36 (G)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
    so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (H)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
    obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (I)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
    kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
    kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (J)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
    onkomyewo mu butuukirivu bwo.

ו Waawu

41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
    ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 (K)ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
    kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
    kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
    emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
    kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 (L)Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
    nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
    era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
    Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.

Yoswa 3:1-13

Abayisirayiri Beeteekerateekera Okusomoka Omugga Yoludaani

(A)Mu makya ennyo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka. (B)Bwe waayitawo ennaku ssatu abakulembeze baabwe ne babayitaayitamu (C)nga bwe babalagira nti, “Bwe munaalaba Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama Katonda wammwe, bakabona Abaleevi nga bagisitudde ne mulyoka muva mu kifo kino ne mugigoberera, kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.”

(D)Awo Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti, “Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola ebyamagero mu mmwe.” Ate Yoswa n’agamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira.

Mukama Asuubiza Yoswa

(E)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso g’Abayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe. (F)Bw’otyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.” Yoswa n’ayita Abayisirayiri nti, “Musembere wano muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe. 10 (G)Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperezi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi mmwe nga mulaba. 11 (H)Laba, Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama w’ensi zonna y’eneebakulemberamu nga musomoka omugga guno Yoludaani. 12 (I)Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu: 13 (J)Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama w’ensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.”

Abaruumi 11:25-36

25 (A)Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira. 26 N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,

“Omulokozi aliva mu Sayuuni,
    era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
27 (B)Era eyo ye ndagaano yange nabo,
    bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”

28 (C)Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe. 29 (D)Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa. 30 (E)Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya, 31 bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe. 32 (F)Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.

33 (G)Kale nga Katonda wa kitalo,
    ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
    ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
34 (H)“Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama?
    Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”
35 (I)“Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu,
    alyoke amuddizeewo?”
36 (J)Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.
    Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.

Matayo 25:31-46

Endiga n’Embuzi

31 (A)“Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye. 32 (B)Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi. 33 Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.

34 (C)“Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi. 35 (D)Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, 36 (E)nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’

37 “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? 38 Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza? 39 Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?’

40 (F)“Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’

41 (G)“Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. 42 Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, 43 nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’

44 “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’

45 (H)“Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’

46 (I)“Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.