Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 148-150

148 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
    mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
(A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
    mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
    nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
(B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
    naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

(C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
    Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
(D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
    n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

(E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
    mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
(F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
    naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
(G)mmwe agasozi n’obusozi,
    emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
    ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
    abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
    abantu abakulu n’abaana abato.

13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
    kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
    ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
    era agulumizizza abatukuvu be,
    be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.
149 (J)Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

(K)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
(L)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
    bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
(M)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
    n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
(N)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
    bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

(O)Batenderezenga Katonda waabwe,
    bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
bawoolere eggwanga,
    babonereze n’amawanga,
bateeke bakabaka baago mu njegere,
    n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
(P)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
    Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.
150 (Q)Mutendereze Mukama!

Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
    mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
(R)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
    mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
(S)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
    mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
(T)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
    mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
(U)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
    mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!

(V)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!

Mutendereze Mukama.

Zabbuli 114-115

114 (A)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
    abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
    Isirayiri n’afuuka amatwale ge.

(B)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
    Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.

Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
    Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

(C)Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,
    mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
(D)eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,
    n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.
115 (E)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
    Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.

(F)Lwaki amawanga gabuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”
(G)Katonda waffe ali mu ggulu;
    akola buli ky’ayagala.
(H)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(I)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
abakozi ababikola,
    n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (J)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.

12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
    Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
    ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (K)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
    Mukama anaabawanga omukisa.

14 (L)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
    mmwe n’abaana bammwe.
15 (M)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
    abawe omukisa.

16 (N)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
    naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (O)Abafu tebatendereza Mukama,
    wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (P)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama!

Yoswa 1

(A)Awo Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa mutabani wa Nuuni, eyali omubeezi wa Musa nti, (B)“Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu n’abantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri[a]. (C)Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo. (D)Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba. (E)Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.

(F)“Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe. (G)Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga. (H)Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana. (I)Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.”

10 Bw’atyo ne Yoswa n’alagira abakulembeze b’Abayisirayiri nti, 11 (J)“Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa.’ ”

12 (K)Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni, n’ab’ekika kya Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase nti, 13 (L)“Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’ 14 Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira, 15 (M)okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”

16 Awo ne baanukula Yoswa nti, “Byonna by’otukalaatidde tunaabikola era tunaagenda yonna gy’onootusindika. 17 (N)Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; Mukama Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa. 18 Buli anaajeemeranga ebigambo byo n’atabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”

Ebikolwa by’Abatume 21:3-15

Ne tulengera ekizinga Kupulo, ne tukiyitako nga tukirese ku mukono gwaffe ogwa kkono, ne tuseeyeeya ne tugoba ku mwalo gw’e Ttuulo mu Siriya, kubanga ekyombo we kyali kigenda okutikkulirwa ebintu. (A)Bwe twava mu kyombo ne tunoonya abayigirizwa ne tubeera nabo ennaku musanvu. Mwoyo Mutukuvu n’ayogerera mu bayigirizwa abo ne balabula Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. (B)Ennaku ezo bwe zaggwaako ne tusitula. Abayigirizwa ne bakyala baabwe n’abaana baabwe ne batuwerekerako okutuggya mu kibuga okututuusiza ddala ku mwalo. Awo ffenna ne tufukamira ne tusaba. Bwe twamala okusaba ne tusiibulagana. Ffe ne tuyingira ekyombo kyaffe, ne bannaffe ne baddayo ewaabwe.

(C)Bwe twava e Ttuulo ne tugoba e Potolemaayi, ne tulamusaganya n’abakkiriza, ne tumala nabo olunaku lumu. (D)Enkeera ne tweyongerayo okutuuka e Kayisaliya, ne tubeera mu maka ga Firipo Omubuulizi w’Enjiri, eyali omu ku badiikoni omusanvu abaasooka. (E)Yalina abaana be abawala abaali batannafumbirwa bana nga balina ekirabo eky’obunnabbi.

10 (F)Ne tumalawo ennaku eziwerako, ne wajja nnabbi erinnya lye Agabo ng’ava Buyudaaya. 11 (G)Bwe yajja okutulaba, n’addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu n’emikono, n’agamba nti, “Mwoyo Mutukuvu ayogera nti, ‘Bw’ati nannyini lukoba luno bw’alisibwa Abayudaaya mu Yerusaalemi ne bamuwaayo mu mikono gy’Abamawanga.’ ”

12 Bwe twawulira ebigambo ebyo ffenna awamu n’abatuuze b’omu kitundu ekyo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. 13 (H)Naye Pawulo n’addamu nti, “Lwaki mukaaba n’okwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.” 14 Bwe twalaba nga tekisoboka kumukkirizisa butagenda, ne tubivaako, ne tugamba nti, “Mukama ky’ayagala kye kiba kikolebwa.”

15 Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi.

Makko 1:21-27

Yesu Awonya Omusajja eyaliko Dayimooni

21 (A)Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza. 22 (B)Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga. 23 Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana, 24 (C)ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” 25 (D)Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, “Sirika era muveeko.” 26 (E)Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. 27 (F)Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.