Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 16-17

Ya Dawudi.

16 (A)Onkuume, Ayi Katonda,
    kubanga ggwe buddukiro bwange.

(B)Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,
    ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
(C)Abatukuvu abali mu nsi be njagala
    era mu bo mwe nsanyukira.
(D)Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala
    yeeyongera.
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,[a]
    wadde okusinza bakatonda baabwe.

(E)Mukama, ggwe mugabo gwange,
    era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
(F)Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,
    ddala ddala omugabo omulungi.

(G)Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya
    ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
(H)Nkulembeza Mukama buli kiseera,
    era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
    siinyeenyezebwenga.

(I)Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;
    era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 (J)Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
    wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.
11 (K)Olindaga ekkubo ery’obulamu;
    w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
    era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.

Okusaba kwa Dawudi.

17 (L)Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
    wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
    kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
Nzigyako omusango;
    kubanga olaba ekituufu.

(M)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
    Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
    kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
Ggwe, gwe nkoowoola,
    ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
    ebikolwa by’abantu abakambwe.
(N)Nnyweredde mu makubo go,
    era ebigere byange tebiigalekenga.

(O)Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
    ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
(P)Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,
    ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo
    abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
(Q)Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
(R)Omponye ababi abannumba,
    n’abalabe bange abanneetoolodde.

10 (S)Omutima gwabwe mukakanyavu,
    n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
11 (T)Banzingizza era banneetoolodde;
    bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12 (U)Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo
    era ng’empologoma enkulu eteeze.

13 (V)Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama,
    oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14 (W)Ayi Mukama, mponya abantu,
    abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi.

Embuto zaabwe zigezze,
    obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe
    ne bazzukulu baabwe.
15 (X)Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
    era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.

Zabbuli 22

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
    Lwaki ogaana okunnyamba
    wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
(B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
    n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.

(C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
    era ettendo lya Isirayiri yonna.
Bajjajjaffe baakwesiganga;
    baakwesiga naawe n’obawonya.
(D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
    era baakwesiganga ne batajulirira.

(E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
    abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
(F)Bonna abandaba banduulira,
    era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
(G)“Yeesiga Mukama;
    kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
    kale nno amulokole!”

(H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
    era wampa okukwesiga
    ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
    olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.

11 (J)Tobeera wala nange,
    kubanga emitawaana ginsemberedde,
    ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.

12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
    zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
    ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
    n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
    era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
    n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
    Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.

16 (O)Abantu ababi banneetoolodde;
    banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
    banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 (P)Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
    Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 (Q)Bagabana engoye zange;
    era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.

19 (R)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
    Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (S)Omponye okuttibwa n’ekitala;
    obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
    omponye amayembe g’embogo enkambwe.

22 (T)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
    nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (U)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
    Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
    era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (V)Kubanga tanyooma kwaziirana
    kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
    wabula abaanukula bwe bamukoowoola.

25 (W)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
    Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (X)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
    abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
    Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.

27 (Y)Ensi zonna zirijjukira
    ne zikyukira Mukama,
ebika byonna eby’amawanga gonna
    birimuvuunamira.
28 (Z)Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,
    era y’afuga amawanga gonna.

29 (AA)Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.
    Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,
    abatakyali balamu.
30 (AB)Ezadde lyabwe lirimuweereza;
    abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31 (AC)N’abo abatannazaalibwa
    balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,
    “Ekyo yakikoze.”

Ekyamateeka Olwokubiri 31:7-13

(A)Awo Musa n’atumya Yoswa n’amugambira mu maaso ga Isirayiri yenna nti, “Beera wa maanyi era ogume omwoyo; kubanga gw’ojja okugenda n’abantu bano mu nsi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjaabwe okugibawa; era gw’ogenda okugibasalirasaliramu ogibakwase okuba obusika bwabwe obw’enkalakkalira. (B)Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”

Amateeka Ganaasomwanga Buli Mwaka ogw’Omusanvu

(C)Awo Musa n’awandiika amateeka ago, n’agakwasa batabani ba Leevi, bakabona, abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama Katonda, era n’awaako n’abakadde bonna abakulembeze b’abaana ba Isirayiri. 10 (D)Musa n’abalagira bw’ati nti, “Ku buli nkomerero ya myaka musanvu, mu mwaka omutegeke ogusonyiyirwamu amabanja, era nga y’Embaga ey’Ensiisira, 11 (E)Isirayiri yenna nga bazze okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’aneeronderanga, onoosomeranga Isirayiri yenna amateeka gano gonna nga bawulira. 12 (F)Okuŋŋaanyanga[a] abantu: abasajja, n’abakazi, n’abaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano. 13 (G)Bwe batyo abaana baabwe abataamanyanga mateeka gano, balyoke bagawulire bayigenga okutyanga Mukama Katonda wammwe, obulamu bwammwe bwonna bwe mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugirya.”

Ekyamateeka Olwokubiri 31:24-32:4

24 Musa bwe yamala okuwandiika mu Kitabo ebigambo eby’amateeka gano, okubiggya ku ntandikwa okubituusa ku nkomerero, 25 Musa n’alagira Abaleevi abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama, ng’agamba nti, 26 (A)“Mutwale Ekitabo ky’Amateeka kino mukiteeke awali Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga awo ng’omujulirwa gy’oli. 27 (B)Kubanga nkumanyi nga bw’oli omujeemu era alina ensingo enkakanyavu. Obanga mubadde mujeemera Mukama Katonda nga nkyaliwo nammwe, kale nga mmaze okufa okujeema kwammwe tekuusingewo nnyo! 28 (C)Munkuŋŋaanyize wano abakadde b’ebika byammwe abakulembeze bammwe bonna, njogere ebigambo bino mu matu gaabwe nga bawulira; era mpita eggulu n’ensi bibeere abajulirwa okubalumiriza. 29 (D)Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda mulyoke mumusunguwaze olw’ebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.”

Oluyimba Mukama lwe yalagira Musa

30 Awo Musa n’ayogera, ebigambo by’oluyimba luno okuluggya ku ntandikwa yaalwo n’okulutuusa ku nkomerero ng’ekibiina kya Isirayiri yenna kiwulira.

32 (E)Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,
    wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
(F)Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,
    n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,
bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,
    ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
(G)Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama;
    mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
(H)Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
    n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
    omwenkanya era omutereevu mu byonna.

Abaruumi 10:1-13

10 Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. (A)Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. (B)Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. (C)Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.

(D)Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” (E)Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” (F)Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. (G)Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. 10 Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. 11 (H)Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” 12 (I)Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 13 (J)Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.

Matayo 24:15-31

15 (A)“Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere, 16 n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi. 17 (B)Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu. 18 N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe. 19 (C)Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 20 Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti. 21 (D)Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. 22 (E)Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako. 23 (F)Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. 24 (G)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda. 25 Laba mbalabudde nga bukyali!”

26 “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga. 27 (H)Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo. 28 (I)Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”

29 (J)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa

“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
    ‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
    n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”

30 (K)“Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. 31 (L)Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.