Book of Common Prayer
Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.
87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
2 (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3 (B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
ggwe ekibuga kya Katonda.
4 (C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
6 (D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
7 (E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”
EKITABO IV
Zabbuli 90–106
Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.
90 (A)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
emirembe gyonna.
2 (B)Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 (C)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4 (D)Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5 (E)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6 (F)Ku makya guba munyirivu,
naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
7 Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
8 (G)Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
9 (H)Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 (I)Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 (J)Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 (K)Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
13 (L)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (M)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (N)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (O)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 (C)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 (D)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 (E)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 (F)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 (G)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
9 Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
10 (H)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (I)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (J)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
13 (K)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (L)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (M)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
16 (N)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 (O)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (P)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (Q)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (R)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 (S)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (T)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (U)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
31 (A)Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, “Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi.” 32 (B)Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, “Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago. 33 (C)Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.”
Abantu Bajeema
14 Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba n’eddoboozi ery’omwanguka. 2 (D)Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno! 3 Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?” 4 (E)Ne boogeraganya nti, “Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri.”
5 (F)Awo Musa ne Alooni ne bavuunama wansi mu maaso g’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abaali bakuŋŋaanidde awo. 6 Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe[a], 7 (G)ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo. 8 (H)Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa. 9 (I)Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”
10 (J)Naye abantu bonna mu kibiina ne bateesa okubakuba mayinja. Awo ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira eri abaana ba Isirayiri bonna mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 11 (K)Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo? 12 (L)Nzija kubaboola mbazikirize ne kawumpuli, mbasaanyeewo; naye nzija kukuggyamu ggwe eggwanga eriribasinga abo obukulu n’amaanyi.”
13 (M)Naye Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Ebyo Abamisiri bagenda kubiwulira! Kubanga abantu bano wabaggya mu nsi y’Abamisiri n’obuyinza obw’amaanyi amangi. 14 (N)Bajja kubuulirako ku bantu ab’omu nsi muno. Baamala dda okukiwulira nga ggwe, Ayi Mukama, obeera wakati mu bantu bano, era nga, Ayi Mukama Katonda, mulabagana nabo amaaso n’amaaso, era ng’ekire kyo kibeera nabo buli kiseera, era ng’obakulemberera mu mpagi ey’ekire emisana ne mu mpagi ey’omuliro ekiro. 15 Singa abantu bano obatta bonna omulundi gumu, amawanga agawulidde obututumufu bwo gagenda kugamba nti, 16 (O)‘Kubanga Mukama Katonda yali tasobola kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabasuubiza ng’agibalayirira; kyeyava abattira mu ddungu.’
17 “Ne kaakano nkwegayirira oyoleke obuyinza bwo, Ayi Mukama nga bwe buli obusukkirivu nga bwe wasuubiza nti, 18 (P)‘Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’ 19 (Q)Ng’okwagala kwe okungi okutaggwaawo bwe kuli, nsaba osonyiwe abantu bano ekibi ky’abwe, nga bw’ozze obasonyiwa kasookedde bava mu Misiri n’okutuusa leero.”
Ekibonerezo kya Isirayiri
20 (R)Awo Mukama Katonda n’addamu nti, “Mbasonyiye nga bw’onsabye. 21 (S)Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ng’ekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna, 22 (T)tewalibaawo n’omu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero obw’ebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi, 23 (U)tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako. 24 (V)Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya. 25 (W)Kale nno olwokubanga Abamaleki n’Abakanani babeera mu biwonvu; enkya muddeeko emabega, musitule mutambule nga mwolekera eddungu nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu.”
Tewali mutuukirivu n’omu
9 (A)Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10 Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:
“Tewali mutuukirivu n’omu.
11 Tewali ategeera
wadde anoonya Katonda.
12 (B)Bonna baakyama,
bonna awamu baafuuka kitagasa;
tewali n’omu akola obulungi,
tewali n’omu.”
13 (C)“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,
n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”
“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14 (D)“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15 “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16 buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17 Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18 (E)“N’okutya tebatya Katonda.”
19 (F)Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya. 20 (G)Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.
Okugattululwa
19 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n’ava e Ggaliraaya n’ajja mu bitundu bya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. 2 (B)Ekibiina kinene ne bamugoberera era n’awonya abalwadde baabwe.
3 (C)Abafalisaayo ne bajja gy’ali bamugezese nga bagamba nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olw’ensonga n’emu?”
4 (D)Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi,’ 5 (E)era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, 6 nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”
7 (F)Ne bamubuuza nti, “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja bw’abanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa ey’okumugoba?”
8 Yesu n’abaddamu nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo. 9 (G)Era mbagamba nti omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olw’obwenzi, n’amala awasa omulala, anaabanga ayenze, n’oyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.”
10 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Obanga bwe biri bwe bityo, ekisingako obulungi bwe butawasiza ddala!”
11 (H)Yesu n’abaddamu nti, “Abantu bonna tebayinza kutegeera kigambo kino okuggyako abo Katonda b’akiwa. 12 Kubanga abamu bazaalibwa nga tebasobola kuwasa abalala balaayibwa bantu bannaabwe ate abalala bagaana okuwasa ne beewaayo okukola omulimu ogw’obwakabaka obw’omu ggulu. Buli asobola okutegeera kino akitegeere.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.