Add parallel Print Page Options

28 (A)Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki[a] nabo twabalabayo.’ ”

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:28 Anaki baali batuuze b’omu Kanani, era baayitibwanga gasajja.

(A)Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu.

Read full chapter

(A)Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna.

Read full chapter